Aamito Lagum
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 3 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1992 |
| Gy'azaalwa | Divizoni y'e Rubaga |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | model, actor |
| Langi y'amaaso | black |
Aamito Stacie Lagum (yazaalibwa nga 3 Ogwekkumineebiri 1992)[1]mukyala munnakatemba, omwolesi w'emisono gy'engoye era Munnayugnda. Okusookera ddala amannyiddwa olw'okubeera omuwanguzi yekka , ow'empaka za Africa's Next Top Model. ( Africa's Next Top Model ).[2]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Lagum yakuzibwa maama we yekka, Sidonia Ayaa, mu Kampala. Oluvannyuma lw'okufiirwa omulimu gwe, maama we yasengukira e Kitgum okubeera ne bajjajja be. Oluvannyuma Lagum yakomawo e Kampala okweyongerayo n'emisomo gye ku St. Jude Primary School, Katikamu Seventh Day Adventist Senior Secondary School ne St. Lawrence High School.[1][3]
Ku myaka kkumi namukaaga, Lagum yatandiika okugoba ku by'okwolesa emisono ( Modeling ) ng'omulimu. Omulimu gwe agwasooka gwali mu Ugandan Fashion Week, ng'ayoleseza kkampuni ya Gloria Wavamunno eya GW Collection. Mu 2012, Lagum yasisinkana omuwunzi w'ebyambalo (Designer) Adele Dejak, eyamutwala e Kenya okukubwa ebifaananyi.[1][4]
Africa's Next Top Model
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2013, Lagum yeetaba mu kwetegekera okufulumya ekyamanyibwanga Africa's Next Top Model nga yakozesa Baasi eyamala esaawa 16 okuva mu Kampala okutuuka e Nairobi. Oluvannyuma yayitibwa omuteesiteesi Oluchi Onweagba era yalondebwa okugenda mu Cape town ng'omu ku bawanguzi ekkuminaababiri.[5][6]
Lagum mu bwangu yategeezebwa abalamuzi n'abagenyi aba omukolo n'awangula ebifaananyi bingi ebisingayo nga kwotadde n'omukisa okulabikirako mu katabo k'e South Africa akayitibwa Elle olw'okufuna ekifaananyi ebyasingayo mu ssabbiiti ey'omwenda.[7] Lagum yayitamu outuuka ku mpaka eza kamalirizo mu sabiiti ey'kkumi mu lukontana, nga talabikiddeko mu bakwebedde ababiri. Lagum yalangirirwa ng'omuwanguzi.
Ng'ekitundu ku birabo, Lagum yafuna Kontulakiti y'okwolesa emisono ya mwaka gumu n'ekibiina kya DNA Model, ddiiru z'okulanga ebyamaguzi ne P&G, Etisalat, Snapp ne Verve International, Kontulakiti ya mwaka gumu ng'omumuli gw'ebyobulambuzi bya South Africa era n'ekirabo kya sente enkalu kya doola z'Amerika emitwalo etaano ($50,000 USD.)[8][9]
Emirimu gye oluvannyuma lw'okwolesa
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvanyuma lw'okuwangula Africa's Next Top Model, Lagum yakola endagaano n'abaddukanya ekibiina kya DNA Model mu South Africa era yalabikira mu katabo Marie Claire South Africa mu Ogwomunaana 2014. Era oluvanyuma yakola endagaano n'abakwasaganya/abaddukanya emirimu gy'obwa Model aba DNA Model Management era nagenda mu Kibuga kya New York City.[10] Lagum era yeetaba mu mpaka eza F/W mu 2015, nga amodolingira aba Lacoste, Marc owa Marc Jacobs, J. Mendel, Rag & Bone, Giles, Jonathan Saunders, Paul Smith, ne Bottega Veneta. Era yeetaba mu kuggulawo Balenciaga mu Kibuga Paris, ne kimufuula Model eyasooka ow'alangi ey'enjawulo okuggulawo omwoleso wansi wa Alexander Wang. Mu kaseera keekamu, yayoleseza/yamodolingira aba Lanvin, Dries van Noten, H&M, Giambattista Valli ne Hermès.[11][12]
Ku nkomekerero ya sizoni eyo, Lagum yateekebwa ku lukalala lw'abamoddo abapya abasinga ku models.com ne style.com.[13][14] Okuva kw'olwo, yalabikira mu butabo obw'enjawulo omuli, i-D, Interview, Love, W, V, American Harper's Bazaar, Italian ne South African Elle, L'Officiel, Omuyitale, Omu Ukraine,Omungereza, Omu Girimaani, Mexican, n'e Spanish Vogue, Teen Vogue, ne Italian Vanity Fair. Mu Ogwokuna 2017, era yakola ng'ekifananyi ku katabo k'Abamerika aka American Allure magazine. Era yateekebwa ku katabo ka British Elle mu Ogwomunaana oluvannyuma mu mwaka ogwo. Lagum era yalabika mubutabo bwa Lookbooks aka Hugo Boss, Area, Narciso Rodriguez, Kenzo, Acne Studios, Guerlain, Nordstrom, Barneys New York, Sonia Rykiel, Saks Fifth Avenue,[10][15][16] wamu ne mubulango bw'ebiwandiiko (advertorials) bwa Kenzo[17][18] ne mukawefube w'okulangiira zikampani nga Marc Jacobs, obw'akolebwa David Sims.[19][20]
