Jump to content

Yusuf Mutembuli

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Yusuf Mutembuli Munnayuganda muwolereza wa kkooti enkulu, musomesa, munnabyabufuzi era mmemba mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y’e Butaleja mu Konsityuwensi y’e Bunyole ey'eBuvanjuba ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement . [1] [2] [3]

Mu Paalamenti ey’ekkuminemu, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku mateeka n'ensonga za Paalamenti. [4]

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mutembuli yavuganya mu kalulu ka 2016 ku kaadi y’ekibiina kya Democratic Party (DP) kyokka n’awangulwa Nagomu Musamba Moses owa NRM. Mutembuli yaliko omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party era nga omukwanaganya wa People Power mu kitundu ky'eBuggwanjuba. [5] Yeewaggula ne yegatta ku kibiina kya NRM ekiri mu buyinza mu kalulu ka bonna aka 2021 oluvannyuma lw’okumala emyaka 15 mu DP ng’akivumirira nti tekirina agenda y'e by'obufuzi era yagamba nti ekibiina kibulako emyaka 50 okutwala obwa pulezidenti. [6] Yalondebwa mu Paalamenti ku tikiti ya NRM mu kulonda kwa 2021. [7] [8] [9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-06. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.pmldaily.com/tag/yusuf-mutembuli
  3. https://www.independent.co.ug/mps-oppose-ban-on-rice-growing-in-butaleja-wetlands/
  4. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-legal-and-parliamentary-affairs/
  5. http://ugandaradionetwork.com/story/butaleja-mps-oppose-govt-ban-on-rice-growing-in-wetlands-
  6. https://www.watchdoguganda.com/news/20200624/94935/here-is-how-nrm-cunningly-won-the-heart-of-bobi-wines-man-mutembuli.html
  7. https://www.newvision.co.ug/articledetails/555
  8. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/mutembuli-yusuf-7116/
  9. https://www.watchdoguganda.com/news/20200624/94935/here-is-how-nrm-cunningly-won-the-heart-of-bobi-wines-man-mutembuli.html