Abdu Katuntu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Abdu Katuntu Yazaalibwa nga 12 mu mwezi gwa mugula nsigo mu mwaka gwa 1965[1]) Munnayuganda ate nga munnabyabufuzi. Ekiseera kino ye mubaka akiikirira abantu ba Bugweri county mu disitulukiti ya Bugweri. Munnakibiina ky'eby'obufuzi ekya Forum for Democratic Change[2] era nga yaweerezaako nga Ssaabawolereza wa gavumenti ow'ekisiikirize mu paalamenti ya Uganda okutuuka mu mwaka gwa 2018. oluvannyuma Wilfred Niwagaba n'amuddira mu bigere[3]. Yasooka okulondebwa ng'omubuka wa paalamenti mu mwaka gwa 2001.

Katuntu munnamateeka omutendeke nga yafuna diguli y'obwannamateeka okuva mu Makerere University ate n'afunirako ne dipulooma y'eby'amateeka okuva ku (LDC) Law Development Center. Yali mmemba w'ekibiina kya Pan African Parlament mu Uganda.[4] era nga y'avunaanyizibwa ku kwanjula alipoota z'akakiiko akalwanirira eddembe ly'obuntu (the Committee on Justice and Human Rights)

Yawangulwa ku kifo ky'obubaka bwa paalamenti mu kalulu ka bonna akaakubwa mu mwaka gwa 2006 era nga yali awanguddwa Kirunda Kivejinja kyokka n'awakanya ebyali bivudde mu kalulu ako ng'alumiriza obubbi bw'akalulu obwali busukkiridde. Era Kkooti yakizuula nti mu kiseera ky'okunoonya akalulu ne ku lunaku lw'okulonda lwennyini,okutiisatiisa saako n'okutulugunya abalonzi byakyaka ennyo mu constituency y'e Bugweri, ekintu ekyasambajja obuwanguzi bwa Kirunda Kivijinja.[5] Era bw'atyo Katuntu n'awangula akalulu akaddibwamu okukubwa.[6]

Mu kalulu ka bonna ak'omwaka gwa 2011.[7]Katuntu yazzibwayo mu paalamenti okuweereza ekisanja ekirala.

  1. https://web.archive.org/web/20151023180943/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=109.000000&const=Bugweri++County&dist_id=18.000000&distname=qIgangahttps://peoplepill.com/people/abdu-katuntu
  2. https://web.archive.org/web/20151023180943/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=109.000000&const=Bugweri++County&dist_id=18.000000&distname=qIganga
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/Opposition-names-new-shadow-cabinet-/688334-2203736-lyomyqz/index.html
  4. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2006-02-20. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://ugandaradionetwork.net/story/anti-katuntu-demonstrations-held-in-bugweri-county
  6. v
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1213362/katuntu-wins-hotly-contested-bugweri-byelection