97.7 Record FM
Record FM ( ebiseera ebimu eyitibwa Record Radio oba 97.7 Record FM) Leediyo esinziira mu kibuga okuweereza mu Kampala, Uganda[1] Okusinziira ku mukutu gwa Brazil ogwa Free to air omukutu gwa ttivvi ogw'ebyensimbii; Record Network gwatandika mu gwa mwenda nga 27, 1953. Gugerageranyizibwa ku mukutu ogusibuka mu ggwanga lya Brazil ogwa Universal Church of the Kingdom of God. Record FM Uganda eri ku 97.7 MHz, gwatondebwawo mu 2010[2] nga guwulirizibwa mu makkati, bugwanjuba, ne bukiika ddyo ssaako n'ebitundu bya bukiika kkono mu Uganda.[3][4][5]
Engombo yaabwe eya "Tusabula Hits All Day" ( evvunulwa nti tuzannya ennyimba olunaku lwonna"[6]). Mu 2019, 97.7 Record FM yalondebwa ekitongole kya Ejazz Media nga Leediyo ewulirizibwa abavubuka esinga okukula.[7] Omukutu gwa Bigeye.ug gwawandiika nti okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ebweru w'eggwanga gwalaga nti 97.7 Record FM y'esinga okuwulirizibwa mu masekkati ga Uganda nti abawuliriza baagala nnyo engeri ennyimba ezizannyibwa gye zirondebwamu ennungi ssaako Ppulogulaamu zaako wamu n'okuwuliriza ku mikutu gya Yintaneeti.[4]
97.7 Record FM erina pulogulaamu nga UG-Breakfast, Hitlab, Big Evening, Hot 7@7 Countdown, Love at Heart, ne The Dance Floor eya DJ Shiru.
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://fmscan.org/net.php?r=f&m=s&itu=UGA&pxf=Record+FM
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-17. Retrieved 2022-11-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-05. Retrieved 2022-11-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 4.0 4.1 https://bigeye.ug/record-fm-continues-to-dominate-the-central-as-the-hit-music-station/
- ↑ https://www.medioq.com/XX/Unknown/218384274989971/97.7-record-fm
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-10-17. Retrieved 2022-11-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://ejazzug.com/97-7-record-fm-named-fastest-rising-youth-radio-station/