Ykee Benda
Wycliff Tugume (yazaalibwa 11 Ogwekkuminoogumu 1991), mu by'okuyimba amanyiddwa nga Ykee Benda. Muyimbi, muwandiisi wa nnyimba, era mukulembeze mu by'ennyimba Omunnayuganda. Ono ye mutandisi era akulira ekibiina kya Mpaka Records era nga ye pulezidenti w’ekibiina ekigatta abayimbi ekya Uganda Musicians Association (UMA). [1]
Yayitimukira mu 2016 n'ennyimba ezaakyaka nga "Muna Kampala" ne remix ya "Farmer," era amanyiddwa nnyo olw'okuyimba kwe okw'enjawulo okugatta Afrobeats n'ennyimba za pop, R&B, ne dancehall. [2]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Wycliff Tugume yazaalibwa Kireka mu bitundu by’e Kampala, bazadde be kuliko Alex ne Ruth Mpakanyi. Yasoma pulayimale ne siniya mu Uganda nga tannagenda mu Algeria kusoma amasomo agaawaggulu. Yeewandiisa mu yunivasite y’eAnnaba, gye yatikkirwa diguli esooka mu Chemical Engineering nga yayitira mu ddaala lisooka.
Mu kiseera kye yamala e Algeria, yatandika okwongera ku bukugu bwe mu kuyimba ng’awandiika ennyimba n’okuyimba eri bayizi banne aba yunivasite. Wadde yatikkirwa nga yinginiya, yasalawo okukola omulimu gw'okuyimba okw'ekikugu bwe yakomawo mu Uganda mu 2015. [3]
Omulimu gwe ogw’okuyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Entandikwa y’emirimu n’okuyitimuka kwe (2016–2018)
[kyusa | kolera mu edit source]Ykee Benda yatongoza omulimu gwe ogw'okuyimba eby'ekikugu mu 2016. Oluyimba lwe olukulu olwasooka, "Muna Kampala" (Nva mu Kampala), lwatambula nnyo ku mikutu gyempuliziganya era nerwanjula eddoboozi lye ery'enjawulo eri abantu ba Uganda. Okuyitimuka kwe kwateekebwa ku luyimba lwa "Farmer," olwavuga ennyo mu ggwanga lyonna. Lwaddibwamu, nga ali n'omuyimbi omukyala omututumufu Sheebah Karungi, yafuuka emu ku nnyimba ezaasinga amaanyi mu 2017 era nerwoyongera ku abawagizi be. [2] [4]
Mu Gwekkumineebiri 2017, yafulumya olutambi lwe olwasooka mu situdiyo, lwe yatuuma Kireka Boy, nga lulimu ennyimba ze nnyingi ezimanyiddwa ennyo ze yayimba yekka, n’ezo ze yayimba ne bayimbi banne. Olutambi luno lwatongozebwa n’ekivvulu ekyali ekyatambula obulungi ku Kampala Serena Hotel, ekyamukakasa ng’omuyimbi owamaanyi mu mulimu ogwo. [5]
Mpaka Records
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2019, Ykee Benda yatandikawo kkampuni ye ey’okuyimba, eya Mpaka Records, ng’egenderera okufuula bizinensi ye ey’okuyimba ey’ekikugu n’okukuza ebitone ebipya. [6] Omu ku bayimbi abaasooka okwewandiisa mu kkampuni eno ye Dre Cali, eyatuuka ku buwanguzi wansi waayo. [7] Ng’ayita mu Mpaka Records, Benda agaziyizza omulimu gwe okuva ku muyimbi okutuuka ku kukulira abayimbi, nga yeenyigira mu kuddukanya ebitone, okufulumya, n’okuta ennyimba.
Obwapulezidenti bwe obw'ekibiina ekigatta abayimbi mu Uganda.
