Ruth Tuma

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ruth Tuma (yafa 2016) yali munnabyabufuzi era omusomesa mu Uganda eyaweereza mu Palamenti ya Uganda ey'omusanvu (2001 - 2006) n'ey'omunaana (2006 - 2011) ng'akiikirira Disitulikiti y'e Jinja .

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Tuna yafuna diguli ye esooka mu by’enjigiriza ne diguli ey'okubiri mu by’enjigiriza mu kuteekerateekera n’okuddukanya emirimu okuva mu Uganda Christian University, Mukono . Yasomera ne mu ttendekero ly'abasomesa erya Kyambogo National ne Bishop Willis Teacher's Colleges. [1]

Tuna yali amanyiddwa nnyo olw’okulwanirira okusomesa abawala mu Busoga. Yayambako n’abakyala b’omu byalo ng’abawa endokwa z'emwaanyi n’endu z'ebitooke. [2]

Tuma yaweereza nga omubaka wa Palamenti owa Disitulikiti y'e Jinja okuva mu 2001 okutuuka mu 2006. Mu kiseera Tuma we yabeerera mu palamenti, yaliko ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Uganda Parliamentary Forum for Children era nga yali mmemba ku bukiiko bw’ebyensimbi n’embalirira mu kakiiko ka Uganda Parliament Parliamentarians for Global Action. Yaweereza mu bifo ebirala omuli okubeera mmemba ku lukiiko olufuzi, omumyuka w’omukubiriza w’emirembe ne demokulasiya era pulezidenti w’ekibiina ekigatta abakyala ba yunivasite mu Afrika. [1] Mu 2007, yalaajanira abaana okukuumibwa okuva ku bamenyi b’amateeka ab’ekikaba era n’asaba palamenti okukuuma enyo eddembe ly’obuntu n’okulwanyisa obwavu.

Mu 2016, Tuma yawangulwa Agnes Nabirye mu kalulu ka National Resistance Movement primaries.

Mu 2016, yafa kookolo nga 13th Ogw'omusanvu mu ddwaliro lya Kampala International Hospital oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa kookolo okumala ebbanga ddene. Nga tannafa, yatwalibwa mu e South Afrika okufuna obujanjabi. [3] Tuma yaziikibwa ku bigya by'abajajjabe mu disitulikiti y'e Namutumba .

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Tuma yali mufumbo ne Rev. Canon Dr. Tom Tuma. Abafumbo bano baazaala abaana bana.

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0
  3. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :2