Christine Ayo Achen

Bisangiddwa ku Wikipedia

Christine Ayo Achen amanyikiddwa nga Achen Christine Ayo (yazaalibwa nga 7 Ogwomusanvu 1983) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era administrator.[1] Ye mubaka omukyaala akiikirira disitulikitti ya Alebtong mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi.[2] Ali mu kibiina eky'ebyobufuzi ekifuga ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement].[1] Era ye yali omubaka wa Paalamenti omukyaala eyesimbawo mu kiseera kya 2021–2026 mu Alebtong.[3]

Emisomo[kyusa | edit source]

Christine alina dipulooma mu development studies okuva mu ttendekero kya Nzamizi Training Institute of social development.[4]

Ebyafaayo by'emirimu gye[kyusa | edit source]

Mmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2016 okutuusa kati.[4] Aweereza mu buvunaanyizibwa obulala nga mmemba w'akakiiko ka Gender Labour and Social Development ne PAC local government mu Paalamenti ya Uganda.[4] Mmemba wa Uganda Women Parliamentary Association eya Paalamenti ya Uganda ey'ekumi.[5] Mu maaso g'okulonda kwa bonna okwa 2021, yalina amavuganya ku ntebe y'omubaka omukyaala owa Disitulikitti ye Alebtong mu Paalamenti, Ms Barbra Akech.[6]

Yali omu ku babaka ba Paalamenti abalonda nga bawagira eri okusoma kwa Constitution Amendment Bill omulundi ogw'okubiri mu mwaka gwa 2017.[7][8][9][10]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mufumbo.[1] Wa nzikiriza ya ki Kristaayo.[4]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijukiziddwa[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]