Jump to content

Zaina Namuleme

Bisangiddwa ku Wikipedia
Zaina Namuleme
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga9 Gusooka 2000 Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimuassociation football player Kyusa
Ekifo ky'azannya/ obumanyiforward Kyusa
Azannyira mu KiraabuMakerere University WFC, Lg Kyusa
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa

Zaina Namuleme yazaalibwa nga 9 Ogwoluberyeberye 2000. Munnayuganda omuzannyi w'omupiira omukugu nga azannya nga omuwuwuttanyi wa ttiimu ya Kenya Police Bullets.[1] Azannya mu kiraabu ya FUFA Women Super League Ssettendekero wa Makerere era nga ye kaputeeni wa ttiimu y'eggwanga ey'abakazi okuva mu 2025.[2]

Emirimu gye mu Kilaabu

[kyusa | kolera mu edit source]

Namuleme omupiira yagutandikira mu Gadhafi Integrated Academy mu mwaka gwa 2013, n’asigala mu ttiimu eno okutuuka mu 2016, bwe yakyuka n’efuuka Kampala Queens.[3] Mu Gwokutano 2022, yakyuka okuva ku muteebi n'adda mu kifo ky'omuwuwuttanyi, nga wano yayolesa obukugu bwe nti asobola okuzannya mu bifo byombi.[4] Yakola kinene mu kuwangula ekikopo kya ttiimu ekyasooka mu sizoni ya 2022–23.[5]

Mu Gwokuna 2024, Namuleme yava ku bwakapiteeni bwa ttiimu eno oluvannyuma lw’okumala sizoni bbiri n’ekitundu ng'aweereza mu kifo ekyo.[6][7] Mu Gwomusanvu 2024, Kampala Queens yalangirira okugenda kw'omuzannyi ono, eyali ne kiraabu eno okuva lwe yatandikibwawo emyaka munaana emabega.[8] Mu bbanga ttono yeegatta ku ttiimu y'abakyala eya Makerere University Women Football Club, ng'eno ye yasooka okubateebera goolo ssatu ez'omuddiringanwa mu mupiira gumu mu mu sizoni ya 2024–25 mu liigi y'abakyala ey'ababinywera eya FUFA Women Super League.[9]

Emirimu ku mutendera gw’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Namuleme yakiikirira Uganda mu mpaka z'omutendera gw'abazannyi abali wansi w'emyaka 20 ng'azannya mu mpaka z'okusunsulamu abaneetaba mu mupiira gw'ensi yonna eza 2020 African U-20 Women's World Cup nga bazannya ne Tanzania.[10]

Olw’okuba okuva mu mwaka gwa 2019 teyazannya mu ttiimu ya bakulu, yasikiriza omutendesi wa South Africa, Sheryl Botes, n’amuyita amangu ddala mu mpaka z’okusunsulamu abanazannya mu mpaka z’abakazi eza Afrika eza 2026 nga bavuganya me Ethiopia. Nga 21 Ogwokubiri 2025, yateeba ggoolo ye eyasooka ey’ensi yonna mu budde bw’okuyimirira, oluvannyuma n’eddirirwa ggoolo endala okuva ewa Ikwaput eyawanguza Uganda ne ggoolo 2-0.[11][12] Mu Gwomukaaga 2025 Namuleme yayitibwa okwegatta ku Ttiimu y'eggwanga ey'abakugu mu mupiira ogw'omukwano ogw'ali gutegekeddwa wakati wa Uganda ne Kenya.[13] Yali omu kw'abo abalondebwa ku ttiimu eyali egenda okuzannya mu mpaka za 2016 CECAFA Women's Championship.[14] Era yetaba mu mpaka z'ezimu mu 2018 ne 2019.[14]

Nga 21 Ogwokubiri 2025, yateeba ggoolo ye ey'asooka ey'omutendera gw'ensi yonna mu kaseera ng'omupiira guggwa era nga kino kyawanguza Uganda ne ggoolo 2-0.[11]Namuleme yalondebwa okubeera kapiteeni wa Crested Cranes okukulembera ttiimu eno mu mpaka zonna eza 2025 .[14]

goolo z'eyateeba ez'okumutendera gw'ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]
Olukalala olulaga eby'ava mu mipiira gye yasamba saako ne goolo ez'ateebebwa Namuleme.
Namba ennaku z'omwezi Ekifo Omuvuganya Ggoolo ez'ateebebwa Alizaati Empaka
1 21 Ogwokubiri 2025 Ekisaawe kye Nakivubo, Kampala, Uganda  Ethiopia 1 –0 2–0 Empaka ez'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za 2026 WAFCON
2 15 Ogwomukaaga 2025 Ekisaawe kya Chamazi, Chamazi, Tanzania  South Sudan 3 –0 3–0 Empaka z'abakyala eza CECAFA eza 2025

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Edrine, Lubulwa (2025-07-04). "Zaina Namuleme Joins Kenya Police Bullets becoming the 8th Ugandan to ever feature in FKF Women Premier League". Rora Media Sports (in American English). Retrieved 2026-06-03.
  2. Rajub Senoga, Sinan (13 June 2025). "Zaina Namuleme named Crested Cranes captain ahead of CECAFA opener". swiftsportsug.com. Retrieved 16 June 2025.
  3. "Profiles of players for the new FUFA Women Super League Trophy tour". fufa.co.ug. Federation of Uganda Football Associations. 15 May 2025. Retrieved 16 June 2025.
  4. "Women Football: Revitalized Zaina Namuleme Speaks Out On Her New Playing Position at KQ". voiceofbugerere.com. 1 May 2022. Retrieved 16 June 2025.
  5. Ntege, John Paul (5 November 2023). "Zaina Namuleme Sends Kampala Queens to the Top". sportsnation.co.ug. Retrieved 16 June 2025.
  6. Mugabi, Geoffrey (4 April 2024). "Namuleme Steps Down As Kampala Queens Captain". nnalubaalesports.com. Retrieved 16 June 2025.
  7. Muziransa, Makhtum (24 February 2025). "Namuleme goal an inspiration for all". monitor.co.ug. Retrieved 16 June 2025.
  8. Muyita, Joel (4 July 2024). "Kampala Queens part ways with Zaina Namuleme". kawowo.com. Kawowo Sports. Retrieved 16 June 2025.
  9. Rajub Senoga, Sinan (7 April 2025). "Namuleme scores four goals as Makerere aggravate Wakiso Hill woes". swiftsportsug.com. Retrieved 16 June 2025.
  10. "FIFA U-20 Women World Cup: Uganda U-20 XI Vs Tanzania". fufa.co.ug. 19 January 2020. Retrieved 16 June 2025.
  11. 1 2 Mugalu, Jeremiah (21 February 2025). "Namuleme shines brightest as Crested Cranes edge Ethiopia in WAFCON 2026 Qualifier". thetouchlinesports.com. Retrieved 16 June 2025.
  12. Muziransa, Makhtum (24 February 2025). "Namuleme goal an inspiration for all". monitor.co.ug. Retrieved 16 June 2025.
  13. "Crested Cranes final squad to Kenya named". fufa.co.ug. 30 June 2016. Retrieved 16 June 2025.
  14. 1 2 3 Rajub Senoga, Sinan (13 June 2025). "Zaina Namuleme named Crested Cranes captain ahead of CECAFA opener". swiftsportsug.com. Retrieved 16 June 2025.
  • Zaina Namuleme at Flashscore