Jump to content

Zohran Mamdani

Bisangiddwa ku Wikipedia
Zohran Kwame Mamdani

 

Zohran Kwame Mamdani (yazaalibwa 18 Ogwekkumi, 1991) munnabyabufuzi Omumerika asibuka mu ggwanga Uganda era mu kiseera kino ye meeya omulonde ow’ekibuga New York . Memba w’ekibiina kya Democratic Party wamu n'ekisinde ki Democratic Socialists of America. Nga tannavuganya wamu n'okuwangula obwa Meeya bwa New York yasooka kuba mukiise mu lukiiko olukulu mu ssaza New York nga akiikirira ekintundu ekiyitibwa 36th district okuva mu 2021. America efugibwa ku musingi gwa federo ero buli saza lilina olukiiko olwalyo nga bwolaba paalamenti. 36th district mu lukiiko lwa New York etwaaliramu ebintu omuli Queens e Astoria .

Mamdani yazaalibwa mu ddwaliro e Nsambya kibuga Kampala era kitaawe ye kakensa Mahmood Mamdani eyasomesako ku yunivasite e Makerere ate nyina ye muzanyi wa firimu Mira Nair .[1] [2] Nga wa myaka etaano famire ye yasenguka okudda mu kibuga Cape Town, mu South Africa. Mamdani bwe yali aweza emyaka musanvu, bazadde be baasenguka nate era ku luno bagenda mu Amerika, ne basenga mu kibuga New York. [3] Mamdani yasomera ku Bronx High School of Science gyeyava okwegatta ku Bowdoin College mu saza Maine era nasoma diguli ye esooka nga essira alitadde ku byafaayo, eby'obufuuzi n'embeera z'omuddugavu okutwaliza awamu mu lungereza ekiyitibwa Africana studies era natikkirwa mu 2014.

Oluvannyuma lw'okukola nga kitunzi w'amayumba kwossa okuyimba, Mamdani yatandikiriza mpola okwetaba mu byobufuzi ebiri ku mutendera ogwessaza New York nga yatandika nga avunaanyizibwa ku nzirukanya ya kampeyini za munnabyabufuzi Khader El-Yateem wamu ne Ross Barkan. Oluvannyuma mu mwaka 2020 yeesowolayo okuvuganya okukiika mu lukiiko lw'essaza era bwatyo namegga Aravella Simotas eyali amaze ebisanja bitaano mu kifo ekyo mu kamyufu the Democratic Party bwatyo naalondebwa okukiikirira Queens ku kisanja kya myaka 2 oluvannyuma yaddamu okuwangula mu mwaka 2022 and 2024 wonna nga tavuganyizibwa.

Mu Gwekkumi 2024, Mamdani yalangirira nti yali waakuvuganya ku bwa meeya bw’ekibuga New York mu kulonda kwa 2025 . Mu Gwomukaaga 2025, Mamdani yawangula akamyuufu mu kibiina kya Democratic party era nga wano yamegga Andrew Cuomo, eyaliko Gavana w’essaza New York. Oluvannyuma lwa Cuomo obutamatira yasalawo okwesimbawo ku bwa namunigina wabula Mamdani yamumegga mu kulonda okwaliwo nga 4 Ogwekuminoogumu 2025. Akalulu kano era kaalimu ne munna Republican Curtis Sliwawabula obululu 50.4% bwawa Mamdani obuwanguzi. [4] [5] [6]

Mamdani kampeyini ye yagyesigamya ku miramwa egiwerako omuliebbeeyi y’ebintu esoboka okussaawo entambula y'olukale eya bbaasi nga ssi zakusasulira, gavumenti okwenyigira mu ndabirira yabaana, ekibuga okubeeramu amaduuka g'ebintu aga gavumenti, eddembe ly’abasiyazi nabalala abagwa mu ttuluba li LGBTQ,omusaala ogw'essalira waakiri doola 30 buli mukozi obutasukka 2030 n'emiramwa emirala. Mamdani era awagira okwongeza emisolo ku bitongole n’ebizinensi eziyingiza amagoba agasukka akakadde ka doola omwaka . Obuwanguzi bwa Mamdani bwamufuula omuntu asooka mu byafaayo mu matuluba ageenjawulo omuli Omuyindi-Omumerika , [7] [8] [9] Munnayuganda-Omumerika , [10] Omusiraamu , [11] [9] omuntu eyazaalibwa mu myaka gya '90 okuwangula obwa meeya wa New York [12] [13] [2] Mamdani era ye munnakisinde ki democratic socialists owookubiri okufuuka meeya w'ekibuga New York nga eyasooka ye David Dinkins . [14] Ye meeya ow'omusanvu okulondebwa mu kibuga New York nga tasibuka mu Amerika okuva mu 1834, ba meeya lwe baatandika okulondebwa mu kalulu ka bonna. [15] [16] Asuubirwa okuyingira ofiisi nga 1 Ogwolubereberye, 2026.

