Okuva

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okusinziira ku Muwanga, Okuva(motion) kiva mu kusalira(clipping) obugambo"okuva mu kifo". Okuva kitwaliramu okutambula, okuseetuka, okujugumira , okukankana, n'omugendo (okuva okweyongerayo.

Olw'okuteekawo omulamwa gwa sayansi "okuva"(Motion) , kati tuyinza okwogera ku :

(i) Amateeka ga Newton ag'Okuva(Newton's Laws of Motion) (ii) Ensibukuva(Kinematics). Kino kikwata ku nsibuko z'okuva . Ki ekireetera ebintu okuva. (iii) Engerikuva(Dynamics).Kino kikwata ku ngeri okuva gye kubaawo.

Waliwo akakwate akatasattululwa wakati w'okuva, empalirizo,n'amasoboza.Awatali mpalirizo tewayinza kubaawo kuva ate era awatali masoboza tewayinza kubaawo mpalirizo.