Yash Tandon

Yashpal Tandon (yazaalibwa 21 Ogwomukaaga 1939) Munnayuganda omukozi w'amateeka, omulwanirizi w'ebyobufuzi, pulofeesa, omuwandiisi era muwabuzi ku nsonga ez'enjawulo naddala eziva mu bantu . [1] [2] Abadde asomesa nnyo mu bitundu by'enkolagana y'ensi yonna n'eby'enfuna by'ebyobufuzi . [3] Yali yeenyigira ddala butereevu mu lutalo lw’okulwanyisa obwannakyemalira bwa Idi Amin mu myaka gya 1970 mu Uganda era amaze ebbanga mu buwanganguse. Ye muwandiisi era omusunsuzi w’ebitabo n’ebiwandiiko ebiwerako era abadde ku lukiiko lw'abasunsuzi ku biwandiiko ebiwerako.
Obuto bwe n'ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Yash Tandon yazaalibwa nga 21 Ogwomukaaga 1939 eri abasuubuzi Abayindi abaali basenga ku kyalo Kaberamaido mu Disitulikiti y'e Teso mu Uganda . Mufumbo era alina abaana babiri n’abazzukulu abawerako. [4] Ayogera Olungereza, Olupunjabi, Gujarati n'oluswayiri.
Alina diguli ya B.Sc. mu by’enfuna okuva mu bbanguliro ly'ebyenfuna erya London School of Economics (1961). Tandon yagenda mu maaso n’afuna diguli ey'okubiri mu by’enfuna mu 1965. Yamaliriza diguli ye eya PhD. mu nkolagana y’ensi yonna mu London School of Economics mu 1969.
Yawangula ekirabo kya International Peace Prize okuva mu David Davies Memorial Institute mu 1962 mu kibuga London ekya Bungereza
Emirimu gye egy'obusomesa
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1964 okutuuka mu 1972 Tandon yasomesa mu Ssettendekero wa Makerere, [5] Kampala, Uganda nga tannasoma mu nkolagana y’ensi yonna eyo. Yamala emyezi esatu ng’omusomesa ow'ekiseera mu Yunivasite y’e Dar es Salaam mu 1968. Yamala emyezi emirala esatu ng’omusomesa ow'ekiseera mu National Institute of Public Administration e Lusaka, Zambia mu 1972. Okuva mu 1967 okutuuka mu 1968, Tandon yamala emyezi kkumi n’etaano mu kibiina ky’abakugu mu kunoonyereza abakulu mu Columbia University, New York City. [6]
Okuva mu 1972 okutuuka mu 1973 yasomesa mu by’enkolagana n’ensi yonna mu London School of Economics, Bungereza. Mu 1973, Tandon yaddayo mu Afrika mu nga Pulofeesa mu by’enfuna by’ebyobufuzi mu Yunivasite y’e Dar es Salaam. [6] [7] Bwe yakomawo mu Uganda oluvannyuma lwa gavumenti ya Amin okugwa, yali pulofeesa mu nkolagana y’ensi yonna mu Ssettendekero wa Makerere, ng’asomesa mu nkolagana y’amawanga ga Afrika.
Okuva mu 1982 okutuuka mu 1983, Tandon yali pulofeesa/ ey'ebuuzibwako mu ttendekero lya Zimbabwe Institute of Development Studies mu kibuga Harare.
Okwenyigira mu by'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gye mu London, Tandon yaddayo mu Uganda. Yavaayo mu 1972 nga Idi Amin agenda mu buyinza. [8] Yagenda mu buwanganguse, [9] nga yasookera Kenya okumala emyezi esatu, n’oluvannyuma n'agenda mu Bungereza okumala emyezi mwenda.