Obuto n’emisomo

[kyusa | kolera mu edit source]

Mamdani yazaalibwa 18 Ogwekkumi, 1991, mu Kampala, Uganda. Ye mwana yekka owa kakensa w'ebyobufuzi Mahmood Mamdani n’omuzannyi wa firimu Mira Nair . [17] [18] Erinnya lye Kwame kitaawe yalimubbula mu munnabyabufuzi Kwame Nkrumah, pulezidenti wa Ghana eyasooka. [19] [20] Bazadde be bombi basibuka Buyindi era kitaawe Musiraamu Omugujarati eyazaalibwa mu kibuga Bombay yadde nga yakulira mu Uganda, [21] nnyina Muhindu Omupunjabi ow'ekika kya Nayyar [22] [23] [24] eyazaalibwa mu Rourkela n'akulira mu Bhubaneswar . [25] Bajjajjaabe ku ludda lwa kitaawe bazaalibwa mu bitundu olwaleero awasangibwa eggwanga lyaTanzania . [21] Jjajjaawe azaala nnyina Amrit Lal Nair, yaliko omuserikale mu kitongole kya Buyindi ki IAS [26] ate jjajjaawe omulala Praveen Nair yali mu kuguku mu by'embeera z'abantu n'enkulakulana era ye mutandisi wa Salaam Baalak Trust . [27]

Mamdani yabeera mu Kampala okutuusa ku myaka etaano famire ye bweyasengukira mu Cape Town, mu ssaza Western Cape . [17] Yasomera mu St. George's Grammar School e Mowbray nga kitaawe asomesa mu University of Cape Town . [20] [28] Oluvannyuma Mamdani n'enju ye baasengukira mu Amerika, nebasenga mu kibuga New York nga Mamdani wa myaka musanvu, era n'akulira mukitundu ekiyitibwa Morningside Heights . [29] Obulamu bweyakuliramu azze abwogeerako nga obw'omukisa olwokuba teyeyabeerako mu mbeera ya kwetaaga oba kwegomba yadde nga akimanyi nti bwegutyo sibweguli eri banna New York abalala bangi. [30]

Mamdani yasomera mu ssomero lya Bank Street School for Children mu bugwanjuba bwa Manhattan, gye yataandiikiriza ebyobufuzi nga yeesimbawo ku bwannamunigina mu kulonda kwabayizi era naawangula ekifo. Emiramwa gye emikulu gyesigama ku kusaawo obwenkanya n'eddembe kwossa okuwakanya okussa ssente mu byentalo wabula zissibwe mu byenjigiriza. [31] Mu 2003, yakomawo kko mu Kampala okumala omwaka mulamba nga ali ne kitaawe mu luwummula lweyalimu. [21] Ba jjajjaabe ne ba ssenga ku ludda lwa kitaawe bbo bakyabeera mu kibuga Kampala era bayambako kitaawe okumulabirira bweyali nga awandiika ekitabo kye kyeyawa omutwe Good Muslim, Bad Muslim . [32]

Ebyamusikiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Mamdani agamba nti bazadde be be baamusikiriza okwagala ebyobufuzi n’ensonga z’ensi yonna engeri gyekyali nti ensonga zino zaayogerwangako nnyo awaka. Mamdani era yasikirizibwa nnyo okwenyigira mu byobufuzi oluvannyuma lw'okulaba ebirowoozo bya Bernie Sanders mu kampeyini ze ez'obwapulezidenti mu 2016 era nayingira ekisinde ki democratic socialists.[33] Mu balala baayogerako nga abamusikiriza okugenda mu byobufuzi ye Daniel Hoan ne Victor L. Berger, wamu ne meeya Fiorello La Guardia .

