Jump to content

Zahara Nandawula

Bisangiddwa ku Wikipedia
Zahara Nandawula
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaZahara Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza, Luganda Kyusa
Omulimuboxer Kyusa
Azannyira mu KiraabuLukanga Boxing club Kyusa
Omuzannyoprofessional boxing Kyusa
Yeetabye muUganda Boxing Champions League Kyusa

Zahara Nandawula Munnayuganda omukubi w'ebikonde era avuganya mu kibinja kya Lightweight. Ono azannyira mu kiraabu y'ebikonde eya Lukanga esangibwa e Najjanankumbi mu Kampala era memba mu ttimu y'eggwanga ey'ebikonde. Nandawula era atwalibwa ng'omu kubawala bannabiton mu kuzannya ebikonde.[1][2]

Obuto bwe n'omulimu gw'ebikonde

[kyusa | kolera mu edit source]

Nandawula yatandika okuzannya ebikonde ng’ali mu Nsangi High School, gye yeetaba mu mpaka z’amasomero mu ggwanga (2017) ng’ayita mu Kyengera Boxing Club. Engeri gye yakolamu mu mpaka z'amasomero ky'amuviirako okusiimibwa ng'omu ku bakubi b'ebikonde abakyala abato. Era yakiikirira Uganda mu mpaka za African Championships ezaali e Yaoundé mu Cameroon.[1][3]

Ono y’omu ku bannabyamizannyo abaasiimibwa mu mpaka z’emizannyo eza Site Monthly Sports Awards eza August 2025.[4] Yavuganya mu mpaka za Uganda Boxing Champions League 2024, gye yawangula Gertrude Naava obugoba 4-1.[5]

Yawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka z'amasomero mu ggwanga ez'abavubuka mu 2017,[6] era yali muwanguzi wa zaabu ow'omuddiring'anwa mu mpaka za National Open Junior Category mu 2019.[7]

Byatuseeko mu kukuba ebikonde mu ssomero byaleetawo okusaba okw'amaanyi okw'okunyweza enteekateeka z'amasomero ez'okutendeka abakubi b'ebikonde mu Uganda, ng'abakulira eby'emizannyo balaga obukulu obuli mu kuvumbula n'okukuza ebitone by'abaana nga bayita mu matendekero g'ebyenjigiriza.[6]

Emirimu gye ku mutendera gw'ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2023, Nandawula yalondebwa ng'omu ku bazannyi ba ttiimu ya Uganda ey'abakubi b'ebikonde okuvuganya mu mpaka za Africa Elite Boxing Championship mu Yaounde, Cameoon.Yali omu ku bakyala mukaaga abalondebwa okukiikirira Eggwanga mu mpaka z'ensi yonna nga kino ky'ava kw'ebyo by'eyali akoze ku mutendera gwa Uganda.[8]

Okwetaba kwe mu mpaka zino kwasobozesa Uganda okweteekerateekera empaka z'ensi yonna ezaali zigenda okujja n'emikolo gy'emizannyo emirala egyali gitegekebwa.[6]

Empaka z'omu Ggwanga munda

[kyusa | kolera mu edit source]

Nandawula avuganya mu Liigi ya Uganda Boxing Championships League ezimu ku mpaka z'abakubi b'ebikonde abato mu Uganda. Mu sizoni ya 2024, yakola likodi bwe yakuba Gertrude Naava ku mutendera gwa Lightweight nga yamuwangula n'obubonero 4-1 ng'okusalawo kw'abalamuzi bwe kwali.[9]

Engeri gy'akozeemu mu mpaka z'omunda mu Ggwanga, emisobozesezza okubeera mu kifo ekisooka mu bakubi b'ebikonde abaggwa mu ttuluba erya Lightweight mu Uganda era kimusobozesezza n'okulondebwa mu nkambi z'eggwanga ez'okutendekebwa.[10][11]

Mu 2025, Nandawula yasiimibwa aba Site Monthly Sports Awards enkola esiima Bannayuganda bannamizannyo abalidde mu bannabwe akeendo mu mpaka z'omunda mu Ggwanga. Okusiimibwa kuno kwalaga emirimu gye n'okwewaayo eri omuzannyo gw'ebikonde mu bakyala mu Uganda.[12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "The six Ugandan female boxers in Cameroon for Africa's Elite Championships". Pulse Sports Uganda. Retrieved 8 October 2025.
  2. https://www.newvision.co.ug/category/sports/unrivaled-and-unmatched-lukanga-sweeps-to-sev-NV_231838_062026
  3. Reporter, NewVision (2023-07-24). "Africa Boxing Championship: The 17 boxers representing Uganda". New Vision. Retrieved 2025-10-08.
  4. "The Site Monthly Boxing Awards: Kanabi Wins August Accolade | Voice of Bugerere" (in American English). 2025-09-02. Retrieved 2025-10-08.
  5. "Champions League Season III: Week One highlights". Monitor (in Lungereza). 2024-05-29. Retrieved 2025-10-08.
  6. 1 2 3 "Student boxers in Yaounde revive campaign for boxing in schools". Monitor (in Lungereza). 2023-08-10. Retrieved 2025-10-08.
  7. "Ukasha highlights Bombers ghetto flag-off". Monitor (in Lungereza). 2023-07-25. Retrieved 2025-10-08.
  8. https://www.newvision.co.ug/category/sports/africa-boxing-championship-the-17-boxers-r-NV_166103
  9. https://boxinguganda.org/
  10. https://thetouchlinesports.com/bombers-enter-residential-training-camp/
  11. https://chimpreports.com/bombers-flagged-off-for-2023-africa-boxing-championship/
  12. https://voiceofbugerere.com/