Essaza Ekkulu erya Kampala (Eklezia Katolika)

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Essaza Ekkulu erya Kampala


Archidioecesis Kampalaensis
Lutikko ya Eklezia ey'e Kampala
W'esangibwa
Eggwanga  Uganda
Essaza lya Eklezia Kampala
Ebirikwatako
Obugazi bwalyo 3.644 km2 (1.407 sq mi)
Obungi bw'Abakatoliki abalirimu
- Omugatte

- Abakatoliki ng'agasseemu n'abatali bammemba b'essaza lino)
(We bwatuukira mu 2019)

4,757,721 (est.)

1.952.331 (est.) (41%)
Ebigo 66
Ebiralala ebikwata ku ssaza lino
Eddiini Eklezia Katolika
Ekiwayi (kya Barooma)Roman Rite
Abasossodooti 278 (ab'essaza)

58 (Abalala)
Obukulembeze bwalyo
Paapa Francis
Ssaabasumba Paul Ssemogerere
Abasumba abaawummula
Ekibanja kyalyo ku mutimbagano
www.klarchdiocese.org.ug

Essaza Ekkulu erya Kampala ly'essaza lya Eklezia essuukulumu eritwala ebitundu byaKampala mu Uganda.

Ebyafaayo byalyo[kyusa | edit source]

Essaza lya Kampala lino Ekkulu lyava mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu Eklezia Katolika mu Uganda.

  • Lyasooka kuba ku mutendera gwa vikaliyeeti ng'eyitibwa Victoria Nyanza Vicariate (1883). Vikaliyeeti eno yassibwawo Ekitebe kya Eklezia Katolika ekikulu - eky'e Vatican/Holy See mu 1883. Vikaliyeetu eno yakwasibwa Abaminsane ba Missionaries of Africa abamanyiddwa ng'aba White Fathers. Omusumba waayo yali atuula Rubaga.
  • Oluvannyuma Vikaliyeeti eno yakyusibwa n'efuuka Upper Nile Vicariate mu 1894. Mu Gwomusanvu nga 13, 1894, Paapa yatonola Vikaliyeeti eno eya Upper Nile Vicariate eyatondebwawo okuva mu ya Victoria Nyanza Vicariate n'agikwasa Abaminsane ba Mill Hill Missionaries. Nsambya yafuuka ekitebe ky'Omusumba. Erinnya lya Vikaliyeeti ya Vicariate Nyanza Vicariate nalyo lyakyusibwa n'efuuka Vicariate Apostolic of Northern Victoria Nyanza.
  • Vicariate of Uganda (1915). Oluvannyuma lwa Paapa okugatta Vikaliyeeti ezaali wansi w'omugga Kiyira, erinnya lya Northern Victoria Nyanza Vicariate lyakyusibwa ne lifuuka Vicariate of Uganda nga January 15, 1915.
  • Efuuka Vicariate of Kampala. Mu Gwomukaaga nga 10, 1948, erinnya lya Vikaliyeeti ya Upper Nile Vicariate lyakyusibwa n'efuuka Vicariate of Kampala ate oluvannyuma mu 1953 ne lifuuka Essaza lya Kampala.
  • Essaza Ekkulu erya Rubaga (1953-1966). Obukulembeze bwa Eklezia Katolika mu Uganda (obuva wansi okutuuka waggulu) bwatondebwawo mu Gwokusatu 25, 1953. Ezaali vikaliyeeti za Uganda zaafuuka Amasaza ga Eklezia mu Uganda. Rubaga lyafuuka Essaza Ekkulu ne wateekebwawo n'Amasaza Amakulu amalala 5 omuli: Gulu, Masaka, Kampala, Mbarara ne Tororo
  • Lifuuka Essaza Ekkulu erya Kampala (1966-). Mu Gwomunaana nga 5, 1966, Paapa yagatta ekimu ku bitundu by'essaza lya Kampala ku Ssaza Ekkulu erya Rubaga n'akolamu Essaza Ekkulu erya Kampala. Essaza Ekkulu lino lyali litwala ebitundu ebisinga obungi mu Masekkati ga Uganda. Okuva olwo amasaza amalala asatu (3) gatondeddwawo okuva mu Ssaza Ekkulu erya Kampala nga muno mwe muli: Essaza lya Kiyinda-Mityana (Eryetongola mu Gwomusanvu 17, 1981), Essaza lya Kasana-Luweero (Eryetongola mu Gwekkumineebiri 16, 1996) n'essaza lya Lugazi (eryetongola mu Gwekkumineebiri 16, 1996).

Ebikwata ku Ssaza Ekkulu erya Kampala[kyusa | edit source]

  • Alikulira mu byeddiini ye: Ssaabasumba Paul Ssemogerere
  • Obunene bwalyo: lya square kiro meter 3.644.75.
  • Obungi bw'abantu abalirimu: 3,592,053
  • Abakatoliki abalirimu: 1,505,053 (bye bitundu 42 ku buli 100)
  • Ebigo: 67
  • Ebisomesa 389
  • Abasossodooti abalirimu: 324
  • Abasossodooti b'essaza: 261
  • Abasossodooti abali wansi w'essaza. 63
  • Ababulaaza: 186
  • Ababiikira/ Abasisita 410
  • Abasomesa ba Katikisimu 428
  • Omuwendo gw'Abaseminaaliyo: 173
  • Yunivasite z'Eklezia 1
  • Amatendekero g'ebyemikono 5
  • Amasomero ga Eklezia aga Siniya 45
  • Amasomero ga Eklezia aga Pulayimale 222
  • Amalwaliro ga Eklezia amanene 4
  • Amalwaliro amalala 20