Mu kampeyini ze ez’obwameeya, Mamdani yakakasa nga abalonzi nti obukulembeze bwe bwakufaananako nga obwa meeya wa Boston, Michelle Wu ne meeya wa Baltimore, Brandon Scott . [34] Mu kampeyini, yatendereza Wu nga amwogwerako nga munnabyabufuzi munna DP asinga [35]olw'enkola ze omuli entambula ey’olukale etali yakusasulira ekintu naye kyeyasuubiza mu kibuga New York. [36]

Obulamu bwe obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Mamdani ayina obutuuze bwa nsi bbiri omuli Uganda ne Amerika era nga mu nsi ya Amerika yafuuka munnansi omujjuvu mu 2018. [37] Musiraamu omushia era agwa mu kiwayi ekiyitibwa Twelver . [38] Mu 2021, Mamdani yasisinkana omukozi w'obufaananyi bwa katuuni ate nga mukubi wa bifaananyi Rama Duwaji ku mutimbagano omugatta bantu ogwa Hinge . [39] [40] Bakkaanya okufumbiriganwa mu Gwekkumi 2024, [39] era n'ebakola omukolo gwa nikah oluvannyuma lw’emyezi ebiri, [41] era ne bafumbiriganwa mu Gwokubiri 2025 ku mukolo ogwali mu New York City Hall [42] era baakola omukolo gwegumu mu Uganda mu Gwomusanvu 2025. [40] Mamdani ne mukyala we babeera mu Astoria, Queens, okumpi ne Steinway Street . [19] [40] Ng’oggyeeko Olungereza, Mamdani asobola okwogera ennimi endala ezitakka wansi wa ttaano ku mitendera egyenjawulo okuli Hindi–Urdu, Bengali, Olusipaana, Luganda, n'Oluwarabu . [11] [43] [44] [45] [46] Muwagizi nnyo wa Arsenal, naye era anyumirwa nnyo okulaba omuzannyo gwa cricket, [47] ekigwo ekizungu ki All Elite Wrestling, [48] kwossa omuzannyo gw'ensero nga awagira kiraabu ya New York Knicks. [49] Mamdani era yaliko munnamawulire asaka ag'ebyemizanyo mu lupapula lwa Daily monitor mu Uganda[50]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/zohran-avoided-politics-while-working-with-daily-monitor-5254732#story
  2. 1 2 Roy, Rajesh (5 November 2025). "'Badhai!' In India, a celebration for Zohran Mamdani's New York mayoral win and his roots" (in Lungereza). ABC News. Retrieved 6 November 2025. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Roy2025" defined multiple times with different content
  3. O'Regan, Victoria (November 5, 2025). "Former SA schoolboy Zohran Mamdani becomes New York City's first millennial mayor in 'historic' elections". Daily Maverick (in Lungereza). Retrieved November 5, 2025.
  4. "New York City Mayor General Election". Decision Desk HQ. Retrieved November 4, 2025.
  5. "New York City Mayor Results 2025". NBC News. Retrieved November 4, 2025.
  6. "New York City Mayor". AP News. Retrieved November 4, 2025.
  7. "How Zohran Mamdani is charming a famously hard-nosed city". The Washington Post. October 18, 2025. Retrieved November 5, 2025. The 2025 political menu includes someone altogether different: a 34-year-old democratic socialist, an Indian American born in Uganda
  8. "Zohran Mamdani set to become first Indian-American to lead New York as Mayor: Who is the 33-year-old Democratic socialist?". The Economic Times. June 24, 2025. Retrieved June 26, 2025.
  9. 1 2 "Could Zohran Mamdani be NYC'S first Muslim and Indian American mayor?" (in Lungereza). Al Jazeera Media Network. June 26, 2025. Retrieved June 26, 2025.
  10. Mall, Rattan (November 5, 2025). "Zohran Mamdani will be Mayor of New York". Indo-Canadian Voice (in Canadian English). Retrieved November 6, 2025.
  11. 1 2 "Zohran Mamdani is the Indian-origin political heartthrob America didn't know it needed". The Times of India. June 25, 2025. Retrieved June 27, 2025. He's a practicing Muslim, he speaks Hindi in campaign videos, he talks openly about being an immigrant. Cite error: Invalid <ref> tag; name "The Times of India-2025" defined multiple times with different content
