Jump to content

AK 47 Mayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

  AK 47, Akay 47, Ak Fortyseven, AkayFourtyseven ng'amannya ge ag'obuzaale ye Emmanuel Mayanja yazaalibwa mu mwezi ogw'omwenda nga 29 mu mwaka gwa 1990, n'afa mu mwezi ogw'okusatu nga 16 mu mwaka gwa 2015 yali munayuganda eyakuba ng'enyimba za 'Dancehall',[1] yajja mu kumannyikwa mu mwaka gwa 2012 n'oluyimba lwebayita "Champion".kigambibwa y'omu kubakyasinze okukuba ennyimba za mu Uganda. Yafa nga 16 mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka gwa 2015 He died on 16 March 2015 in a mysterious death.[2]

Obulamu bwe ne byeyali akola[kyusa | edit source]

Ak 47 yazaalibwa omwami Gerald Mayanja, eyali ava mu Busato Mityana naye ng'abeera Seguku Kampala, yali waluganda ku bayimbi abanayuganda nga baamannya okuli; Chameleone, Pallaso ne Weasel owa Goodlyfe Crew.[3] 

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

AK yasomera ku Kisubi high school ku mutendera gwe ogwa siniya ng'eno gyeyamalira S.4.

AK47 yantandika okuyimba mu mwaka gwa 2008, mubiseera ebyo yali yeeyita Hammatone, ng'oluyimba lwe olwasooka yalufulumiza mu situdiyo gyebayita Studio One nga ne vidiyo yakolebwa omunayuganda amannyikiddwa ennyo gwebayita DJ Erycom. Yatandika okuyimba mu kibiina kya Leon Island ekidukanyizibwa muganda weChameleone ng'oluyimba lwe olwasooka baali baluyita Usiende mu mwaka 2008 [4], wabula oluyimba luno tebaalukuba nnyo ku leediyo za Uganda ne Ttivi, nga yavaawo okumanyikwa mu mwaka gwa 2011 bweyaddamu oluyimba lwebayita Bayuda nemuganda we Jose Chameleone.[5] Kino kyamuwa okumannyikwa n'obuwagizi obungi mu Uganda. Okuva olwo yayongerako ennyimba endala enuungi okwali; Mbeera ya nsi ne Champion ezaalinya ensengeka za Uganda eza muziki nga kuliko, Kidandali, Kaleba ng'ali ne muganda we Chameleone, Musajja watu ng'ali ne King Saha n'endala nyingi. Mu mwaka gwa 2014 yeegata ku kibiina kya Team No Sleep ekyali kidukannyizibwa Jeff Kiwa nga maneja wakyo era nga nennyini. Mu mwaka gwa 2012, AK 47 yawasa mukyala we Maggie Mayanja nebafuna abaana babiri abalongo.[6] 

Ennyimba zze[kyusa | edit source]

  • Usiende
  • Bayunda Remix feat. Chameleone
  • Champion
  • Kidandali
  • Mbera ya nsi
  • Mussajja watu with King Saha
  • Ndi Mulokole

?AK 47

Okufa kwe[kyusa | edit source]

AK47 yali amazze okukwata oluyimba lwe olwa Ndi Mulokole, nga 16 omwezi ogw'okusatu lwerwali olunaku lwe olwali lusembayo kunsi nga yagenda ku mukutugwe ogwamukwanira wala ogfwa Facebook naatekako ng'agamba "Nze Ndi Mulokole Nafuuka Mulokole AK Mulokole Naawe Fuuka Mulokole In God we trust" , AK yalokoka, naawe lokoka, mu katonda mwetukiririza [7] katono ketwali tumannyi nti kyeyali asembayo okutegeeza abantu. Era kusaawa nga 2 ez'ekawungeezi, AK 47 yagenda mu baala lya maneja we Jeff Kiwa, lyebayita Denjavu erisingaanibwa Kampala, gyeyatandikira okunywa ne mikwano gye. Nga ku saawa 4 ez'ekiro, AK 47 yasingaanibwa ng'agudde wansi mu binaabiro, ng'avaamu omusaayi munyindo ng'alina n'eby'ovu mu kamwa. Kyali kigambibwa nti yafuna kamunguluze n'azirika. Yatwalibwa mu kalwaliro akatono akaali kaliraanyewo okumuwa obujanjabi obusokerwako, naye akalwaliro kano kaagamba kaali tekasobola kukwasaganya embeera eno nebamusindika mu ddwaliro edene. Baatuuka mu ddwaliro ly'e Nsambya wabula abasawo nebakizuula nti baali tebasobola kujanjaba kyaali kimutuseeko. Baamulangirira ng'omufu oluvannyuma lw'edakiika taano ng'ayakatuusibwa mu ddwaliro lino.