Lubaga[kyusa | edit source]

Abaminsane Abakatoliki aba White Fathers bwe bajja e Uganda mu 1879, baaweebwa ettaka ku kasozi Lubaga. Ettaka lyabaweebwa Kabaka wa Buganda Mwanga II, mu 1889 era ku kasozi kato kwe baazimba Lutikko ya Saint Mary's Cathedral Rubaga. Eno baatandika okugizimba mu 1914 okutuusa mu 1925, nga baayambibwako obuvujjirizi bw'Abakatoloki ab'omunsi z'ebweru. Abaminsane bano a baasooka okujja baakaluubirizibwangannyo okwatula ekigambo Lubaga. Olw'obuzibu mu kwatula ennyukuta 'L' beesanganga baaula 'R' era ne bakiyitanga Rubaga. Eno y'ensonga lwaki empandiika y'ekitundu kino eyasooka yali 'Rubaga" kyokka empandiika eno egenze ekyusibwa okudda ku ntuufu eya Lubaga. Mu Luganda, ne mu nnimi endala eza Babantu twewali kigambo kitandisa "R".)

Oluvannyuma Abaminsane baazimba eddwaliro n'essomero lya ba nurse ku kasozi ke kamu. Okutuusa leero, Lubaga kisigadde nga kye kitebe ekikulu eky'Essaza Ekkulu erya Kampala era ekya Eklezia Katolika mu Uganda.

Omubiri gw'Omusumba wa Eklezia Omuddugavu eyasooka mu Uganda, Bishop Joseph Nakabaale Kiwanuka n'ogwa Kalidinaali wa Eklezia Omuddugavu eyasooka, Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga byaziikibwa mu kifo kino.

Ebimu ku Ssaza lino bye likoze[kyusa | edit source]

  • Lutikko ya St. Mary's Cathedral Lubaga
  • Ekitebe ky'obukulembeze bwa Eklezia Katolika obw'oku ntikko mu ssaza Ekkulu erya Kampala.
  • Ekifo omubeera Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala
  • Eddwaliro lya Lubaga Hospital: Eririna ebitanda by'abalwadde 300 nga litwalibwa obukulembeze bw'Essaza Ekkulu erya Kampala.
  • Ettendekero lya Lubaga Nurses School
  • Ekifo kya Pope Paul VI Memorial Community Center
  • Ekitebe kya Divizoni ya Lubaga: Emu ku Divizoni ettaano ezikola ekibuga ekikulu Kampala.
  • Ettabi lya Uganda Martyrs Universityeriri mu Lubaga (Lubaga Campus) ng'ettabi lya Univasite eno ekkulu liri Nkozi mu Disitulikiti y'e Mpigi.
  • Essomero lya Kisubi Mapeera Secondary School

Klezia ez'enkizo[kyusa | edit source]

Klezia esinga okuba ey'enjawulo ye Lutikko ya Saint Mary's Cathedral, ekitebe kya Ssaabasumba ekikulu ng'esangibwa mu Divizoni ya Lubaga, mu bugwanjuba bwa Kampala.[1] Ebiggwa bby'abajulizi ba Uganda bibiri (2), e Namugongo mu Disitulikiti y'e Wakiso n'ekya Munyonyo Martyrs Shrine.[2] Klezia endala ez'enkizo mu Ssaza Ekkulu lino mulimu Klezia ya Our Lady of Africa Church e Mbuya n'eyali Lutikko ya Saint Peter Nsambya[3]

Abasumba[kyusa | edit source]

Abaali ba Viika Genero ba Apostolic of Victoria-Nyanza

Abaali ba Viika ba Apostolic of Northern Victoria Nyanza

  • Bishop Henri Streicher, M.Afr.: 1897-1915[5] laba ebiri wansi

Abaali ba Viika ba Apostolic of Uganda

  • Bishop Henri Streicher, M.Afr.: musomeeko mu biri waggulu 1915-1933
  • Bishop Edouard Michaud, M.Afr.: 1933-1945
  • Bishop Louis Joseph Cabana, M.Afr.: 1947-1953 musomeeko mu biri wansi

Abaali ba Ssaabasumba b'Essaza lya Lubaga

  • Archbishop Louis Joseph Cabana, M.Afr.: musomeeko mu biri waggulu 1953-1960
  • Archbishop Joseph Kiwánuka, M.Afr.: 1960-1966

Ba Ssaabasumba b'essaza Ekkulu erya Kampala

Abamyuka b'Abasumba[kyusa | edit source]

Abasumba ab'Amasaza amalal agaakutulwa ku kkulu erya Kampala[kyusa | edit source]

Abasossodooti b'essaza lino abaafuuka Abasumba[kyusa | edit source]

Suffragan dioceses[kyusa | edit source]

 

Laba na bino[kyusa | edit source]

 

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-16. Retrieved 2022-12-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.ugandamartyrsshrine.org.ug/
  3. http://www.gcatholic.org/churches/africa/5564.htm
  4. https://www.catholic-hierarchy.org/diocese/dkamp.html
  5. http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bstre.html
  6. https://web.archive.org/web/20140714124802/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/516248

Sources[kyusa | edit source]

External links[kyusa | edit source]

0°18′09″N 32°33′08″E / 0.30250°N 32.55222°E / 0.30250; 32.55222Coordinates: 0°18′09″N 32°33′08″E / 0.30250°N 32.55222°E / 0.30250; 32.55222