  12. "Who is Zohran Mamdani? Trailblazing left-wing leader and first Indian-American Muslim elected mayor of New York". The Statesman (in Lungereza). November 5, 2025. Retrieved November 5, 2025.
  13. Holloman, Christer (June 25, 2025). "What Zohran Mamdani Win Will Mean For Wall Street". Forbes (in Lungereza). Archived from the original on June 25, 2025. Retrieved June 27, 2025. If Mamdani wins, he will become the first Muslim, first Asian, and first millennial mayor of New York City
  14. Barbaro, Michael (October 16, 2025). "Zohran Mamdani Explains His Rise". The Daily (The New York Times). Retrieved June 26, 2025.
  15. https://www.nytimes.com/2025/10/29/nyregion/nyc-immigrant-mayors-mamdani.html
  16. "Mayors of the City of New York". www.nyc.gov. Retrieved 2025-11-06.
  17. 1 2 Kitunzi, Yahudu (June 7, 2025). "Mamdani's mayoral goal puts Uganda on the map". Monitor. Archived from the original on June 9, 2025. Retrieved June 7, 2025. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Kitunzi-2025" defined multiple times with different content
  18. Marcelo, Philip (June 25, 2025). "Who is Zohran Mamdani? State lawmaker seeks to become New York City's first Muslim and Indian American mayor". AP News. Retrieved June 27, 2025.
  19. 1 2 Jung, E. Alex (May 20, 2025). "Zohran Mamdani Crashes the Party". Intelligencer (in Lungereza). Archived from the original on May 20, 2025. Retrieved June 5, 2025. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Jung-2025" defined multiple times with different content
  20. 1 2 Davids, Monah (October 26, 2024). "Ugandan-Born Zohran Mamdani Announces Candidacy for Mayor of New York City". Little Africa News. Archived from the original on June 11, 2025. Retrieved March 12, 2025. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Davids-2024" defined multiple times with different content
  21. 1 2 3 Chen, Kuan-Hsing; Gao, Shiming; Tang, Xiaolin (2016). "The formation of an African intellectual: an interview with Mahmood Mamdani". Inter-Asia Cultural Studies. 17 (3): 456–480. doi:10.1080/14649373.2016.1218676. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Chen-2016" defined multiple times with different content
  22. Dupont, Joan (September 21, 2001). "Mira Nair Peels Back Layers of Punjabi Society". International Herald Tribune. Archived from the original on December 1, 2001. Retrieved July 15, 2025. Nair, who dedicates "Monsoon Wedding," to her Punjabi family in New Delhi, was educated at Harvard, and has made her home in Kampala, Uganda, and New York.
  23. . Nair herself comes from a Hindu family, while her husband is Muslim. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  24. . My last name is actually Nayyar, but my grandfather used to spell it as Nair and we just continued the tradition. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  25. Saigal, Shinibali Mitra (May 22, 2005). "Namesake a tribute to Ritwik Ghatak, says Mira Nair". Kolkata Newsline. Archived from the original on December 4, 2005. Retrieved July 13, 2025.
  26. "Meet director whose father is an IAS officer, her film made it to the Oscars, and who married a Ugandan scientist, her name is… | India.com". www.india.com (in Lungereza). Retrieved November 5, 2025.
  27. Janmohamed, Zahir (June 16, 2025). "The NYC Mayoral Candidate Turning Meals Into a Movement". Bon Appétit (in American English). Archived from the original on July 1, 2025. Retrieved July 28, 2025.
  28. Davis, Rebecca (June 25, 2025). "Meet New York City's likely next mayor — with a South African connection". Daily Maverick (in Lungereza). Retrieved November 5, 2025.
