Yetunde Arobieke
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Nigeria | |
| Yazaalibwa nga | 6 Gwakutaano(Muzigo) 1960 | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Nigerian Pidgin, Yoruba | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
| Gyeyasomera | University of Ibadan | |
Yetunde Arobieke (yazaalibwa 6, Ogwokutaano 1960)[1] ye kaminsona wa Gavumenti ez'ebitundu n'ensonga z'abantu mu kiseera kino mu ssaza ly'e Lagos.[2]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Arobieke pulayimale yagisomera ku Ikeja Primary School. Oluvannyuma, yegatta ku Multi-Lateral Grammar School, Okun Owa, mu ssaza ly’e Ogun. Oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gye egya pulayimale, yeegatta ku Adeola Odutola College, Ijebu-Ode Ogun State secondary education level, era oluvannyuma lw’okutikkirwa, yaweebwa ekifo mu Yunivasite y’e Ibadan, gye yatikkirwa diguli ya Bachelor of Science mu 1983. Yafuna diguli ye eya master mu by’obukulembeze okuva mu Lagos State University mu 2008.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okuweereza mu lkifo ky’abavubuka mu ggwanga, yatandika bizinensi ey’obwannannyini ng’akola mu byakompyuta ne byamasanyalaze ekyamuleetera okutandikawo bizinensi endala ezikola obulungi. Mu bino kuliko Compu-point Nigeria Limited, Data point Nigeria limited, Ipod Nigeria limited ne Taseto Nigeria Limited. Arobieke y'akulira kkampuni zino.[3] Arobieke aweerezza mu ofiisi z’ebyobufuzi. Yali ssabawandiisi eyasooka owa Agboyi-Ketu LCDA mu 2003, era oluvannyuma, yafuuka ssentebe wa Agboyi-Ketu LCDA asooka wakati wa 2004 ne 2007. Ng’aweereza mu Ssaza ly'e Lagos, mu kusooka, yalondebwa nga Kaminsona okuweereza mu Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu n’ensonga z’abantu, ng'alondebwa Gavana Sanwo-Olu mu 2019, era gye buvuddeko, yaddamu okusindikibwa mu Minisitule y’okutondawo obugagga n’emirimu mu Gwoluberyeberye 2020 okutuuka mu Gwomwenda 2023.[1][4][5] Mu bukulembeze bwe, yassa mu nkola obukodyo obw’enjawulo ku ngeri y’okumalawo ebbula ly’emirimu mu ssaza ly’e Lagos.[4][6][7][8]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Hon.(Mrs).Yetunde Arobieke — HONOURABLE COMMISSIONER". Ministry Of Wealth Creation And Employment – Lagos State Government (in American English). Archived from the original on 2020-11-13. Retrieved 2020-11-13. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - ↑ "Lagos Governor Ambode inaugurates 37 commissioners, special advisers | Premium Times Nigeria" (in British English). 2015-10-19. Retrieved 2020-11-13.
- ↑ "Hon.(MRS).Yetunde Arobieke — HONOURABLE COMMISSIONER – Ministry of Wealth Creation and Employment – Lagos State Government". Archived from the original on 2020-11-13. Retrieved 2020-11-13.
- 1 2 "Lagos supports 2,204 businesses in one year to reduce unemployment". The Guardian. Lagos, Nigeria. 2020-05-29. Retrieved 2020-11-13.
- ↑ Ajayi, Omokolade (2020-10-29). "Lagos sets up Graduate Internship Programme with a monthly stipend of N40,000 for youth beneficiaries". Nairametrics (in British English). Retrieved 2020-11-13.
- ↑ "How to apply for Lagos state graduate internship programme". BBC News Pidgin. Retrieved 2020-11-13.
- ↑ "Civil servants must work hard to actualise Sanwo-Olu's vision – Arobieke". P.M. News. Lagos, Nigeria. 2019-08-26. Retrieved 2020-11-13.
- ↑ "Lagos begins internship programmes for 4,000 graduates, reveals requirements, salary - Daily Post Nigeria". Ground News (in Lungereza). Archived from the original on 2020-11-13. Retrieved 2020-11-13.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- "Hon.(Mrs).Yetunde Arobieke — Honourable Commissioner – Ministry Of Wealth Creation And Employment – Lagos State Government". wealthcreation.lagosstate.gov.ng. Archived from the original on 2020-11-13. Retrieved 2020-11-13.