William Kisaalita
William Ssempa Kisaalita nga yazaalibwa mu Gwekumineebiri nga 15, 1953, mu Kampala, Uganda yinginiya mu by'okutabula eddagala era omukenkufu mu bwa yinginiya ku yunivasite y’e Georgia.
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Kisaalita yazaalibwa Kampala mu Uganda. Yamaliriza Diguli ya Saayansi mu bwa yinginiya bw’okukanika ku Makerere University mu Kampala e Uganda. [1] Yafuna diguli ye ey'Okusatu mu by’okutabula eddagala mu 1987 okuva mu Yunivasite ya British Columbia, Vancouver, BC, Canada. [2] Yeegatta ku Yunivasite y'e Georgia ng'Omukenkufu mu 1991. [3]
Emirimu gye egy'obukugu
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitundu kya Kisaalita ekikulu eky’okunoonyereza kibadde mu kukozesa ekikula ky'obutoffaali bwa 3D mu kuzuula eddagala nga tebanaba kujjanjaba. Yawandiika ekitabo mu kaseera bweyamalira okutikirwa nga kiyitibwa 3D Cell-Based Biosensors mu Pulogulaamu Y'okunoonyereza Ku kukuzuula Eddagala. [4] Enkola ye ey’okubiri ey’okunoonyereza eri mu kunyogoza amata n’ebintu ebirala ebivunda nga bikozesebwa ggaasi mu bifo ebitaliimu masanyalaze. [5] Ebitundu by’anoonyerezaako mulimu bino wamanga:
- Okutereeza ebitundu ebikola omubiri
- Enkolagana y’obutoffaali n’okungulu
- Okukebera okuyita mu byuuma ebiyitibwa bu ttivi.
- Enkozesa y’amasanyalaze agazibwa obugya ng'esira liteekeddwa ku kuyonja nga bakozesa ggaasi ekika kya biogas.
- Okuyiga kw’obuweereza mu nsi yonna
Emirimu gye gibadde giwagirwa ebibiina ebiwerako omuli Bill and Melinda Gates Foundation, [6] Baanka y'ensi yonna, National Science Foundation, ekitongole ky'Eby'obulimi mu Amerika, n'ekitongole Ekikuuma Obutonde Bw'ensi. [7]
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]- 2016 University of Georgia's President's Fulfilling the Dream Award. [8]
- 2015 Lioba Moshi Award olw'obuwereza mu By'enjigiriza bya Afrika. [9]
- 2015 University of Georgia College of Engineering's Distinguished Faculty Scholar Award. [10]
- 2015 University of Georgia Richard Reiff Internationalization Award. [11]
- 2013 Powering Agriculture Award: An Energy Grand Challenge for Development initiative. [12]
- 2008 University of Georgia Scholarship of Engagement Award. [13]
- 2004 University Mentor of the Year for Undergraduate Research, University of Georgia Honors Program. [13]
- 2002 Lowry H. Gillespie, Jr. Award. [13]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "William S. Kisaalita, Research". www.rbc.uga.edu. Archived from the original on 2018-03-11. Retrieved 2025-10-22.
- ↑ "William Kisaalita – JCES". jces.ua.edu. Archived from the original on 2021-10-21. Retrieved 2025-10-22.
- ↑ "William S. Kisaalita - Focus On Faculty". May 20, 2012.
- ↑ Kisaalita, William S. (2010). 3D cell-based biosensors in drug discovery programs: Microtissue engineering for high throughput screening. CRC Press. ISBN 9781420073508.
- ↑ "Kisaalita Engineers Solutions for Africa's Rural Poor".
- ↑ "Designing for Female Ergonomic and Cultural Appropriateness - Grand Challenges". gcgh.grandchallenges.org.
- ↑ "Kisaalita Engineers Solutions for Africa's Rural Poor".
- ↑ "UGA presents 2016 President's Fulfilling the Dream Award". 22 January 2016.
- ↑ "UGA College of Engineering". 9 November 2015.
- ↑ "UGA College of Engineering". 28 May 2015.
- ↑ "Home". Archived from the original on 2017-09-07. Retrieved 2025-10-22.
- ↑ "William Kisaalita on Winning a 2013 Powering Agriculture Award - Powering Agriculture". poweringag.org. Archived from the original on 2020-08-10. Retrieved 2025-10-22.
- 1 2 3 "Engineering professor named associate director of Center for Undergraduate Research Opportunities". 12 August 2011.