Julius Achon

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Julius Achon OLY[1] yazalibwa nga 12 Ogwekumineebiri mu 1976 nga munayuganda eyawumula okuduka emisinde emiipi gyeyali yakugukamu mu mita 800 ne 1500. Achon yalinako likodi mu sizoni eya mita 800 mu akademi ya American Collegiate ey'obudde bwa 1:44.55 nga yagiteekawo mu 1996 ng'omuyizi ku yunivasite ya George Mason. Yavuganya mu mizannyi gya Summer Olympics egya 1996 ne 2000 gyombi.

Yeyatandikawo ekibiina ekirabirira abaana mu Uganda ekya Achon Uganda Children's Fund, ekisinziira mu Portland, Oregon ekyagulawo ekifo webajanjabira mu bukiika ddyo bwa Uganda mu 2012. Achon kati akola ng'omubaka wa palamenti akiikirira esaza lya Otuke mu bukiika ddyo bwa Uganda.

Obulamu bwa Achon babuwandiika mu katabo ka John Brant kebayita omulezi aduka 'The Boy Who Runs.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Ku myaka 10, Achon yatandika okuduka ng'asinziira kungero zeyawulira ezaali zikwatagana ku John Akii-Bua, munayuganda eyali aduka emisinde gy'okubuuka obuntu obutereedwa mu kisaawe n'awangula omudaali gwa zaabu mu Olympics wa 1972. Bweyalina emyaka 12, Achon yawambibwa abayeekera ba Lord's Resistance Army, abaali batandise olutalo lw'omunda, nebamutwala munkambi eyali mayiro 100 okuva webaali babeera. Yasobola okutoloka era nga wayise omwaka yayingira n'awangula empaka z'emisinde ezasooka okubeera entongole, ekyamuweesa ekifo mu mpaka z'omutendera gwa disitulikiti ya Lira. Okutuuka ku kisaawe,kyaali nga mayiro 42 okuva weyali abeera, Achon yalina ng'okudukawo esaawa mukaaga. Olunaku olwadako yawangula egya mita 800, 1500 ne 3000.[2]

Obuwanguzo bwe mu gya disitulikiti kyamuweesa ekifo mu gy'eggwanga, gyeyawamgulira egya mita 1500 mu budde bwa 4:09.52, ng'alabibwa Christopher Banage Mugisha, yawa Achon sikaala ey'okusomera obweereere mu somero lya gavumenti mu Kampala, ekintu Achon kyeyakiriza.[2]

By'awangudde mu misinde[kyusa | edit source]

Mu mpaka z'ensi yonna eza 1994 ez'abamusaayi, Achon yafuuka munayuganda eyasooka okuwangula omudaali gwa zaabu,[2] ng'aduse mita 1500 mu budde bwa saawa 3:39.78. Obuwanguzi buno bwegatibwako sikaala z'okusomera obweereere okuva mu yunivasite ez'enjawulo mu ggwanga lya Amerika, wabula n'alondako yunivasite ya George Mason. Mu 1996, yawangula egya mita 800 mu mpaka za NCAA title, n'atekawo likodi ya yunivasite mu Amerika ey'okuduka esaawa 1:44.55.Oluvannyuma mu mwaka ogwo, yadukira mu mitendera gya mita 1500 mu za Atlanta Olympics,[2] ng'akola nga kapiteeni wa ttiimu eyakiikirira Uganda mu mpaka za Olympic.

Achon yagenda n'avuganya mu mpaka za Olympics ezaali mu Sydney mu 2000, gyeyatuukira ku luzannya oludirira olw'akamalirizo mu mita 1500 naye nga teyeetaba mu mizannyo egyali mu Athens olwa maama we okubeera nga yatibwa abayeekera ba LRA.[3]

Akabenje k'emmotoka mu 2007 Ogwokutaano mu kaakomekereza obulamu bwe mu kuduka emisinde.[3] Yali ayagala kuduka mita 5000 mu mpaka z'emisinde egy'eggwanga lya Uganda mu 2007 Ogwomusanvu.[4]{|Template:AchievementTable |- !colspan="6"|Representing Uganda Yuganda |- |rowspan=2|1994 |rowspan=2|World Junior Championships |rowspan=2|Lisbon, Portugal |4th |800m |1:48.85 |- |bgcolor=gold|1st |1500m |3:39.78 |- |1995 |All-Africa Games |Harare, Zimbabwe |bgcolor=cc9966 | 3rd |1500 m |3:40.83 |- |2001 |World Indoor Championships |Lisbon, Portugal |8th |1500 m |3:53.03 |- |2002 |African Championships |Radès, Tunisia |6th |1500 m |3:43.00 |}

Ogw'okutendeka[kyusa | edit source]

