Jump to content

Yabezi Kiiza

Bisangiddwa ku Wikipedia

Yabezi Kiiza (20 Ogwolubereberye 1938 – 1 Ogw'omunaana 2016) yali munnayuganda munnabyabufuzi era yinginiya w'eby'okuzimba. [1] Yaweereza nga Katikkiro wa Bunyoro ow'omulundi ogwa 13, nga buno bumu ku bwakabaka mu Uganda obw'ennono, obukulemberwa Omukama Solomon Iguru I okuva mu 2009 okutuuka mu 2012. [2]

Kiiza yali yinginiya w’eby’okuzimba. [3] Yalondebwa okuba Omumyuka wa Katikkiro wa Bunyoro mu 2007. [3] Yafuuka Katikkiro w'Obwakabaka mu Gwokusatu gwa 2009 oluvannyuma lw'okugobwa kwa Katikkiro eyasooka, Emmanuel Aliba Kiiza. [3]

Kiiza yava ku bwa Katikkiro wa Bunyoro mu Gwolubereberye gwa 2012 ng’agamba nti eby’obulamu bwe tebikyatambula bulungi ng'asumbuyibwa obulwadde bwa ssukaali ne puleesa. [2] [3] [4] Kiiza yawaayo ebbaluwa ye ey’okulekulira nga 5 Ogwolubereberye 2012, era n’awummula ofiisi ku nkomerero y'omwezi Ogwolubereberye. [3]

Yabezi Kiiza yafa obulwadde bwa sukaali ne puleesa mu ddwaaliro lya Masindi Kitara Medical Center e Masindi nga 1 Ogwomunaana 2016, ku myaka 78. [2]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://books.google.com/books?id=iicWAQAAIAAJ
  2. 1 2 3 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1431434/bunyoro-prime-minister-passes-away Cite error: Invalid <ref> tag; name "nv" defined multiple times with different content
  3. 1 2 3 4 5 http://ugandaradionetwork.com/story/bunyoro-kingdom-silent-on-premiers-resignation
  4. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=41838