Molly Nawe Kamukama

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Molly Nawe Kamukama (eyali Molly Nawe), amanyikibbwa ennyo nga Molly Kamukama (yazaalibwa nga 23 Ogwomunaana 1973), Munnayuganda ow'ebyobufuzi era omukenkufu mu by'okudukanya, eyaweereza nga minisita avunaanyizibwa ku by'enfuna State Minister for Economic Monitoring in the Office of the President, mu Cabinet ya Uganda okuva nga 14 Ogwekkuminogumu 2019[1] okutuusa Mugwokuttaano 2021 Peter Ogwang bwe yamuddira mu bigere.[2]

Ebimukwaatako n'emisomo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikitti ye Kiruhura nga 23 Ogwomunaana 1973. Yasomera ku Bugarihe Primary School, nga tanadda ku Kazo Senior Secondary School, eyo gyeyafunira Uganda Certificate of Education mu 1992. Oluvanyuma lw'emyaaka ebbiri, yamaliriza emisomo gye egya A-Level mu somero lya Nganwa High School era nafuna Uganda Advanced Certificate of Education.[3]

Alina Diguli y'ebyenjigiriza, eyamuweebwa mu 1997. Diguli ye eya Master of Management Studies yamuweebwa e ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2008. Chartered Secretary eyakakasibwa e ttendekero lya Institute of Chartered Secretaries and Administrators elya United Kingdom.

Emirimu[kyusa | edit source]

Mu 1997, Molly yatwaala omulimu nga administrative assistant mu kitongole kya Kampala City Council, kati ekiyitibwa Kampala Capital City Authority, n'aweerezaayo okutuusa 1998. Emyaaka kkumi n'eena ejyadako, yakolera mu kitongole ekivunaanyizibwa ekya Uganda Electoral Commission, mu bifo eby'enjawulo, n'akula okuva ku kifo kya data editor mu 1998 okutuusa ku akulira, Dipaatimenti eyigiriza n'etendenka abalonzi, mu 2012. Emyaaka essattu ejyadako, okutuusa 2016, yagenda mu private consulting, naweereza ba kasitoma abenjawulo, omwaali South Sudanese Electoral Commission ne UNDP Nigeria.[3]

Mu 2014, yapangisibwa Gavumenti ya Uganda okuweereza nga kiyambi mu by'obufuzi owa sentebe w'ekibiina eky'obufuzi ekifuga ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement], naweereza mu kifo ekyo okutuusa 2016. Mu 2016, yalondebwa nga Principal Private Secretary wa Pulezidenti wa Uganda, naweereza yo okutuusa Ogwekkumineemu 2019.[3][4][5][6]

Mu nkyuukakyuuka ya cabinet, nga 14 Ogwekkumineemu 2019, Molly Kamukama yagattibwa ku cabinet. Oluvanyuma lw'okusalawo okwasooka, yalayirizibwa nga State Minister for Economic Monitoring, nga 13 Ogusooka 2020.[7]

Famire[kyusa | edit source]

Molly Nawe Kamukama mufumbo.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Monitor Reporter (14 December 2019). "Museveni Shuffles Cabinet, Drops Muloni, Appoints Magyezi". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 5 January 2020.
  2. Kazibwe, Kenneth (2021-06-25). "Peter Ogwang assumes office as State Minister for Economic Monitoring". Nile Post (in American English). Retrieved 2022-07-27.
  3. 3.0 3.1 3.2 {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. Apollo Mubiru (4 November 2016). "Kabagambe, Mugume, Kagoda dropped in new PS' reshuffle". New Vision. Kampala. Retrieved 5 February 2020.
  5. Job Bwire (4 November 2016). "Museveni appoints Dr Diana Atwiine PS health ministry". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 5 February 2020.
  6. Paul Mugume (25 November 2016). "Molly Kamukama Starts Work As Musevenis Private Secretary". Kampala: ChimpReports Uganda. Retrieved 5 February 2020.
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1513304/ministers-office

Ebijukiziddwa wa bweru wa wikipediya[kyusa | edit source]