Ensilifu
Appearance
Ensilifu ye nnukuta eteyatuka bwe eba nga teweeleddwa njatuza.
Ensilifu za Oluganda eza ennono ze zino p,b,m,w,f,v,t,d,n,s,z,l,c,j,ny,y,k,g,ŋ.
Ensilifu za Oluganda zikkiliza enjatuza yonna okuziweelela, ela bwe zityo ne zifuna eddoboozi nga elya enjatuza eziba ziziweeledde, okugeza za, ze, fa, fe, ma, me ne endala.
Ensilifu zisobola okweyambisibwa nga eli emu oba nga zili bbili. Okugeza ettutu.
Bwe omala okuyiga enkozesa ya enjatuza ne ensilifu osobola okwanguyilwa okuyiga Oluganda, ela ne onyumilwa obuwoomu bwalwo.
Okugeza, ka-to, ka-bu-to, kaa-mu-la-li, e-bbu-to, e-bbu-gga.
Awo nno osobola okunyumilwa emboozi eno: Daudi dda e Buddo obudde obudda e Buddo butuuse.