Yovan Adriko
Yovan Adriko Munnayuganda, munnabyabufuzi era mmemba wa Paalamenti akiikirira Essaza lye Vurra. Ono yalondeddwa mu Paalamenti ku tikiti y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . [1] [2] [3] Mu Paalamenti ey’ekkumin’emu, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti mu Gavumenti eya wakati. [4]
Emirimu egy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Adriko yali Ssentebe LCIII ow'eGgombolola ye Logiri okumala emyaka 15 nga tannawummula mu 2011. [5] [6] Yeesimbawo ku tikiti ya NRM mu Ssaza lye Vurra mu 2016 kyokka n’awangulwa olw’obutaba na buyigirize bumala. Mu 2020, yaddamu okwesimbawo ku tikiti ya NRM n’afuna obululu 7,000 nga yawangula Minisita omubeezi ow'ebyensimbi Gabriel Ajedra Aridru eyafuna obululu 5,000. [7] Yawangula mu kulonda kwa bonna okukiikirira Essaza lya Vurra mu Paalamenti kyokka obuwanguzi bwe bwasoomoozebwa olw’obutaba na buyigirize bumala. Empapula ze ez'obuyigirize zeyayanjulira akakiiko k’ebyokulonda zaali ziraga omwezi Gwekkuminogumu/Gwekkuminebiri 2009 okuva mu bigezo by’eggwanga mwe yafunira F9 (okugwa) mu masomo musanvu, okuyita mu by’enjigiriza by’eddiini y’Ekikristaayo (CRE) ne (C) mu ssomo ly’Ebyafaayo. Empapula ze eza siniya ey'omukaaga zaliko akabuuza ku butya bweyasoma siniya ey'omukaaga nga tayise siniya y'akuna, ekyetaagisa okusobola okusoma siniya ey'omukaaga. [8] [9]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://chimpreports.com/minister-ajedra-loses-to-lciii-boss-in-nrm-primaries/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/111308
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/adriko-yovan-6874/
- ↑ https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-public-accounts-central-government/
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/former-lciii-chairperson-defeats-minister-aridru-in-nrm-primaries
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/adriko-his-walk-in-politics-education-and-business-1586106
- ↑ https://www.independent.co.ug/former-lciii-chairperson-defeats-minister-aridru-in-nrm-primaries/
- ↑ https://bazzup.com/blog/leaked-mps-academics-results-leave-ugandans-in-shock/
- ↑ https://redpepper.co.ug/leaked-vurra-mp-uce-results/109214/