Wilton Sebastian Kezala
Wilton Sebastian Kezala Wakooli (yazaalibwa 24 Ogwokutaano 1938) pulofeesa, omuddukanya eby'ensoma, omusomesa w'obusawo, omunoonyereza, era nnansi Munnayuganda. [1][2]Y'omu ku baatandikawo ettendekero lya International Institute of Health Sciences (IIHS), Uganda mu 1998 [3] [4] [5] Yaweereza nga ssenkulu w'ekitongole kya Uganda Nurses and Midwives Examinations Board (UNMEB [6][7][8] Y'omu ku baatandikawo era nga yaliko ssentebe w’ekibiina kya ekigatta amatendekero g’ebyobulamu ag’obwannannyini ekya Uganda Private Health Training Institutions Association (UPHTIA). [1] Yaliko ssabawandiisi w'ekitongole kya The AIDS Support Organization (TASO) Uganda era ne mu Bwakyabazinga bwa Busoga. Ye dayirekita omukulu ow’ekitongole ky’ensi yonna ekya International Institute of Health Sciences (IIHS). [9] [10] Yaweereza ng’Omuwi w’amagezi mu kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization (WHO) mu Cuttington University College (CUC) mu Division of Nursing. [11]
Obuto bwe nookusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kezala yazaalibwa nga 24 Ogwokuna, 1938 e Nakabira ku kyalo Nakabira mu Disitulikiti y'eBuyende nga bazadde ye Leo Merewoma Matege ne Marita Babirye.
Kezala yasomera ku Kamuli primary school ku ddaala lye erya pulayimale. Yasomera mu Jinja College okumalako siniya eyookuna ne Tororo College okumala siniya eyoomukaaga. Yamaliriza dipulooma ze zombi eza Post Graduate mu by’obusawo n’ebyenjigiriza by’obusawo mu 1969 ne Diguli Esooka mu Sayansi eya Bachelor of Science in Nursing and Medical Education mu 1970 okuva mu yunivasite y’eOttawa mu Canada. Kezala yatikkirwa diguli eyookubiri eya Master of Science in Nursing, Medical Education, Administration and Research okuva mu yunivasite ya McGill, Canada mu 1972. [4] [12] [13] Mu 1990, Kezala yamaliriza diguli ye ey’okuna nga pulofeesa omuyambi mu Medical and Nursing Education okuva mu yunivasite ya Cuttington mu Liberia. [11]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kezala yaweereza nga Nursing Officer mu malwaliro abiri okuli erya Mulago National Referral Hospital ne Jinja Regional Referral Hospital okuva mu 1965 okutuuka mu 1968. Okuva mu 1977 okutuuka mu 2008, Kezala yaweereza ng’omusomesa mu; Ekitongole ky’obusawo mu yunivasite y’eNairobi, ekitongole ky'abanansi mu yunivasite y’e Botswana, ekitongole kya Sayansi w’Ebyobulamu mu Yunivasite y’eNamibia n’ekitongole ky’ebyobulamu mu yunivasite y’eMakerere. [2] Kezala yaweereza nga Associate Professor mu kitongole ky'Obunansi mu Cuttington University. Yali muwandiisi w'abigezo by'abayizi mu kitongole kya Nursing mu yunivasite ya Zambia.
Mu 1985, Kezala yaweereza ng’omuwi w’amagezi mu kitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu, nga yali akolera mu Cuttington University College (CUC) mu Division of Nursing. [11] [5] Yali mulungamya mu Disitulikiti y’eSuakoko ku musomo gw’ensoma ya The West African College of Nursing (WACN)/ Strengthening Health Delivery System (SHDS). [11]
Mu 1998, Kezala yali omu ku baatandikawo ekitongole ky’ensi yonna ekya International Institute of Health of Health Sciences, Uganda mu 1998 e Jinja ng’ali wamu ne mukyala we Margaret Taitika Kezala. Mu 2001, International Institute of Health of Health Sciences yateekebwa mu kibinja ky’ettendekero ly’ebyobujjanjabi okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo eyawa layisinsi y’emirimu ng’eri wamu n’olukiiko lwa Nurses and Midwives. [3] [8] [5]
okuva mu 1999 n’okutuusa kati (okuva mu 2024), Kezala abadde akola nga Executive director wa International Institute of Health of Health Sciences mu Uganda. [9] [14] Era yaweereza nga pulofeesa omuyambi era omukulu w’ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu ekya ssaayansi w’ebyobulamu. [2]
Kezala yaliko Ssentebe w’akakiiko akaddukanya ebyobulamu mu lukiiko lwa munisipaali y’eJinja okuva mu 1999 okutuuka mu 2006. Yaliko ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Uganda Nurses and Midwives Examinations Board (UNMEB) okuva mu 2010 okutuuka mu 2016. [6] [7] [15] [16] [17]
Kezala yaweereza ng’omukulu w’ettendekero lya Health Tutors’ College Kampala, mu minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya Uganda okuva mu 1973 okutuuka mu 1977 ate nga mmemba wa Governing Council Health Tutors’ College – Makerere University okuva mu 2010 okutuuka mu 2016.