Mu myaka gya 1970 Tandon y'enyigira mu mirimu gy’ebyobufuzi egy’ekyama n’amaanyi ga demokulasiya alwanirira enkyukakyuka mu nfuga ya Amin mu Uganda. Yali mmemba eyatandikawo ekibiina kya Uganda National Liberation Front (UNLF), [10] era omu ku bategesi abakulu ab'olukungaana lwa Moshi olwatuula okutongoza Gavumenti ya UNLF mu Gwokutaano 1979. [11]
Oluvanyuma lw'okuggwa kw'obukulembeze bwa Amin, Tandon yaddayo mu Uganda. Yali mmemba ku kakiiko lw’eggwanga olw'ebuuzibwako olwa (National Consultive Council), nga Minisita omubeezi . [12] Mu kiseera kino, yali y'enyigira mu nteeseganya n’ebitongole ebigatta gavumenti n’abavugirizi bassente olw’okuddaabiriza eby'enfuna bya Uganda. Yali ssentebe era mmemba mu bukiiko bwa Paalamenti obw’enjawulo. [13]
Mu 1980, nga Gavumenti ya UNLF egibwa mu buyinza ab'amaggye, [14] [15] Tandon yagenda mu buwanganguse mu Kenya okumala omwaka gumu n’ekitundu. Eyo gye yali omutandisi era dayirekita w’ekitongole ekidduukirira abanoonyi b’obubudamu ekya Uganda Refugees Relief Service (URRS). [16] Mu kiseera kye kimu, y'enyigira mu mirimu gy’ebyobufuzi n'okulwanirira demokulasiya mu Uganda.
Emirimu emirala ng'ogyeko obusomesa
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1966 okutuuka mu 1968 Tandon yali Dayirekita w’ettendekero lya Institute of Diplomacy e Makerere. Mu myaka gya 1970, yali dayirekita omukulu w'ettendekero lya Makerere Institute of Social Research (MISR), [17] Omuwi w’amagezi mu ttendekero lya International Peace Academy mu New York era nga yali mmemba eyatandikawo ekibiina Uganda Asia Evacuees Association. Mu kiseera kino, Tandon yaliko omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina kya International Studies Association (ISA), Amerika. Era yali mmemba omutandisi w’ekibiina kya African Association of Political Science (AAPS) era nga ye Dayirekita w'ebyokunoonyereza eyasooka.
Mu myaka gya 1980 yali mutandisi era dayirekita wa kkampuni ya Research and Consultancy Ltd., Nairobi, Kenya . Era ye mutandisi era maneja wa kkampuni ya Research and Consultancy (pvt) Ltd., (RESCON), Harare.
Okuyita mu myaka gya 1990 ne 2000, Tandon yali mmemba eyatandikawo era nga ye dayirekita eyasooka ow’ekibiina kya International South Group Network (ISGN). Ye omutandisi era dayirekita w’ekitongole kya Southern and Eastern Africa Trade Information and Negotiations Institute (SEATINI). Yali mmemba ey'atandikawo ekibiina kya Alternatives to Neoliberalism in Southern Africa (ANSA). [18] Tandon y'aweereza nga dayirekita omukulu owa South Center okumala ebbaga ly'amyaka etaano okutuusa lwe yawummula mu 2009.
By'awandiise ne by'asunsudde
[kyusa | kolera mu edit source]Tandon awandiise nnyo ku nsonga ezikwata ku by’enfuna bya Afrika n’enkolagana y’ensi yonna. Y'akuguka mu by’enfuna by’ebyobufuzi.
Awandiise emiko gy’abayivu egisukka mu kikumi era awandiise n’okulongoosa ebitabo ebikwata ku nsonga ez’enjawulo omuli eby'obufuzi bya Afrika, Emirembe n’Obutebenkevu, eby’obusuubuzi ne WTO, Eby’enfuna by’ensi yonna, South – South Cooperation n'eddembe ly'obuntu . Aweerezaako ne ku bukiiko obuwabuzi obuwerako.
Abadde ku lukiiko lw’abawandiisi b'ebiwandiiko by'enjigiriza ebiwerako, omuli Mawazo (Makerere), Instant Research on Peace and Violence (Finland) ne Sage International Yearbook on Foreign Policy Studies (Syracuse, USA), African Review, [19] Utafiti (nga omuwandiisi omukulu ), [20] Economic Journal of Zimbabwe. [21] Era yye yali omusunsuzi wa Yunivasite y’e Dar es Salaam: Debate on Class, State and Imperialism (1982).