Baayita baganda bbe Chameleone ne Pallaso abaatuuka mu bwangu ddala. Baategeeza abaamawulire nga ku saawa nga 5 ez'ekiro amawulire gaali gatandise okutambuzibwa ku mikutu gimukwanira wala oba egya 'social media'. Abasawo baategeka omulambo gwe nebagutwala mu gwanika.

Abajulizi[kyusa | edit source]

Buli mujulizi eyali okulinaana ebaala lya Dejavu ekiro ekyo yali ayogera kikye. Okusiinziira ku muwala omu, AK 47 yayombamu ne maneja we Jeff Kiwa nga bakayanira kompuyuuta gy'osobola okutambula nayo 'laptop' AK 47 yali ayagala kuzannya luyimba lwe olupya lwebayita Ndi Mulokole, ekintu Jeff Kiwa kyeyali tayagala, ng'agamba nti 'laptop' eryanda teryaliko muliro. Oluvannyuma lw'okuwanyisiganya ebigambo, AK 47 yagenda mubinaabiro ng'era waliwo omu kubakanyama akuuma ebaala lino eyalabibwako ng'agoberera AK 47 ng'agenda mubinaabiro. Ng'oluvannyuma lw'edakiika ntono kanyama yalabibwako ng'afuluma ebinaabiro, nga webaali tebalaba AK 47 ng'afuluma baasalawo okugenda bakebere nebamusingaana ng'ali wansi ku ttaka ng'afuddeko ekitundu ,baali balina okukiriza nti yali akubiddwa n'atibwa kanyama ono.

Abalala bagamba nti AK 47 yava mu baala n'agenda wabweru okugenda mu mmotoka ye adde ewaka. Naye yalabibwako ng'alina omusaayi munyindo nga kikirizibwa nti yali akubiddwa kanyama emabegako; awo weyagendera mu binaabiro okwerongoosaako omusaayi. Awo kanyama weyamugoberere neera, oluvannyuma kanyama n'afuluma ebinaabiro, nga webaagenda okukebera mu binaabiro oluvannyuma lwedakiika eziwerako, basingaana AK 47 nga yeebase wansi nga tasobola wadde okweyaba. Abajulizi bano bombi bakiriza nti oluvannyuma lw'okuyingira mu binaabiro, yagobererwa kanyama, nga kikirizibwa nti kanyama ono yeyamuta. Bangi bakiriza nti kanyama ono yali akolera kubiragiro by'abo abamusingako abali wagulu we.

Engero endala
Oluvannyuma lw'okufaakwe, waliwo alipoota ezaafuluma nga zigamba nti ogwo gwali muzimu gwa Karamaji ogwatuga AK 47 paka kufa,[8] Karamaji yali mulenzi eyafa mu 2012 ng'okufaakwe kwali kwekuusa ku famire y'aba Mayanja, ng'okuva bweyayokebwa paka kufa mu lugya lw'ennyumba ya muganda wa AK 47, naye okwekwasa kuno poliisi yakugoba olw'okuba baali tebalina nsibuko yankomeredde

Ekibiinja ekirala kyali kigamba nti ekyali kiva mu ba IIIuminati kyali kigamba nti kyekyatwala famire ya AK 47, okusinziitra ku bbo, AK 47 yali kitundu ku ttiimu okumala akaseera, nga bebaali bamuyambye okufuna erinya n'okumannyikwa, nga yali abaliddemu olukwe nga yeerangirira nga bweyali alokose, okusiznziira ku byeyali atadde ku mukutu gwe ogwa Facebook, nga baali balina okumubonereza. Naye poliisi bino yabigaana ng'egamba baali bagezaako okubuzabuza okunoonereza kwa poliisi ng'eyagala okuzuula ekituufu ekyali kiviriddeko AK 47 okutibwa.

