Abraham Waligo
Abraham Waligo (28 Julayi 1928 – 6 ogw'okusatu 2000)[1][2] yali Katikkiro wa Uganda owookuna okuva 25 ogw'omunaana 1985 okutuusa 26 ogusooka 1986.
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Waligo yasoma okukanika amasannyalaze mu ggwanga lya South Africa ne mu United Kingdom. Oluvannyuma lw'okutikkirwa mu 1955,ye yali makanika w'amannyalaze eyasooka mu masekkati n'obuvanjuba bwa Africa .Oluvannyuma lw'okutendekebwa emirimu gino egy'emikono ku masundiro g'amasannyalaze ag'enjawulo mu UK , yakomawo mu nsi ye mu 1957 nafuuka yinginiya ow'okuntikko owa Electricity Authority (UEB). Mu 1969, Waligo yatandiikawo woofiisi y'aba yinginiya . Mu kwongerezaako , yeenyigiddenga mu mu bibiina bya ba yinginiya . Oluvannyuma yafuna obukulembeze okubeera dayirekita wa Uganda Airlines.
Bweyenyigira mu byobufuzi oluvannyuma, Waligo yali minisita w'okuzimba n'enkulakulana y'ebibuga era yaliko ne minisita w'ebyensimbi.
Waligo yali Katikkiro okuva 25 ogwomunaana 1985 okutuusa 26 ogusooka 1986, ng'asikira eyaliko pulezidenti Paulo Muwanga. Samson Kisekka naddirira mu mwezi ogusooka 1986. Mu kisanja kye nga Katikkiro, yasigala aweereza nga minisita w'eby'ensimbi.
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Template:S-off Template:Succession box Template:End boxTemplate:UgandaPMsLua error: Invalid configuration file.