Abraham Chepkirwok

Bisangiddwa ku Wikipedia

Abraham Chepkirwok yazalibwa nga 18 mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu 1988 nga munayuganda aduka emisinde emiipi eyakuguka mu gya mita 800. Y'alina likodi ya Uganda mu buwanvu buno ne dakiika 1:43.72 minutes gyeyafunira mu mwezi ogw'omusanvu mu 2008 mu Madrid. Alina omudaali ogw'ekikomo mu mpaka z'abamusaayi muto eza World Junior Championships ezaali eza 2006 nga yeetaba mu mu mizannyo gya Olympic egya 2008.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Yazalibwa mu Kapchorwa. Mu mwezi ogw'omukaaga mu 2006, yali adduse mita 800 ne dakiika 1:45.0, mu Kampala.[1] Nakino, yeyalino likodi ya sizoni ey'abamusaayi muto munsi yonna, ey'abaddusi abalina emyaka 19 n'okuda wansi.[2] Mukupima obudde bweyaduka ng'okozesebwa ssaawa y'amasanyalaze, yadukira edakiika 1:45.44 naatukirirza kino mu Heusden.[3] Yavuganya mu mpaka z'abamusaayi muto eza mu Beijing eza 2006 World Junior Championships gyeyawangulira omudaali ogw'ekikomo, nga yali akulembedde emisinde gino wakati w'obufubutuko bwa mirundi ebiri naye mu kulinaana enkolerero bana Kenya babiri nebamuwangula.[2]

Mu sizoni ya 2006–07 eyali ey'okudukira munda mu Stuttgart, yaduka edakiika 1:46.91 mu za mita 800. Eno yali likodi ya Uganda ey'emisinde gy'okudukira munda. Yagulawo sizoni y'okudukira wabweru nakuwangula misinde gya IAAF Grand Prix mu Dakar. Yawangula n'egya Grand Prix meet mu Hengelo, n'amaliriza ng'akutte kifo kyakusatu mu za Super Grand Prix meet e Doha, ne mu za Golden Spike Ostrava n'egya Bislett Games.[3] Olwo mu mwezi ogw'omusanvu, mu 2007, yawangula ng'ataddewo esaawa enungi ey'edakiika 1:44.78 mu mpaka za Grand Prix meet mu Athens.[1] Ekifo eky'okutaana mu mizannyo gya All-Africa Games[3] zaagobererwa okuyingira empaka z'ensi yonna eza 2007. Chepkirwok yatuuka ku lawuundi esembayo ku misinde egyali egy'embiranye, ng'abadusi bonna baamalira mu buwanvu bwa dakiika emu ne sekonda 47, Chepkirwok yakwata kyakuna n'obudde bwa 1:47.41. Nga zino zaali sekonda 0.02 emabega w'eyawangula omudaali ogw'ekikomo, ate sekonda 0.01 mumaaso gw'eyakwata eky'okutaano.[4] Ng'azingako sizoni, Chepkirwok yakwata kifo kyamusanvu mu mpaka za 2007 ez'akamaliri ez'emisinde gy'ensi yonna.[1]

Mu sizoni ya 2007–08 ey'okudukira munda, Chepkirwok yavuganya mu za 2008 ez'ensi yonna eza World Indoor Championships. Yatuuka ku lawuundi y'oluzannya oludirira olw'akamalirizo n'amalira mu kifo kyakuna, wabula nga teyasobola ku genda ku z'akamalirizo. Mu biseera by'ekyeeya yakola bulungi.Yagulawo nakukwata kifo kyakubiri mu Doha, na'wangula eza ISTAF Golden League meet mu Berlin. Yakwata kyakubiri mu mpaka za Grand Prix meets mu Madrid ne Athens, n'awangula egya Super Grand Prix meet mu Crystal Palace, London. Mu Madrid, yali ataddewo obudde obusinga ng'adukidde edakiika 1:43.72 ,[1] ng'eno likodi ya Uganda.[3] Mu kuyingira emizannyo gya 2008 egya Olympics, Chepkirwok yeyaka eyaliko ng'omudusi w'emisinde emiipi ku kibiinja kya Uganda kyeyali etutte okugikiikirira.[5] Mu mpaka za mita 800 teyatuuka ku z'akamalirizo, naye yamalako sizoni nakumalira mu kyakubiri mu misinde gya 2008 egy'akamalirizo egy'ensi.[1] Nga 2009 atandika, kyalangirirwa nti Chepkirwok yali alondeddwa okuweebwa ekirabo ky'omuddusi eyali asinze bane mu mwaka ogwo.[6] Wabula nga yakwata kyakubiri mu kugaba ekirabo kino emabega wa Moses Kipsiro ne Benjamin Kiplagat.[7]

Mu mwezi ogw'okubiri mu 2009 yatekawo likodi y'eggwanga ey'okudukira munda mu mita 1000 metres, ng'adukidde obudde bwa 2:18.18 mu Stuttgart.

Chepkirwok akiikirirwa PACE Sports Management, ng'atendekebwa Ricky Simms.

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 Template:Iaaf name. Retrieved on 28 January 2009.https://www.worldathletics.org/athletes/biographies?athcode=226000
  2. 2.0 2.1 {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.iaaf.org/history/WJC/season=2006/eventCode=3486/news/kind=108/newsid=35810.html
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20110723104627/http://www.pacesportsmanagement.com/athlete_profile.asp?id=226
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20080917022959/http://osaka2007.iaaf.org/results/gender%3DM/discipline%3D800/combCode%3Dhash/roundCode%3Df/result.html
  5. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.iaaf.org/OLY08/news/kind=100/newsid=46146.html
  6. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20090123164109/http://www.newvision.co.ug/D/8/30/668689
  7. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.iaaf.org/news/kind=100/newsid=49020.html