Mariam Najjemba

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Mariam Najjemba Mbabaali, amanyikiddwa nga Rosemary Najjemba Muyinda Munnayuganda, Munnabyabufuzi. Yaweerezaako nga Minisita omubeezi ateekerateekera ekibuga mu Kabinenti ya Uganda okuva nga 15 Ogwomunaana 2012,[1] okutuusa nga 6 Ogwomukaaga 2016, lwe yasuulibwa okuva ku Kabinenti.[2] Mu Kabinenti y'adda mu bigere Justine Lumumba Kasule, eyali alondeddwa nga ow'ebyempisa mu Paalamenti ku ludda lwa Gavumenti. Najjemba yaweereza nga Memba wa Paalamenti ow'Essaza lye Gomba, Disitulikiti y'e Gomba ku kaadi y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) okumala ebisanja bibiri eby'omuddiringaanwa okuva mu 2006 okutuusa mu 2016.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Yazalibwa mu Disitulikiti y'e Gomba nga 4 Ogwomunaana 1972. Yasomera ku Kitante Hill School mu misomo gye egya O-Levo.[4] Yasomera ku MacKay College mu misomo gye egya A-Levo, nga yatikkirwa mu 1993. Yayingira Ssettendekero wa Makerere mu 1994, nga yatikkirwa mu 1997 ne Diguli eya Bachelor of Arts in Public Administration and Management. Era alina Diguli ey'okubiri eya Master of Arts mu kisaawe ky'ekimu nga yagifuna mu 2004, nga n'ayo yagigya ku Makerere Yunivasite.[5]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okutandiikira mu 1999, okutuusa lw'eyetaba mu by'obufuzi mu 2006, Mariam Najjemba yaweereza mu buvunanyizibwa obw'enjawulo mu Offisi ya Plezidenti wa Uganda, nga mwe muli akulira emmeza y'abakyala mu maka g'obwa Plezidenti, omuyamb wa Pulezidenti mu by'kunoonyereza mu maka g'obwa Pulezidenti, Uganda. Mu 2006, yayingira mu by'obufuzi nga yesimbawo ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza lye Gomba nga mu kaseera ako yali Mpigi Disitulikiti. Yesimbawo ku kaadi y'ekibiiina kya National Resistance Movement (NRM) era n'awangula. Mu 2011, Essaza ly'e Gomba ly'ayakutulwa okuva ku Disitulikiti y'e Mpigi ne bakola Disitulikiti y'e Gomba. Yaddamu n'alondebwa mu Konsityuwensi y'emu era n'akiikirira Disitulikiti empya eyali ekoleddwa mu Paalamenti ya Uganda 9th (2011 - 2016).[6] Mu nkyukakyuka ez'akolebwa mu Kabinenti nga 15 Ogwomunaana 2012, yalondebwa nga Minisita omubeezi ateekerateekera ekibuga n'ebyenkulakulana.[7]

Mu 2015, Najjemba yaangirira nti yali alekulira eby'obufuzi bya Uganda. Teyaddamu kwesimbawo mu kalulu k'ekibina omwaka ogwo era teyalwanirira Konsityuwensi ye mu 2016. Yasuulibwa okuva mu Kabnenti mu 2016.[8]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Mariam Najjemba mufumbo. Mukyala w'anzikiriza y'obusiraamu.[9]

Obuvunanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Yakola emirimu gino wammanga ng'obuvunaanyizibwa mu Paalamenti:

  • Yali Ssentebe w'akakiiko akakwasaganya HIV/AIDS n'ensonga ezigoberera
  • Yali mmemba mu kakiiko akakwasaganya eby'obugagga eby'ensibo
  • Yali mmemba ku kakiiko akasunsula abalondeddwa

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2012-08-16. Retrieved 2024-04-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.elections.co.ug/new-vision/election/1408407/gomba-residents-bid-farewell-minister-najjemba
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-24. Retrieved 2024-04-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.independent.co.ug/najjemba-mbabali-on-musevenis-letter-that-took-four-years-to-reach-her/
  5. https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-24. Retrieved 2024-04-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2018-01-18. Retrieved 2024-04-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-25. Retrieved 2024-04-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-24. Retrieved 2024-04-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]