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomwenda gwa 2020, Ykee Benda yalondebwa okubeera akola nga pulezidenti w’ekibiina ekigatta abayimbi ekya Uganda Musicians Association (UMA), oluvannyuma lw’omuyimbi eyamusooka okulekulira. Oluvannyuma yakwata obwapulezidenti mu butongole. Mu kiseera kye yamala, yalwanirira obumu mu bayimbi, okukwasisa eddembe ly’abayimbi okulungi, n’okuwagira gavumenti mu mulimu gw’okuyiiya naddala mu biseera eby’okusoomoozebwa okwaleetebwa ekirwadde kya COVID-19. [8]
Wabula olw’okulwanisa okulwanagana munda mu kibiina okwali kutasalako n’obutabeera bumu mu kibiina, yalekulira obwa pulezidenti mu Gwokubiri gwa 2021, oluvannyuma lw’okuweereza okutaaweza mwaka. [1]
Obuyiiya bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ykee Benda amanyiddwa nnyo olw’obusobozi bwe obw’okuyimba ne sitayiro ye egwa buli wamu, nga egwa mu R&B, pop, ne dancehall ku musingi gwa Afrobeats. Ayimba mu nnimi ezitali zimu, omuli Olungereza, Oluganda, n’Olufaransa, ze yayiga mu kiseera kye yamala e Algeria. Ennyimba ze zitera okubeera ku miramwa egy’omukwano, okuganza n’obulamu bw’abantu. Abadde akolagana n’abayimbi bangi okuva mu Uganda n’ensi yonna, omuli Reekado Banks (Nigeria), Jason Derulo (USA), n’abayimbi ab’enjawulo ab’oku ntikko okuva mu East Africa.
Ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]Alubaamu za situdiyo
[kyusa | kolera mu edit source]- Kireka Boy (2017)
Ze yayimba yekka ezasunsulwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- "Muna Kampala"
- "Farmer" (yaluddamu ne Sheebah Karungi)
- "Eva" (yali ne DJ Slick Stuart & Roja)
- "Malaika"
- "Byonkola"
- "Singa"
- "Superman"
- "Abeeyo"
- "Bomboclat" (naabayimbi abalala)
- "Turn Up The Vibe" (yali ne A Pass)
Awaadi n’okusunsulwa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ykee Benda afunye awaadi nnyingi n'okusunsulwamu nga asiimibwa olw'omulimu gwakoze mu kisaawe ky'okuyimba mu Uganda
| Omwaka | Omukolo gw'awaadi | Olubu | Omulimu ogusunsuddwa | Alizaati | Ref. |
|---|---|---|---|---|---|
| 2017 | Awaadi za Buzz Teeniez | Teeniez Breakout Arttist | Yennyini | Yasinga | [9] |
| Teeniez Omuyimbi Omusajja | Yasinga | ||||
| Teeniez Omuwandiisi w'ennyimba ow'omwaka | Yennyini | Yasinga | |||
| 2017 | Awaadi za Uganda Entertainment Awards | Omuyimbi Omupya Asinga | Yennyini | Yasinga | [10] |
| 2018 | Awaadi za Zzina | Omuyimbi Omusajja Asinga | Yennyiniy | Yasinga | [11] |
| Enkolagana esinga obulungi mu mwaka | "Farmer (Yaluddamu)" (ne Sheebah) | Yasinga | |||
| Awaadi za African Muzik (AFRIMMA) | Omupya Asinga | Yennyini | Yasinga | [12] | |
| 2019 | Awaadi za Zzina | Omuyimbi Omusajja Asinga | Yennyini | Yasinga | [13] |
| 2021. | Awaadi za Janzi | Album y'omwaka esinga | [14] |
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/100085
- 1 2 https://www.howwe.biz/news/interview/20341/ykee-benda-interview
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/201704/four-one-one/ykee-bendas-journey-from-algeria-to-topping-the-charts.html
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/201703/video/sheebah-and-ykee-bendas-farmer-remix-video-is-finally-here.html
- ↑ https://mbu.ug/2017/12/03/missed-ykee-bendas-kireka-boy-album-listeners-party/
- ↑ https://www.chano8.com/ykee-benda-starts-own-record-label-mpaka-records/
- ↑ https://mbu.ug/2020/01/29/ykee-benda-unveils-new-signing-under-mpaka-records/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/90795
- ↑ https://bigeye.ug/ykee-benda-shines-buzz-teeniez-awards-heres-full-list-winners/
- ↑ https://bigeye.ug/uganda-entertainment-awards-2017-heres-the-full-list-of-winners/
- ↑ https://www.thecampusguide.com/full-list-of-zzina-awards-2018-winners/
- ↑ https://thetowerpost.com/2018/10/08/eddy-kenzo-ykee-benda-shine-at-afrimma-awards-2018/
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/201903/four-one-one/full-list-zzina-awards-2019-winners.html
- ↑ https://nilepost.co.ug/entertainment/122117/full-list-nominations-for-the-maiden-janzi-awards-announced