Zam Seera
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Omuzannyo | netball |
| Mmemba wa | Ttiimu ey'omupiira gw'okubaka eya NIC |
Zam Seera Munnayuganda azannyira mu kiraabu ya National Insurance Corporation Netball Club (NIC Netball Club).[1] Azannya ng’omuzibizi era omuteebi.[2]
Omulimu gwa Netball
[kyusa | kolera mu edit source]Seera yeetaba mu buwanguzi bwa NIC Netball Club (goolo 55) ku kiraabu ya Prison Netball Club (goolo 44) mu 2025 mu kiseera kya liigi y'omupiira gw'okubaka eya National Netball League. Yazannya mu muzannyo gwe bawangula wakati wa kiraabu ya NIC Netball Club ne Zimamoto mu mpaka za kiraabu za East Africa eza 2024. Seera owa kiraabu ya NIC Netball Club ne ggoolo 384 yakwata kyakusatu mu kiseera kya liigi y'ababinywera ey'omupiira gw'okubaka eya Netball Super League mu 2022.[3][4]
Yeetaba mu mpaka z'abali wansi w'emyaka 21 mu Uganda eza Uganda U-21 (She Pearls) mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna ez'omuzannyo gw'okubaka eza World Youth Netball Cup nga Uganda yateeba 55 ate Scotland n’eteeba goolo 45 ekyaviirako Uganda okumalira mu kifo eky’omusanvu okutwalira awamu. Empaka zino zaali mu kibuga Gaborone ekya Botswana mu 2017.[5][6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Omuzannyo gw'okubaka mu Uganda.
- Ttiimu ya Uganda ey'omuzannyo gw'okubaka.
- Kiraabu ya NIC.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "NIC return to winning ways as UCU maintain league summit". Monitor (in Lungereza). 2025-04-16. Retrieved 2025-08-26.
- ↑ "Ugandan clubs stand tall in EA Netball Club Champs". Monitor (in Lungereza). 2021-02-05. Retrieved 2025-08-26.
- ↑ Akena, Fred (2024-05-15). "Ugandan Netball Powerhouse NIC Claims Dominant Victory over JKT". Nnalubaale Sports (in American English). Retrieved 2025-08-26.
- ↑ "Netball Super League: Finally Mugisha Finds Big teams winning 'Notes' as NIC Subjects Prisons to Another Defeat | Voice of Bugerere" (in American English). 2022-12-15. Retrieved 2025-08-26.
- ↑ "Netball: Uganda beats Scotland to finish in 7th place". New Vision. Retrieved 2025-08-26.
- ↑ "Netball World Youth Cup: Fiji halt Uganda". New Vision. Retrieved 2025-08-26.