Jump to content

Yona Okoth

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okoth yazaalibwa mu kyalo Maundo,Nagongera,Disitulikiti y'e Tororo mu buvanjuva bwa Uganda era yasomera ku ttendekero ly'ebyeddiini li Buwalasi ; yatuuzibwa okuba kabona (Priest) mu 1955 era n’agenda mu St. Augustine College, Canterbury, Bungereza mu 1963, gye yatikkirwa dipulooma mu by’eddiini. Mu 1966, yasomera ku Wycliffe College ku Yunivasite y'e Toronto Canada, gye yafunira diguli mu by’eddiini. [1]

Yaweereza mu bulabirizi bw’e Mbale (gye yali omuwanika w'obulabirizi) era n’alondebwa okuba omuwandiisi w’amasaza mu kkanisa ya Uganda mu kiseera ekyo, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire mu 1965. Era yaliko omuwandiisi w’amasaza mu kkanisa y'abakulisitaayo eya Uganda okuva mu 1965 okutuuka mu 1972 bwe yalondebwa ng'Omulabirizi wa Bukedi .

Mu 1977, yava mu Uganda n’agenda mu buwanganguse mu Amerika nga kyava ku kwetamwa mu kiseera ky’obufuzi bwa nnakyemalira Idi Amin; mu kiseera kino, yasoma ddiguli eyokusatu mu by'eddiini ku ttendekero li Wycliffe .

Yatukuzibwa nga ssaabalabirizi wa Uganda mu 1984 era n’abeera mu ofiisi okutuusa mu 1995.

Yali mufumbo n’abaana mwenda.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. New Vision
  2. Episcopal Archives website, Okoth to Succeed as Ugandan Archbishop, article dated November 10, 1983
  3. Crockford's Clerical Directory 1975/6 p861: London; OUP; 1976 Template:ISBN
  4. Archives of the Anglican Church of Uganda

Template:S-start Template:S-rel Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end

Ebiitiibwa mu bupolotesutantte/ mu bukulisitaayo
Yasikira

Silvanus Wani

Ssaabalabirizi w'ekkanisa y'abakulisitaayo eya Uganda

1983-1995

Yasikirwa

Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named EA