Yokaana Maviiri
John Chrysostom Maviiri munnayuganda omukugu mu by'eddiini, omuddukanya w'ebyensoma n'ebyenjigiriza Yaliko omumyuka wa kansala owa Yunivasite eya Uganda Martyrs ,ey'obwannannyini eyeegattira mu kkanisa ya bakatoliki mu Uganda . Yayingira offiisi mu gw'okusooka mu mwaka gwa 2015 n’awummula mu 2021, n’adda mu bigere bya Pulofeesa Charles Olweny, eyawummula. [1]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Alina Dipuloma mu by’eddiini, gyeyafuna okuva mu yunivasite e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda. Era alina diguli ya Licentiate mu Dogmatic Theology ne Doctorate mu Dogmatic Theology, byombi bye yafuna okuva mu Pontifical Urban University, e Roma, Italy. Ng’oggyeeko ekyo, alina Dipulooma endala mu by’eddiini okuva mu Ggaba National Major Seminary ne Dipuloma mu by’obufirosoofo, gye yafuna mu Alokolum Seminary e Gulu, Uganda. [2]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Maviiri yatandika omulimu gw’obusomesa mu mwaka gwa 1987 mu St. Mbaaga Seminary e Ggaba, Uganda, [3] ng’asomesa eyo okutuusa mu 1991. Okuva mu mwaka gwa 1995 okutuuka mu 2002, yaweereza ng’omusomesa, oluvannyuma nafuuka omusomesa omukulu era omuyambi mu Yunivasity y'abakatoliki mu buvanjuba bwa Africa, mu kitongole ky'ebyeddini. Okuva mu mwaka gwa 2002 okutuuka mu 2011, yaweereza ng’omumyuka wa kansala owa yunivasite y’Abakatuliki mu buvanjuba bwa Afrika. [2] Nga 14 ogw'okusooka mu 2015, yakwata offiisi y’omumyuka wa kansala mu Uganda Martyrs University mu butongole n’awummula mu 2021 okussa essira ku mulimu gw’obusumba mu bulabirizi bw’e Lugazi. [4]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Kafeero, Stephen (14 November 2014). "1,700 Graduate at Nkozi". Archived from the original on 3 February 2015. Retrieved 2 February 2015.
- 1 2 "Professor John Chrysostom Maviiri Appointed Vice Chancellor Uganda Martyrs University". Uganda Campus Times. 23 November 2014. Retrieved 3 February 2015.
- ↑ "List of Major Catholic Seminaries in Uganda". Hereintown.com. The Archdiocese of Tororo. Retrieved 3 February 2015.
- ↑ "Professor John Maviiri Takes Over As Uganda Martyrs University Vice Chancellor". Uganda Campus Times. 18 January 2015. Retrieved 3 February 2015.