Ebitabo ebyafulumizibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Bye yawandiika
[kyusa | kolera mu edit source]- Le commerce, c'est la guerre, préface de Jean Ziegler (PUBLICETIM N°39, édition du CETIM, omuzingo gwa mpapula 224, 2015, , www.cetim.ch)
- Trade is War (Or Book, New York, 2015)
- Ending Aid Dependence, with Bejamin W Mkapa (Fahamu Books, 2008) - French translation: En finir avec la dépendance à l'aide, Préfaces de Samir Amin et de Benjamin W. Mkapa (PUBLICETIM N°34, co-édition CETIM/Fahamu Books/South Centre, empapula 224, 2009, )
- Daring to Think Differently: Development and Globalisation (Fahamu Books, 2009)
- In Defence of Democracy (Dar es Salaam University Press, 1994)
- The New Position of East Africa's Asians, Mrg Report 16: Problems of a Displaced Minority, with arnold Raphael (Minority Rights Group, 1984)
- Regional Development at the National Level: Canadian and African Perspectives, with Timothy M Shaw (University Press of America, 1986)
- Problems of a Displaced Minority: New Position of East African Asians (Minority Rights Group, 1973)
- Militarism and Peace education in Africa: A guide and manual for peace education and action in Africa (African Association for Literacy and Adult Education, 1989)
By'asunsudde
[kyusa | kolera mu edit source]- Paved with Good Intention: Background to the GATT Uruguay Round and WTO (SEATINI Readings in Globalisation and World trade), with Megan Allardice (SEATINI Zimbabwe, 2005)
- Readings in African international Relations (East African Lit. Bureau, 1977)
- Horizons of African Diplomacy, with D Chandarana (East African Lit. Bureau, 1977)
Emiko gy'awandiisemu
[kyusa | kolera mu edit source]- Kenya democracy on trial, 2009
- Political, economic and climatic crises of Western civilization: Dangers and opportunities
- The Violence of Globalisation
- The Future of Aid
- Developed Countries are Playing Duck and Dive
- The Principles of Food Sovereignty
- Foreign Direct Investment is Impoverishing the South
- The Paris Declaration and Aid Effectiveness
- The Principles of Food Security
- The committed intellectual: reviving and restoring the National Project
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://www.southcentre.org/index.php?option=com_content&task=view&id=962&Itemid=99999999
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2011-07-26. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2011-06-12. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9789970447008
- ↑ Ali A. Mazrui, The Role of Academics in Political Change, intranet.mak.ac.ug/.../Public%20Lecture-Ali%20Mazrui-Full%20Paper.doc
- 1 2 https://web.archive.org/web/20070719073200/http://helsinkiconference.fi/netcomm/ImgLib/53/163/speakers_bios.pdf
- ↑ Godfrey Mwakikagile, Life Under Nyerere, Godfrey Mwakikagile, 2006, p146
- ↑ http://www.britannica.com/EBchecked/topic/20642/Idi-Amin
- ↑ Abdu Basajabaka Kawalya Kasozi, Nakanyike Musisi, James Mukooza Sejjengo, The Social Origins of Violence in Uganda, McGill-Queen's Press, 1994, p130
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Taylor_and_Francis
- ↑ Kenneth Ingham, Obote: a political biography, Routledge, 1994, p152
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2011-07-22. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2011-07-19. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/CRC_Press
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2010-01-13. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ repository.forcedmigration.org/text/?pid=fmo:2150
- ↑ repository.forcedmigration.org/text/?pid=fmo:1148
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2008-10-10. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://africanstudies.in/index_files/Page3045.htm
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2011-06-06. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://doi.org/10.1080%2F03056249208703967
- Global Alternatives Profile, yafunibwa nga 25 Ogwomukaaga 2009
Lua error: Invalid configuration file.