94.8 XFM

Bisangiddwa ku Wikipedia

94.8 XFM Ye ladiyo eri waggulu w'ezo amakumi ana mu kukuba ennyimba eziriko ng'esangibwa mu kibuga Kampala, Uganda era nga essira eriteeka ku bavubuka abali wakati w'emyaka 18-28. Sitasoni ejjude ennyimba empya eziriko n'emboozi ez'akafubo ez'abayimbi ab'enjawulo okwetoloola Kampala nga eweerezebwa omuweereza eky'asinze mu kibuga.

XFM ebadde ku katale okumala emyaka mwenda (okuva mu Gwomunaana 2011) era nga obukugu bwabw babussa mu kusaawo enkolagana enwevu eri abawuliriza baabwe nga babaweereza ekyo ekisaanidde, ekisanyusa era n'okukozesa ebyo ebiri ku mikutu migatta bantu.

Amayengo ga XFM gatuuka ppaka mu Entebbe, Lugazi ne Nkozi. Era eweereza ne kumitimbagano gya Yintanenti.[1]

Ebyafaayo by'ayo[kyusa | edit source]

XFM 94.8 yatandika okuweereza mu Gwomunaana nga 1, 2011. Y'asooka kutuumibwa "Vision Voice", oluvanyuma n'ekyusibwa elinnya okusobola okutumbula omutindo gwayo. Ezimu ku pulogulaamu ez'ekizo ku XFM mulimu XAM ng'ewerezebwa Dj Cisse okuva ku ssaawa kkuminabbiri ez'okumakya okutuusa ku ssaawa nnya ez'okumakya buli lunaku lwa wiiki, XZIT ne Denzel etandiika ku ssaawa mwenda ogw'emisana okutuusa ku saawa emu ey'akawungezi buli lunaku lwa wiiki ne TXR.[2]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2015-04-02. Retrieved 2022-11-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-11-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]