Jump to content

Yasmin Shariff

Bisangiddwa ku Wikipedia
Yasmin Shariff
Shariff mu mwaka gwa 2016

Yasmin Shariff (yazaalibwa mu 1956 mu Uganda) munnayuganda, enzaalwa y'e Bungereza, omukubi wa pulaani z'okuzimba munnabutonde bwansi era pulofeesa wa yunivasite, amanyiddwa olwokutaasa kwe eri obwenkanya mu kikula ky’abantu mu kisaawe ky'okukuba pulaani. [1]

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yasmin Shariff yazaalibwa abazadde abayindi mu Uganda, mu Buvanjuba bwa Afirika mu 1956, Uganda bweyali ekyakuumibwa Bungereza. Obuto bwe yabumala wakati wa Hamshire mu Bungereza ne Nairobi okutuusa lwe yasembayo okusenga mu Heartfordshire mu 1977. [1] [2] Yasoma era n'atikkirwa mu kukuba pulaani z'okusimba mu bbanguliro eribangula abakubi ba pulaani z'okuzima era Bartlett School of Architecture (Faculty of the Built Environment) ku University College London . Ekyo nga tekinabaawo, Shariff yali amalirizza ddiguli eyookubiri mu kusoma n'okunoonyereza ku byafaayo by'omuntu eby'edda ng'oyita mu kuyiikula ebifo, okusoma n'okwekeneenya ebintu byeyakozesanga bye yaleka (Archeology) mu1981 mu bbanguliro ly'emisomo gy'abantu abomubitundu by'obuvanjuba ebyokumpi n'ewala n'Abafirika , mu yunivasite y'e London

Mu 1983, yafumbirwa omukubi wa pulaani z'okuzimba Denis Sharp (1933–2010), gwe yazaala naye omwana ow’obulenzi, Deen, era olwo amaka ne baggaza Epping, Essex.

Ng’ogasse ku kukuba pulaani z'okuzimba mu kkampuni nga Populous, Pringle Brandon (Perkins ne Will) ne Jestico & Whiles, Shariff n'era abadde pulofeesa wa yunivasite okumala emyaka egisoba mu kkumi ku yunivasite y’e Westminster. Mu kiseera kino mmemba ku lukiiko olufuzi olwa kkampuni enkubi ya pulaani z'okuzimba eya Dennis Sharp Architects gye yeegattako mu 1992. Abadde mu kifo ky'obukulembeze obwanakyewa owa AA and AA XX 100 ,wamu n’okukola ogw'okwebuzibwako mu by'enjigiriza ku tendekero ly'abakubi ba pulaani z'okuzimba erya Eric Parry Architects.

Yeetabye mu pulojekiti nga Aspenden Lodge (2007–2009); okuddaabiriza ekkolero lya Norman Foster Renault mu Swindon (2006–2008); ekifo ky’abantu b’omu Luton (2005), Eco-Home, Bayford (2005–2009); situdiyo y’amazina ya Strawdance; ne Pulojekiti y’obutonde bw’ensi mu kitundu (1999). Yakola ku pulojekiti ya Trinity Bridge mu Manchester (1994–95), gye yakolera n’omukubi wa pulaani z'okuzimba Santiago Calatrava . [3] [4] [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Yasmin Shariff". Women in Architecture (in American English). 17 March 2015. Retrieved 17 November 2017.
  2. Poizat, Sandra Gutierrez (5 October 2015). "Yasmin Shariff 1956". Un Dia Una Arquitecta (in Lusipanya). Retrieved 6 December 2017.
  3. "Country coordinator: United Kingdom Yasmin Shariff". Women in Architecture (in American English). 2015-03-18. Retrieved 17 November 2017.
  4. Brooks, Katherine (31 May 2017). "Game-Changing Architect Zaha Hadid Gets The Google Doodle She Deserves". Huffington Post (in American English). Retrieved 17 November 2017.
  5. Hurst, Will (2006). "Stop Making Excuses and Tackle Diversity". Building Design (1744): 4. Retrieved 6 December 2017 via EBSCOhost.
  6. Rykwert, Joseph (21 June 2010). "Dennis Sharp obituary". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 17 November 2017.
  7. "DSA". www.sharparchitects.co.uk. Archived from the original on 7 April 2016. Retrieved 17 November 2017.
  8. Cuadra, Manuel. "CICA - International Committee of Architectural Critics". cicarchitecture.org. Archived from the original on 16 March 2016. Retrieved 17 November 2017.
  9. "Yasmin Amirali Shariff". Architects Registration Board. Retrieved 17 November 2017.
  1. 1 2 Poizat, Sandra Gutierrez (5 October 2015). "Yasmin Shariff 1956". Un Dia Una Arquitecta (in Lusipanya). Retrieved 6 December 2017.
  2. Hurst, Will (2006). "Stop Making Excuses and Tackle Diversity". Building Design (1744): 4. Retrieved 6 December 2017 via EBSCOhost.
  3. "DSA". www.sharparchitects.co.uk. Archived from the original on 7 April 2016. Retrieved 17 November 2017.
  4. Cuadra, Manuel. "CICA - International Committee of Architectural Critics". cicarchitecture.org. Archived from the original on 16 March 2016. Retrieved 17 November 2017.
  5. "Yasmin Amirali Shariff". Architects Registration Board. Retrieved 17 November 2017.