Mu 2003, John Cook, eyali atendeka Achon ku George Mason, yamuwa ekifo ky'okubeera omumyuka w'omutendesi [2] ne pulojekiti ya Alberto Salazar eya Nike Oregon Project, eyabamba abadusi ab'amannya okwongera ku sipiidi yabwe nga Galen Rupp, eyavuganya mu muzannyi gya Olympics egyali e Beijing.[3] Mu 2010, okusala ku bajeti ku Nike kyali kitegeeza nti Achon yalina okufiirwa omulimu gwe naye yatandika okukolera gyebatereka ebintu naye ng'agendayo lumu nalumu.[2]

Ekibiina kye ekiyamba abaana ekiyitibwa 'Achon Uganda Children's Fund'[kyusa | edit source]

Achon yatandika okuwa abaana abaafiirwa bazadde baabwe mu lutalo lwa Uganda olwali olw'omunda mu 2003 weyakizuula nti bamulekwa 11 baali basula wansi wa baasi. Yabatwala mu maka g'abazadde bbe okulinaana Lira, taata we n'akiriza okusigala nabo nga Achon asindika ssente okuva mu Portugal gyeyali abeera n'okutendekebwa. Kyali kyetagisa doola 100 buli mwezi okuliisa abaana bonna..[2]

Mu 2007, Achon yasisinkana Jim Fee mu Portland, Oregon; nebatandikawo ekitongole ekitakola magoba ekiyitibwa Achon Uganda Children's Fund,[5] nga Fee akola ng'omuwi w'amagezi atasasulwa.[2] Omulimu gw'ekitongole kino gwali gwakwongera ku mutindo gw'eby'obulamu abantu byebafuna, amazzi amayonjo n'eby'enjigiriza.[5] Fee ne Achon baatandika okukungaanya ensiimbi z'okuzimba akalwaliro akatono mu Awake[2] okujanjaba abantu b'omukitundu ababeera balwadde omusujja gw'ensiri n'enddwadde endala.[6] Baakatuuma Kristina Health Centre (KHC), ng'erinya lyaali lya maama we era nebaligulawo mu 2012 Ogwomunaana, nga likozesa abantu 12.[7] Fee yafa mu 2013 oluvannyuma lw'okufuna ebinubule ebyali biva ku kabenje keyafuna ng'avuga akagaali, nga leero mukyala we Angela y'akola ng'akulira AUCF, ng'ayambibwako abakozi n'abali ku boodi edukanya ekitongole kino.

Okutuuka mu 2018 Ogwomunaana, akalwaliro kano kajanjaba abalwadde abasoba mu 300 buli mwezi nga bajanjaba obubenje n'enddwade ez'enjawulo. KHC esomesa n'abantu b'omukitundu engeri y'okukuumamu obuyonjo n'eby'obulamu.[7] Ekibiina kino era kyongera okuyamba abaana abasigala mu bifo gyebalabirira bamulekwa nga tebanakula mu myaka.[5] Okwongerako, "AUCF'' yeegata n'ekitongole okuva mu Australia ekya Love Mercy okuyamba aba ''Cents For Seeds" ng'eno pulogulaamu egabira abalimi ssente.

Mu palamenti[kyusa | edit source]

Mu 2016 Ogwokubiri, Achon yalondebwa okugenda mu palamenti ya Uganda ng'akola nga Minisita akiikirira disitulikiti gyebamuzaala ey'essaza lya Otuke.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://olympians.org/oly-house/olympians-for-life/
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 2.7 2.8 Kahn, Jennifer (November 2012). "Heart of Gold". Runner's World UK. 20 (11): 72–79. Cite error: Invalid <ref> tag; name "RWUK2012" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 3.2 Hultine, Hannah (6 August 2008). "Julius Achon". Willamette Week. Retrieved 24 September 2012.
  4. http://www.washingtontimes.com/news/2007/jul/1/paralympic-athletes-prepare-for-upcoming-games/
  5. 5.0 5.1 5.2 Meyer, Cheryl (10 April 2012). "Olympic runner Julius Achon strives to help Uganda". Phoenix Forward. Retrieved 24 September 2012.
  6. Binder, Doug (25 March 2011). "Julian Achon's humanitarian work is making a difference". Track Focus. Archived from the original on 4 May 2012. Retrieved 24 September 2012.
  7. 7.0 7.1 Odongo, Jacinta (21 October 2012). "Julius Achon: Legendary athlete who adopted his community". Daily Monitor. Retrieved 22 October 2012.

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]

  • Julius Achon ku Misinde gy'ensi yonna
  • Achon Uganda Children's Fund
  • Julius Achon ku mukutu gwa Facebook
  • Achon Uganda Children's Fund ku mukutu gwa Facebook
  • Julius Achon ku mukutu gwa Twitter