Wycliffe Kiyingi
Wycliffe Kiyingi (1929 – 15 November 2014) yali muwandiisi wa mizannyo Munnayuganda ng'emizannyo gye gyakwata ku katemba ow'eddembe atambula mu yunivasite y'e Makerere mu makkati g'emyaka gya 1960. [1] Ye Munnayuganda eyasooka okuzannya omuzannyo mu National Theatre mu 1953, n'omuzannyo gwe Pio Mbereenge Kamulaali — ogwasooka mu lulimi oluzaaliranwa olwa Uganda okuteekebwa mu National Theatre. [2] Kiyingi yakola ekibiina kya bannkatemba ekyasooka mu ggwanga nga kirimu Bannayuganda enzaalwa; the African Artistes Association.Ekibiina kino kyatwala enkola ya katemba atambula, nga kitwala ebikolebwa mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo. Eyo ebibiina bya bannakatemba ebirala (nga Makerere Free Traveling Theatre ey’emyaka gya 1960) we byafunira okwegomba, ekyaviirako okukulaakulanya ekibiina kya katemba eky’omu kitundu ekijjuvu mu ggwanga. Era ye Munnayuganda eyatandikawo okuwandiika emizannyo gya leediyo ne TV mu Uganda ku nkomerero y’emyaka gya 1950. [3] [4]
Obuto bwe n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Kiyingi yazaalibwa Ernest Kaggwe mu 1929. Yasomera ku King's College Buddo . Mu kiseera nga Uganda tennafuna bwetwaze, Gavana w’amatwale Andrew Cohen yamuwa sikaala okusoma katemba mu yunivasite y’e Bristol gyeyasinzirira okugenda okwongera ku bukugu bwe mu yunivasite ya Oxford e London. [5]
Okuwandiika
[kyusa | kolera mu edit source]Yawandiika ebitabo ebisoba mu kkumi ebivvuunuddwa ennyo era bingi nga bikyusiddwa ne bifuulibwa emizannyo ate ebirala ne bigattibwa ku bisomesebwa mu siniya ne yunivasite. Ebimu ku mizannyo gye (mu Luganda) kuliko; Gwosussa Emmwanyi, Lozio Bba Ssesiriya, Olugendo lw'e Gologoosa, Muduuma Kwe Kwaffe, Ssempala bba mukyala Ssempala n'omuzannyo gwa leediyo Wókulira, ogwatambula ku Radio Uganda mu kiseera ekyo okumala emyaka kumpi amakumi abiri. [6]
Emirimu egifulumiziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Gwosussa emmwanyi. Macmillan. 1966.
Emizannyo
[kyusa | kolera mu edit source]- Sempala Bba Mukyala Sempala
- W'okulira
- Gw'osussa Emmwanyi
- Olugendo lw'e Gologosa
- Omwana w'Omuntu, 1969. Omuwandiisi w'ebitabo
- Muduuma Kwe Kwaffe
- Omuyimbi Pio Mberenge Kaamulali
Engule n'okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Yasiimibwa n’ekirabo ky’omuyimbi wa Zaabu (1954–2009) okuva mu kitongole ky’ebyobuwangwa ekya Uganda National Cultural Centre, 2009
- Engule ya Golden Drama Award ey'omuwandiisi w'emizannyo asinga okukola emirimu egy'enjawulo, okuva mu Golden Drama Foundation, 2007
- ↑ https://web.archive.org/web/20171019003455/http://www.theeastafrican.co.ke/magazine/A%20man%20for%20all%20seasons/-/434746/994456/-/15r0ss5/-/index.html.
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Wycliff-Kiyingi--the-legacy-of-Uganda-s-Shakespeare/-/691232/2529142/-/ra5d7lz/-/index.html
- ↑ African Popular Theatre: From Pre-colonial Times to the Present Day. James Currey. 1995. p. 135. ISBN 978-0852555330.
- ↑ http://go.galegroup.com/ps/i.do?id=GALE%7CCX3049000651&v=2.1&u=chic_rbw&it=r&p=GVRL&sw=w&asid=f85b1d436761ef603b1348474da6707e
- ↑ http://observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=30214%3Aat-85-wycliffe-kiyingi-still-pulls-packed-theatre-auditoria&catid=73%3Ahighlights&Itemid=70
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=68786