Mu mwaka gwa 2016, Kezala yakulembera akakiiko akaali kagenda okwetegereza enteekateeka ez'okukola ku nsonga eza buli mwaka okukakasa nti okuteeka mu nkola okw'enteekateeka eno kugenda bulungi wansi w’obuyambi obwaweebwa ekibiina ekigatta amatendekero g’ebyobulamu eby’obwannannyini ekya Uganda Private Health Training Institutions Association (UPHTIA) okuva mu nteekateeka ya USAID/Uganda private Health Support Program okumala emyaka 5. [18]
Mu 2021, Kezala yassaayo okusaba kw'okuwandiisa obwannannyini bwe oba eddembe eddala lyonna olw'ebitabo bye "Research guidelines for student nurses and wives" ne application of scientific principles in patient care" "" eri omuwandiisi w'Omuwandiisi w'abannanyini. [19]
Kezala aweereza nga ssentebe w’ekibiina ekigatta amatendekero agatendeka ab'ebyobulamu ag’obwannannyini ekya Uganda Private Health Training Institutions Association (UPHTIA) okuva mu 2011 okutuuka leero (mu 2024). [1][18]
Kezala yatongozebwa nga pulezidenti wa Rotary Club y'eJinja ng'adda mu bigere bya Mutyabule Wanume nga 30 Ogwomukaaga 2001 era n'aweereza okuva mu 2001 okutuuka mu 2002. [20] Era yaweereza nga omuyambi wa Gavana Eastern region of Uganda, District 9200 Rotary International okuva mu 2005 okutuuka mu 2007 era n'afuuka dayirekita w'eggwanga lya District 9200 Rotary International mu mwaka gwa 2008. [20]
Obulamu bwe obw’omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Kezala mufumbo eri Margaret Taitika Kezala (Nurse eyawummula) era nga ye maama w’abaana be. [4]
Okunoonyereza, okufulumya ebitabo n’okuwandiika kwe
[kyusa | kolera mu edit source]- Mu 1972, "The Comfort of patients in Traction:a descriptive study".[13]
- Mu 1989, "Study of the knowledge, attitudes and practices of parents on open mole in children".[21][22][23]
- Mu 2015, "Assessment of Nursing and Midwifery Students in Uganda: The UNMEB Experience" The International Atomic Energy Agency (IAEA) Conference.[24]
Soma ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- 1 2 3 https://www.mcgill.ca/nursing/files/nursing/2009_Alumnae_News_WEB.pdf
- 1 2 https://busitema.ac.ug/about/partnerships-and-collaborations/%20International-Institute-of-Health-Sciences-Uganda
- 1 2 3 https://www.mcgill.ca/nursing/files/nursing/2009_Alumnae_News_WEB.pdf
- 1 2 3 https://collections.banq.qc.ca/ark:/52327/bs2319013
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/2-nursing-students-sent-to-jail-1537928
- 1 2 https://ayoma.co.ug/listing/international-institute-of-health-sciences-jinja/
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-05-16. Retrieved 2025-08-11.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 4 https://web.archive.org/web/20240523141412/https://pdf.usaid.gov/pdf_docs/PNAAZ999.pdf
- ↑ https://escholarship.mcgill.ca/catalog?f%5Bdepartment_sim%5D%5B%5D=Ingram+School+of+Nursing&locale=en&per_page=100
- 1 2 https://escholarship.mcgill.ca/concern/papers/w3763c968?locale=en
- ↑ https://observer.ug/education/52093-jinja-s-institute-of-health-sciences-sees-off-457
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/2-nursing-students-sent-to-jail-1537928
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2024-08-07. Retrieved 2025-08-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- 1 2 https://web.archive.org/web/20240523142136/https://pdf.usaid.gov/pdf_docs/PA00THF7.pdf
- ↑ https://archive.gazettes.africa/archive/ug/2021/ug-government-gazette-dated-2021-03-05-no-22.pdf
- 1 2 https://web.archive.org/web/20240523142136/https://pdf.usaid.gov/pdf_docs/PA00THF7.pdf
- ↑ http://hdl.handle.net/10625/4980
- ↑ http://link.springer.com/10.1007/s11013-010-9172-0
- ↑ https://www.academia.edu/1174219
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-07-30. Retrieved 2025-08-14.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)