Jump to content

Yunivasite y'e Kyambogo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kyambogo University (KYU) yunivasite ya gavumenti mu Uganda . Y'emu ku Yunivasite ezisinga obunene era ez'ekitiibwa mu Uganda era y'emu ku yunivasite za gavumenti omunaana saako n'amatendekero agagaba diguli mu ggwanga nga zitambula n'omubala ogusoma nti , "Okumanya n'Obukugu mu Buweereza."

Yunivasite y’e Kyambogo yatandikibwawo mu 2003 olw'etteeka erifuga yunivasite n’amatendekero ga waggulu amalala erya 2001 nga ligatta amatedekero omwali Uganda Polytechnic Kyambogo (UPK), Institute of Teacher Education, Kyambogo (ITEK), n’ekitongole kya Uganda National Institute of Special Education (UNISE). [1]

Ettendekero lya Uganda Polytechnic Kyambogo

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1928, emisomo gy’ebyobusuubuzi n’ebyemikono mu Makerere College (kati Makerere Yunivasite ) gy'akutulwamu ne gifuuka Kampala Technical School empya. [2] Essomero lino lyasengukira e Nakawa ne lifuuka Kampala Technical Institute. [3] Mu 1958, essomero eryo ly'asengulwa ne litwalibwa e Kyambogo ne lituumibwa Uganda Technical College n'oluvannyuma ne lituumibwa erinnya lya Uganda Polytechnic, Kyambogo.

Ettendekero ly’okusomesa abasomesa, Kyambogo

[kyusa | kolera mu edit source]
Ettendekero elisomesa abasomesa Kyambogo

ITEK yatandika ng’ettendekero lya gavumenti eritendeka abasomesa mu 1948 e Nyakasura mu Disitulikiti y’e Kabarole . Mu 1954, yakyusibwa n'etwalibwa ku lusozi Kyambogo n’efuuka ettendekero ly’abasomesa mu ggwanga era oluvannyuma n’efuuka ITEK mu mateeka ga Paalamenti mu 1989. [4]

Ettendekero ly'ebyenjigiriza ery'enjawulo erya Uganda National Institute of Special Education

[kyusa | kolera mu edit source]

UNISE yali yeegattira mu kitongole ky’ebyenjigiriza eby’enjawulo mu Bbanguliro ly’ebyenjigiriza mu yunivasite y’e Makerere, n’efuuka ettendekero eryetongodde mu tteeka lya Paalamenti mu 1998.

Kyambogo University Central library
Etterekero ly’ebitabo ery’omu yunivasite y’e Kyambogo

Ekibangirizi kya yunivasite kisangibwa ku lusozi Kyambogo, nga kilomita 8 (5 mi) okuva ku luguudo mu Buvanjuba bwa Disitulikiti y’ebyobusuubuzi wakati mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. [5] Ebibalo bya maapu ku yunivasite eno biri: 0°21'00.0"N, 32°37'48.0"E (Latitude:0.350000; Longitude:32.630000). [6]

Enteekateeka n’okuddukanya emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kati Yunivasite y’e Kyambogo erina amabanguliro mukaaga, amasomero mukaaga n’ettendekero limu: [7]

Abayizi abaaliwo abamanyiddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Henry Bagiire, Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, 2011-2016
  • Charles Bakkabulindi, MP, Minisita Oomubeezi ow’Ebyemizannyo okuva mu 2005
  • Rukiya Chekamondo, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kukyusa bizinensi okuva mu gavumenti okudda mu by'obwannannyini, 2006-2011
  • Lukia Isanga Nakadama, Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’ebyobuwangwa okuva mu 2006
  • Daniel Kidega, Sipiika ow’okuna mu lukiiko lw’ababaka ba Paalamenti mu buvanjuba bwa Afrika okuva mu 2014
  • Brenda Nabukenya, Omubaka wa palamenti owa Disitulikiti y’e Luwero wakati wa 2011 ne 2016, Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Luwero mu Paalamenti 2021-

Mu kisaawe ky'abamusanyusa

[kyusa | kolera mu edit source]

Eby'emizannyo

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Diana Nkesiga, Vicar wa Lutikko y'Abatukuvu bonna, Nakasero okuva mu 2007
  • Julius Ocwinyo, mutontomi era omuwandiisi w’ebitabo
  • Kazawadi Papias Dedeki, Yinginiya era pulezidenti w'ekitongole ekitaba ba yinginiya ekya Federation of Africa Engineering Organizations
  • Stephen Buay Rolnyang, omukulembeze w’abayeekera mu South Sudan era eyali Genero wa SSPDF

Abakulu b'amasomero

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

 

Lua error: Invalid configuration file.Template:Kampala DistrictTemplate:Universities in Uganda