Okusenga kwa ababundabunda Kyaka II

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kyaka II
Refugee Camp
Country Uganda
Obugazi
 • Total81.5 km2 (31.5 sq mi)
Abantu (2015)[1]
 • Total28,175
 • Ekibangirizi n'abantu350/km2 (900/sq mi)

Okusenga kw’ababundabunda Kyaka II nkambi y’ababundabunda mu Disitulikiti y’e Kyegegwa mu maserengeta ga Uganda.[1]

Eby’emabega[kyusa | edit source]

Okusenga kw’ababundabunda kw’atandikibwawo mu 2003 okufuna abantu abasigala mu Kyaka oluvannyuma lw’abantu abava mu Rwanda mu bungi mu mwaka gwe gumu. [2] Oluvannyuma lw’entambula eno, Kyaka I yaggalwawo. Mu makkati ga December 2017, effujjo eryaddamu mu DRC - Democratic Republic of Congo ly’avaako ababundabunda abapya okuyingira mu Uganda, ng’ababundabunda abapya bateeberezebwa okuba 17,000 be baggya mu Kyaka II. [2]

Okuva mu December wa 2017, omuwendo gw’ababundabunda mu Kyaka II gweyongedde emirundi ena, okugoberera okutuuka kw’ababundabunda enkumi n’enkumi okuva mu DRC nga badduka obukuubagano n’obutabanguko wakati w’amawanga mu North Kivu ne Ituri. [3] Waliwo ababundabunda abasoba mu 113,000 ababeera mu kifo kino. Kyaka II eddukanyizibwa ekitongole kya UNHCR ne ofiisi ya Ssaabaminisita eye Uganda mu kibiina ekivunaanyizibwa ku banoonyi b'obubudamu (OPM). [4]

Kyaka II era efuna ababundabunda bangi okuva mu Democratic Republic of Congo, gamba ng’ekibinja ky’abantu abayitibwa Ba Gegere Bahema, abaatuuka mu myaka 2002-2008. Waliwo okukulukuta okulala kw’ababundabunda okuva mu kitundu ky’e Bunia.

Enkula y’ensi[kyusa | edit source]

Kyaka II erimu square kilometers 81.5 mu bitundu ebitono bissatu okuli Mpara, Kyegegwa ne Kabweza mukitundu ky’ekimu Kyaka . Ensenga eno egabanyizibwamu zooni mwenda: Sweswe, Buliti, Bukere, Mukondo, Ntababiniga, Kakoni, Bwiriza, Byabakora ne Kaborogota.

Eby’obulamu[kyusa | edit source]

Ababundabunda abasoba mu 140,000 balambula eddwaaliro lya Bujiubuli Health Centre III okufuna obujjanjabi. [5]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Disitulikiti y'e Kyegegwa

UNHCR

Ebiwandiiko ebikozesebwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2018-02-20. Retrieved 2023-11-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 Text was copied from this source, which is available under a Creative Commons Attribution 3.0 International License.https://data2.unhcr.org/en/documents/details/71912
  3. https://www.unhcr.org/afr/news/latest/2019/11/5ddfb5654/unhcr-takes-donors-to-kyaka-ii-settlement-as-flow-of-drc-refugees-continues.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-05. Retrieved 2023-11-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.unhcr.org/news/latest/2019/11/5ddfb5654/unhcr-takes-donors-to-kyaka-ii-settlement-as-flow-of-drc-refugees-continues.html