Winyi ow'e Kibulala
Wasswa Chwamale Mwanga Winyi yali kabaka eyafuga Bunyoro-Kitara mu kiseera kya 1300 AD. Olubiri lwe olukulu lwalilusangibwa Kibulala, Ssingo, era ebisigalira bye gye biziikiddwa okutuuka olwaleero. Omulangira Kalemeera owa Buganda, mutabani wa Ssekabaka Chwa Nabakka omu yekka bwe yawang’angusibwa e Bunyoro, yaddukira mu lubiri lwa kitaawe omuto, Winyi I mu lubiri lwe e Kibulala. Eyo yayongera okusobya, n’azaala Omulangira Kimera Walusimbi mu Nabakyala Wannyana, mukyala wa kitaawe we omukulu. Oluvannyuma Omulangira Kimera yafuuka Kabaka wa Buganda owookusatu. [1] [2] [3] [4]
Olunyiriri lwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ono ye mwana owookubiri mu baana ba Ssekabaka Kato Kintu abataano. Yazaalibwa e Kibulala. [5]
Obufumbo bwe n’abaana
[kyusa | kolera mu edit source]Omulangira Winyi, Katikkiro wa Kibulala (agambibwa nti ye Winyi I, Omukama ow’e Bunyoro-Kitara) yawasa mukyala Wannyana, nga ono yeyali mukyala we omukulu, mwannyina wa Balitema Kajubi, Katikkiro wa Busujju, eyali omuhima. Bano baazaala abaana babiri omwali Omumbejja Musenyu, Katikkiro wa Kyeeya nga ono yeyali omwana omukulu n'Omulangira Ntembe, Katikkiro wa Busoga.
Ababiito b' e Kibulala
[kyusa | kolera mu edit source]Bazzukulu ba Winyi ow’e Kibulala, be bakola Ekika ky’Obuganda ekimanyiddwa nga Ababiito b’eKibulala, ekimu ku bika 54 ebimanyiddwa nga bya Baganda ababalirirwamu obukadde 9. [6]
Ennaku ze ezasembayo
[kyusa | kolera mu edit source]Wasswa Chwamale Mwanga Winyi yafa mu makkati g’ekyasa eky’ekkumi n’ena era naziikibwa e Kibulala, Ssingo, nga leero ye Disitulikiti y’e Kiboga. Ekifo we yaziikibwa kyakirizibwa Obwakabaka bwa Buganda nga ekifo ky'ebyafaayo. Naalinnya Dina Kigga Mukarukidi, mwannyina wa Kabaka wa Buganda aliko kati, Muwenda Mutebi II, yaweebwa obuvunaanyizibwa bw'ekifo kino, ng’omulabirizi w’ebyobuwangwa. [7]
Eby'ensikirano
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Ba Kabaka ba Buganda". www.buganda.com. Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2023-01-26.
- ↑ "Buganda Kingdom::". www.buganda.or.ug. Archived from the original on 2023-01-26. Retrieved 2023-01-26.
- ↑ "List of Buganda Kings". Buganda History & Culture. Retrieved 2023-01-26.
- ↑ Wrigley, C. C. (1974). "The Kinglists of Buganda*". History in Africa (in Lungereza). Cambridge University Press. 1: 129–139. doi:10.2307/3171765. ISSN 0361-5413. JSTOR 3171765. S2CID 153810771.
- ↑ "Ssekabaka Chwa Male Winyi – Luganda – Abalangira Ababiito ab'eKibulala" (in American English). Retrieved 2024-06-06.
- ↑ Ssemakula, Mukasa. "List of The Clans of Buganda". Buganda.com. Archived from the original on 29 May 2020. Retrieved 31 August 2014.
- ↑ Serunjogi, Titus (27 April 2006). "Traditional And Modern: Meet The Kabaka's Sisters". Retrieved 31 August 2014.