Mu Ogwekkumi 2015, Lagum yaweebwa ekifo kya Cosmopolitan ng'omu kubakontanyi eyali asinze mu lukontana lwaba Top Model franchise.[21]
Lagum yazannya nga Nabakyala wa Sheba mu firimu ya katemba oy'omukwano eyali eyitibwa Three Thousand Years of Longing eyakulibwamu omutendesi George Miller eyatebwa mu 2022.[22]
Firimu zaalabikiddemu
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Disitulikiti y'e Kitgum
- Kampala
- Queen of Sheba
- Alexander Wang
- Africa's Next Top Model
Ebijuliziddwa.
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 Odeke, Steven (22 January 2014). "Stacy Aamito: From bushes to riches". Retrieved 6 July 2015.
- ↑ "Uganda's Aamito Wins Africa's Next Top Model". Ugandaonline.net. 13 January 2014. Retrieved 6 July 2015.
- ↑ Odeke, Steven (22 January 2014). "I want everything I touch to turn into gold". Archived from the original on 23 August 2023. Retrieved 6 July 2015.
- ↑ Ninsiima, Racheal (26 April 2012). "Uganda: Up Close With Africa's Next Top Model Winner Aamito Lagum". The Observer Uganda. Retrieved 6 July 2015.
- ↑ "Africa's Next Top Model With Oluchi Debuts. Meet The Finalists!". TW Magazine Africa. Archived from the original on 24 November 2013. Retrieved 20 November 2013.
- ↑ Obiuwevbi, Jennifer (5 March 2015). ""I Felt Like a Black Swan" – Aamito Stacie Lagum talks Beauty Stereotypes in Uganda, her Mum's Disapproval & More". Bella Naija. Retrieved 6 July 2015.
- ↑ "Editorials. Aamito Stacie Lagum. Elle South Africa. by Lee Moami". Superselected - Black Fashion Magazine Black Models Black Contemporary Artists Art Black Musicians -. Superselected. 15 July 2014. Archived from the original on 17 August 2022. Retrieved 6 July 2015.
- ↑ Baranga, Samson (20 January 2014). "Aamito returns in style". The Observer Uganda. Archived from the original on 7 July 2015. Retrieved 6 July 2015.
- ↑ "Stacie Aamito Lagum at Entebbe Airport". ugandaonline.net. 17 January 2014. Retrieved 6 July 2015.
- 1 2 "Aamito Stacie Lagum - Editorials". Fashion Model Directory. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "Aamito Lagum - Work by Year, shows". models.com. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "Aamito Stacie Lagum - Shows". Fashion Model Directory. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "TOP NEWCOMERS F/W 2015". Models.com. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "The Top 10 New Models of the Season". Style.com. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "Aamito Lagum - Work by Year, editorial". models.com. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "The Shining: Vogue UK September 2015". WE ARE SO DROEE. Retrieved 6 August 2015.
- ↑ "Kenzo Transparence". models.com. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "ANTM's Aamito Stacie Lagum Poses for Kenzo in New Campaign Images". Bella Naija. 20 May 2015. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "Marc Jacobs : 7 nouveaux mannequins pour sa campagne automne-hiver 2015". Elle.fr. 16 June 2015. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ "Marc Jacobs F/W 15". models.com. Retrieved 23 July 2015.
- ↑ Rees, Alex (20 October 2015). "12 times "Top Model" actually found, you know, a top model". Cosmopolitan. Retrieved 23 October 2016.
- ↑ Chhibber, Mini Anthikad (2022-08-27). "'Three Thousand Years of Longing' movie review: Djinn and tonic". The Hindu. ISSN 0971-751X. Retrieved 2022-09-14.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Aamito Stacie Lagum at Fashion Model Directory
- Aamito Lagum at models.com
- Aamito Lagum on Instagram
- Aamito Lagum at IMDb