Ebyavaamu[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okufa kwa AK 47, amawulire gaatambula ku mikutu gimukwanira wala egya 'social media' egy'enjawulo. Facebook ne Twitter mu Uganda zonna zaaliko obubaka obukungubaka n'okusaasira, leediya za Uganda ez'amannya wamu ne ttivi zaayingirira nga pulogulaamu zaazo eza buli lunaku okusobola okubika omuzira eyali afudde. Enku mu n'enkumu z'abawagizi baali batuuse ddala mu kifo weyali afiridde, nga bakungubaga nga bali wamu ne baganda bbe okuli Chameleone ne Pallaso n'abayimbi abala abawerako nga Bebe Cool, Diamond Oscar, Sheebah Karungi n'abalala bangi. Bebe Cool yawandiika obubaka obusaasira ku mukutru ogwa 'Facebook', nga kino ne Chameleone wamu ne Pallaso nabo nebakola ekintu kyekimu. Oluvannyuma banayuganda abamannyikiddwa n'abakozesa ekikutu gya yintaneeti baateeka obubaka obusaasira nga mwemwali Eddy Kenzo, Juliana Kanyomozi, Bobi Wine, Sheebah Karungi, Nobert Mao n'abalal bangi. Davido naye yateeka obubaka obusaasira, n'abana Kenya wamu aba Tanzania abamannyifu nabo bateekayo obubaka obusasira.

Bobi Wine yali yagenda kukuba bivulu mu South Afrika wabula yasazeemu ebyali bisigaddeyo n'akomawo e Uganda.

Okufa kwe baakugerageranya kukufa kw'abayimbi abanayuganda abaali abaamaanyi nga Philly Lutaaya, Paulo Kafeero ne Elly Wamala.

Diamond Oscar ne Dj Bobby abaali bakolera ku baala ya Dejavu baakwatibwa okuyambako ku poliisi mu kunoonyereza, naye baateebwa olunaku olwaddako nga basinziira ku kyebaali boogedde eri poliisi. Jeff Kiwa ne Sheebah Karungi nabo baliko byebaayogera eri poliisi. Kanyama w'okubaala yabulawo, ng'omulongoosa w'ebaala eyali akirizibwa okuba nga yaliwo ng'omujulizi nga AK 47 AFA naye yabulawo.

Chameleone yakolayo oluyimba olw'okujukira muganda we eyali yafa lwebayita "Tubasonyiwe". Ng'oluvannyuma ekibinja ky'abayimbi okuva mu Uganda nabo baakuba oluyimba lw'okujukirirako AK 47 lwebayita wumula mirembe AK47 "Rest in Peace AK 47" nga lwalimu Eddy Kenzo, Young Mulo, Big Eye, Lyto Boss, Denis Bitone, Spice Diana, ne Aziz Azion. Nga lwagobererwa oluyimba olwakubwa muganda we Pallaso lwebayita Mubambazanga.

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.howwe.biz/ak47.html
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221128211328/https://redpepper.co.ug/singer-ak-47-is-dead/
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221128211328/https://redpepper.co.ug/singer-ak-47-is-dead/
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.myspace.com/hammatone/music/album/usiende-2170204
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150402171538/http://www.hipipo.com/radio/218/AK47/AK47-and-Jose-Chameleone-Bayuda-Remix
  6. https://web.archive.org/web/20150402171538/http://www.hipipo.com/radio/218/AK47/AK47-and-Jose-Chameleone-Bayuda-Remix
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.facebook.com/AkFourtysevenMusic/photos/a.557226260998390.1073741830.516586985062318/792310230823324/?type=1&source=46&refid=17&do_not_show_promo=1&_rdr
  8. https://web.archive.org/web/20150320060924/http://blogs.monitor.co.ug/2015/03/ak47s-death-what-people-say/