Jump to content

ENKOKO:EBIKA

Bisangiddwa ku Wikipedia
enkoko

Genderera ekika ky’enkoko ky’olunda okufuna amagoba BUKEDDE,May 21, 2012

ENKOKO:

[kyusa | edit source]

Bya EDWARD SSERINNYA

OBULUNZI bw’enkoko mulimu oguyimirizzaawo Bannayuganda abawerako, bangi bagufunyeemu ensimbi ate abalala bagwevuma.

Ng’oggyeeko okulinnya kw’emmere y’enkoko naddala ccacu, ggwe omulunzi w’enkoko wali okirowoozezzaako nti n’olulyo lw’olunda lwandiba

nga lwe luvaako kalunsambulira enkoko zo okubiika amagi amatono n’empanga obutazitowa n’ofiirwa ssente’.

Zino zimu ku nkoko ezisinga okulundibwa mu Uganda ez’ennyama n’amagi n’engeri gye zikolamu. Omukugu mu kutabula emmere y’enkoko

ez’endyo ez’enjawulo Moses Mufumbiro owa Agro Business Solutions e Jinja annyonnyola ku ndyo zino.

Ez’amagi Hisex: Eno nkoko ya kitaka, ku wiiki 18 ne 19 etandika okubiika. Ku wiiki 26 okutuuka ku 30 singa ogirabirira bulungi eba

ebiikira ku bitundu 94, ate ku wiiki 76 etandika okusala amagi n’edda ku bitundu 66, era wayita ebbanga ttono n’ekoowa. Bovans: Eno

nayo enkoko erundibwa mu Uganda, ku wiiki, kabeera ka kitaka. Naye wadde kafaananira ddala nga Hisex mu ndiisa zaawukana

kuba olulyo si lwe lumu. Ku wiiki 18 etandika okubiika, wakati wa wiiki 23 ne 46 eba ebiikira ku bitundu 90 ne 95. Bw’eweza wiiki 78

n’okudda waggulu eba ekaddiye ng’ebiikira ku bitundu 75.

Bovan Nera: Nkoko nzirugavu era efaananira ddala nga zino eng’anda naye ate teba ng’anda. Wakati wa wiiki 19 ne 20 etandika okubiika.

Wakati wa wiiki 22 ku 40, wano ziba zibiikira ku bitundu 93 ne 94. Ku wiiki 74 zisala amagi kuba ziba zikaddiye. Bovans White, eno

[kyusa | edit source]

yo ebeera njeru, ebiikira ku wiiki 20, ku wiiki eya 23 okutuuka ku 40 wabula ku wiiki y’e 76 eba ekooye. Kuroiler: Luno olulyo

lukyali lupya mu Uganda, nga lwava

Buyindi. Etandika okubiika ku myezi ena n’ekitundu. Emala omwaka ng’ebiika nga mu mwezi esobola okubiikamu amagi 20. Eringa nganda

kuba osobola okugita n’etaayaaya.

Ez’ennyama Hybro PN+: Eno eba njeru, singa oba ogiriisizza bulungi wakati wa wiiki ttaano ku munaana eba ezitowa kkiro bbiri

n’ekitundu. Ku nnaku 55 esobola okuba ng’ezitowa kkiro emu n’ekitundu.

Cobb 500: Eno eba njeru, ku nnaku 49 eba esobola okuzitowa kkiro bbiri.

n’ekitundu, singa oba ogiriisizza bulungi. Hubbard : nayo eba ne langi njeru, ku wiiki 49 oba otunda. Ku ndabirira ennungi

n’okugiriisa obulungi ku nnaku 49 ezitowa kkiro bbiri n’ekitundu.