Jump to content

Yvonne Mpambara

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Yvonne Mpambara (yazaalibwa c. 1991 ) Munnayuganda, munnamateeka era omulwanirizi w’eddembe. Mu 2025, yalangirira okwesimbawo ku bwannamunigina mu kulonda kwo bwa Pulezidenti okwa 2026, wadde nga teyalabikira mu kalulu akasembayo.

Obuto n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mpambara yazaalibwa Kanungu, akabuga akali mu Bugwanjuba ya Uganda; yakulira Kabale. Taata wa Mpambara yafa ng'akyali mwana muto.

Mpambara yasomera ku Makerere University mu Kampala, n’atikkirwa diguli mu mateeka; yeyongerayo n'okusoma nafuna diguli ye ey'okubiri mu mateeka LLM okuva ku yunivasite y'e East London mu Bungereza .

Omulimu gw’amateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Mpambara bwe yakomawo mu Uganda okuva mu misomo, yakola n’ebibiina eby’enjawulo ebivunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu n’ebibiina by’obwannakyewa, omuli SRHR Alliance Uganda, Reach a Hand Uganda, ne African Youth Caucus. Mu 2016, yali omu ku bannakyewa okuva mu kibiina kya Forum for Women in Democracy abakwatibwa wabweru wa National Theatre of Uganda ; webali bategese okutambula okugenda mu Paalamenti ya Uganda okwekalakaasa nga bawakanya enteekateeka z’okukyusa ssemateeka wa Uganda okuggyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga, ekyandisobozesezza Pulezidenti wa Uganda aluddewo, Yoweri Museveni, okuddamu okuvuganya mu bisanja ebirala Ebbago ly’etteeka erirongoosa ssemateeka nnamba 2 2017 lyasembayo okuteekebwako omukono ne lifuuka etteeka nga 27 ogwekkuminebiri 2017.

Kampeyini z'obwa Pulezidenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 26 ogwomunaana 2025, Mpambara yalangirira nti yali agenda kwesimbawo ku bwapulezidenti kubwanamunigina mu kulonda kwa bonna okwa 2026. Abakyala basatu bokka be baali besimbyewo ku bwapulezidenti, nga tewali n’omu ku bo yalondebwa. Ku bakyala 15 abassa omukono ku kiwandiiko ekitongole ekiraga nti baagala okwesimbawo, basatu bokka okuli Mpambara be baafuna emikono egimala okuva mu balonzi okutwalibwa ng’abayinza okwesimbawo mu lukalala olutongole olwafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda . [1]

Kakuyege wa Mpambara yayimirira ku nfuga etasosola, okutuusa obuweereza n’okutereeza mu mateeka, era n’akkaatiriza embeera ya Uganda ng’omukulembeze w’ekitundu mu buvanjuba bwa Afrika . Yasaba okugabanya obuyinza okusingawo okuva mu Kampala okulaba ng’ebitundu ne disitulikiti bikiikirirwa bulungi mu kusalawo. Mpambara yavumirira gavumenti okukozesa eby’obugagga n’amateeka gaayo agakosa abantu bowansi, omuli abavuzi ba boda boda, abakyala, abavubuka, abalema, abaazirwanako, abalimi, abayimbi, bannekolera gyange, abakozi mu mu gig economy n’abasawo abali ku mwanjo. Yalaga amateeka agakugira okufuna obuwereza munsonga z'omukwano n'okuzaala nga gavuddeko omuwendo gw'abavubuka abafuna embuto okweyongera . Mpambara yakozesezza akabonero ka "#ShiftThePower" okutumbula kampeyini ze.

Nga 25 September 2025, akakiiko k’ebyokulonda kakakasa abantu munaana abesimbyewo ku bwapulezidenti mu kulonda kwa 2026; tewali bakazi baalondeddwa. Mpambara yatekayo okwemulugunya kwe eri akakiiko, ngalaga nga engeri y'okukakasibwa nga eyesimbyewo wetali "nambulukufu" era nganenya ab'ebyokwerinda okumulemesa nga agezaako okufuna emikono okuva mu disituliki za Uganda ez'enjawulo, ekyetagisa okukakasibwa nga ey'esimbyewo mu butongole, kyeyagamba ekyamuletera okufiirwa "enkumi" z'emikono. Akakiiko k’ebyokulonda tekaawagira kwemulugunya kwa Mpambara, wadde okwemulugunya kw’abakyala abalala abaali besimbyewo.

Oluvanyuma lwa kampeyini ze okuggwa, Mpambara yawandiikira olupapula lw'amawulire olwa Bungereza olwa The Guardian ekiwandiiko mwe yategeerezza nti yafuna okutulugunyizibwa okuva mu basajja mu kampeyini ze zonna, omuli n'okumusaba okwegatta, kwossa nokuyitibwa "omukessi wa Rwanda" n'okumulumiriza okwegatta ne pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame . Kampeyini eno yagyogerako nga "ekimu kibise. Mpambara yagattako okunenya akakiiko k’ebyokulonda olw’okuwandiisa abo bokka abesimbyewo okuva mu bibiina by’obufuzi ebimaze ebbanga nga biyimiriddewo, ng'ategeeza nti ebibiina ng’ebyo tebiwa bakyala bifo bya buyinza wadde obuyinza, ekibalemesa okwesimbawo ng’abeesimbyewo mu bibiina ebitongole ku bwapulezidenti. [2]

Okulwanirira eddembe okwaddirira

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvanyuma lw’okumaliriza kampeyini ze, Mpambara yatondikawo ekibiina kya Foundation for Female Presidential Aspirants, ekyagendereramu okuwagira abakulembeze abakyala mu Uganda mu biseera eby’omu maaso. Era yalaga ekigendererwa kye eky’okutandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Women Freedom Fighters nga kyabakyala bonna.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named ":2".
  2. ↑ Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named ":3".