Jump to content

Zafaran (omuyimbi)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Josephine Nkyoonyi, amanyiddwa nga Zafaran Munnayuganda, muyimbi era muwandiisi w'annyimba. Ayimbira mu kibiina kya Swangz Avenue. Muyimbi wa w'ennyimba ekika kya R&B, Afrobeat, ekidandali wamu ne Laga.[1][2][3]

Obuto n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Zafaran yazaalibwa Busega eri Catherine Kalinda n'omugenzi Hajji Isaac Kayiira Makumbi. Ye muto mu banyina omusanvu. Yakulira Namasuba, ku luguudo lwa Entebbe, oluvannyuma lwa kitaawe okufa.[4]

Zafaran Pulayimale ye yagiosomera ku Lufuuka Islamic School ne Our Lady of Mount Carmel. Siniya ey'okuna yagisomera ku Lubiri Secondary School, ne St. Peter's Secondary School Nsambya mu siniya ey'omukaaga. Oluvannyuma yeegatta ku Makerere University Business School (MUBS) okusoma Diguli mu by'entambula eya Bachelors Degree in Transport and Logistics naye teyamalizria misomo gye olw'ebizibu by'ebyenfuna.[5]

omulimu gw'okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Talanta ya Zafaran ey'okuyimba yatandika mu myaka gye egy'obuto nga yeetaba mu mirimu gye kkanisa ,yayimbira nga mu kkwaaya,nga maama we omukurisitayo omukukuutivu yeyamusikiriza. Yaweebwa sikaala okuva ewa Reverend Father olw'obumanyirivu bwe obw'okuyimba.[6]

Wadde nga maama we yali akyelowoza ku okwenyigira kwe mu kuyimba, yeeyongera okwegatta ku bibiina by'abayimbi eby'enjawulo mu Uganda nga UB 5, Gin Afric, Nilers, Bahati Music, ne A Ka Dope band.[7]

Zafaran yakolako nga omuyimbi ateekamu abaloboozi mu nnyimba z'abayimbi abannayunganda omuli Jose Chameleone, King Saha, John Blaq, Karole Kasita, B2C, ne Maureen Nantume. Eddoboozi lye ery'amaanyi n'obusobozi bwe obw'okukwatagana n'abayimbi ab'enjawulo byamuyamba okumanyibwa mu by'okuyimba mu Uganda.[8]

Mu Gwekkumineebiri 2023, talanta ya Zafaran yazuulibwa munne ku A Ka Dope, eya mwanjula eri Swangz Avenue. Oluvannyuma lw'okusindika oluyimba olw'okwegezaamu eri Benon Mugumbya, Zafaran yayitibwa mu lukiiko mu Gwoluberyeberye mu 2024. Newankubadde tewali ndagaano yateekebwako omukono mu bwangu ddala, yayanjulwa mu butongole ng'omuyimbi wa Swangz Avenue mu Gwokusatu 2024, ng'ali wamu ne banne Winnie Nwangi, Vinka, ne Azawi. Mu Ogwokusatu 2024 yalangiririrwa ng'omuyimbi omupya mu Swangz Avenue. Yafulumya oluyimba lwe olwasooka olwa "Sweetheart" mu Gwokuna 2024.[9][10][11][12][13]

  • Sweet Heart (2022).
  • Mwoto (2022).
  • Ankuba (2022).
  • Jeguli (2023).
  • Nakawere (2023).
  • Enafuya (2023).
  • Otulo (2024).[14]

Ennyimba zeyayimba n'abayimbi abalala

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Wewe - abayimbi ba Swangz Avenue bonna Azawi, Winnie Nwagi ne Vinka (2024).[15]
  • God Ye Buddy - abayimbi ba Swangz Avenue bonna Zafaran, Azawi, Vinka, Winnie Nwagi, Elijah Kitaka and Levixone (2024).[16]
  • Kukyakala Na Kubwa - Ava Peace, Nina Roz, Recho Rey, Nandor Love, Jowy Landa (2024).[15]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.ugmuziki.com/artists/zafaran
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-02. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-02. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://observer.ug/lifestyle/74050-swangz-fourth-signing-zafaran-is-a-church-girl
  5. https://observer.ug/lifestyle/74050-swangz-fourth-signing-zafaran-is-a-church-girl
  6. https://observer.ug/lifestyle/74050-swangz-fourth-signing-zafaran-is-a-church-girl
  7. https://observer.ug/lifestyle/74050-swangz-fourth-signing-zafaran-is-a-church-girl
  8. https://observer.ug/lifestyle/74050-swangz-fourth-signing-zafaran-is-a-church-girl
  9. https://mbu.ug/2024/01/11/zafaran-swangz-avenue-journey/
  10. https://observer.ug/lifestyle/74050-swangz-fourth-signing-zafaran-is-a-church-girl
  11. https://www.ugmuziki.com/artists/zafaran
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-02. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-02. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://music.apple.com/ug/artist/zafaran/1483085034#:~:text=Top%20Songs&text=God%20Ye%20Buddy&text=Falayidid&text=Kukyakala%20Na%20Kubwa%20(feat.%20Nina,Love%2C%20Jowy%20Landa%20%26%20Zafaran)&text=Wewe&text=Enafuya%20(Remix)&text=Otulo&text=Wewe%20(A%20Cappella)
  15. 1 2 https://music.apple.com/ug/artist/zafaran/1483085034#:~:text=Top%20Songs&text=God%20Ye%20Buddy&text=Falayidid&text=Kukyakala%20Na%20Kubwa%20(feat.%20Nina,Love%2C%20Jowy%20Landa%20%26%20Zafaran)&text=Wewe&text=Enafuya%20(Remix)&text=Otulo&text=Wewe%20(A%20Cappella)
  16. https://music.apple.com/ug/album/swangz-avenue-presents-swangz-all-star-vol-1/1775385835