  29. Haag, Matthew; Goldberg, Emma (June 27, 2025). "The Parents Who Helped Shape Zohran Mamdani's Politics". The New York Times (in American English). ISSN 0362-4331. Archived from the original on June 30, 2025. Retrieved July 3, 2025.
  30. Fitzsimmons, Emma G. (June 10, 2025). "10 Questions With Zohran Mamdani". The New York Times (in American English). ISSN 0362-4331. Archived from the original on June 11, 2025. Retrieved July 3, 2025.
  31. Sassoon, Alessandro Marazzi (July 1, 2025). "I Went to Middle School With Zohran Mamdani. He Turned Our Election Upside Down Then Too". Slate. Retrieved July 2, 2025.
  32. Mamdani, Mahmood (2004). "Acknowledgements". Good Muslim, Bad Muslim: America, the Cold War, and the Roots of Terror. Three Leaves Press. pp. xiv. ISBN 9782869781344.
  33. Mamdani, Zohran; Thier, Hadas (February 9, 2021). "'We Have an Obligation to Ensure That Justice Is Not Defined by the Borders of Our District'". Jacobin. Retrieved February 9, 2021.
  34. Beeferman, Jason (June 24, 2025). "Mamdani's Victory Would Signal Seismic Shift In National Politics and Test For Socialist Movement". Politico. Retrieved September 17, 2025.
  35. Fitzsimmons, Emma G.; King, Maya (June 4, 2025). "5 Takeaways From the First N.Y.C. Mayoral Debate". The New York Times. Retrieved September 7, 2025.
  36. "Momentum For Mamdani: Zohran Racks Up Dem Endorsements & Leads Cuomo By Double-Digits". MSNBC. September 21, 2025. Retrieved September 23, 2025 via YouTube.
  37. . He was naturalized as a U.S. citizen in 2018 and is now a dual citizen of the United States and Uganda. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  38. Shoki, William (February 9, 2020). "Roti and Roses for All". Jacobin. Retrieved March 25, 2025.
  39. 1 2 Pazmino, Gloria; John, Arit (November 2, 2025). "Rama Duwaji, Zohran Mamdani's wife, stays in the background by design" (in American English). CNN. Archived from the original on November 3, 2025. Retrieved November 4, 2025.
  40. 1 2 3 Hasan, Sadiba (October 12, 2025). "When Your Hinge Date Is New York's Mayoral Front-Runner". The New York Times. Retrieved November 5, 2025.
  41. Noveck, Jocelyn (June 25, 2025). "Zohran Mamdani's wife Rama Duwaji is an animator, illustrator and ceramicist. And they met on Hinge" (in Lungereza). Associated Press. Archived from the original on June 26, 2025. Retrieved July 1, 2025.
  42. Craighead, Olivia (May 12, 2025). "Zohran Mamdani Hard-Launched His Wife". The Cut (in Lungereza). Archived from the original on June 14, 2025. Retrieved May 13, 2025.
  43. Louis, Errol (June 25, 2025). "How Zohran Mamdani Turned Youth and Inexperience Into Assets". Intelligencer (in Lungereza). Retrieved June 26, 2025.
  44. Saponara, Michael (June 18, 2025). "NYC Mayoral Candidate Zohran Mamdani's Old Rap Videos Are Going Viral". Billboard (in American English). Retrieved November 5, 2025.
  45. "In Uganda, where Zohran Mamdani was born, NYC mayoral hopeful is recalled with pride". AP News (in Lungereza). November 3, 2025. Retrieved November 5, 2025.
  46. Maag, Christopher (June 25, 2025). "Young Muslims Loved Zohran Mamdani, and Their Parents Listened to Them". The New York Times (in Lungereza). Retrieved June 26, 2025.
  47. Bakshi, Sahil (November 5, 2025). "The Cricket Connect To Zohran Mamdani's Historic NYC Mayoral Election Win". NDTV Sports. Retrieved November 5, 2025.
  48. Pasbani, Rob (June 25, 2025). "NYC's Next Mayor? He's a Wrestling Fan Like Us". 92.9 The Ticket (in Lungereza). Retrieved September 20, 2025.
  49. https://www.nytimes.com/2025/11/03/nyregion/mamdani-knicks-nba-cuomo.html
  50. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/zohran-avoided-politics-while-working-with-daily-monitor-5254732#story