Acaye Kerunen
Pamela Elizabeth Acaye Kerunen (yazaalibwa mu mwaka gwa 1981), Munnayuganda omuwandiisi, omutontomi, omuzannyi wa firimu, omusiizi w'ebifaananyi by'ebyomwoleso (performance artist), omukubi w'ebifanyi abisiiga n'abiwanika mu bifo eb'enjawulo (installation artist),n'omulwanirizi w'eddembe nga akozesa bifaananyi byakubye (art activist).[1][2][3][4][5][6] Ye direkita eyatandikawo KEBU forum.[5] Ye yali omunnayuganda omukyala omukubi w'ebifaananyi eyasooka okw'olesa ebifaananyi wansi w'omwoleso ogw'asookera ddala mu Uganda ogwa Ugandan pavilion at the 59th International Art Exhibition e Biennale di Venezia (2022).[1]
obuto n'emisomo
[kyusa | edit source]Acaye yazaalibwa mu mwaka gwa 1981,[1] era yakuzibwa bazadde be nabo abaali abasiizi b'ebifaananyi.[6][7][4] Yazaalibwa nga bazadde be bakomyewo okuva mu kweekweeka e Nairobi.[4] Acaye alina muganda we omuwala, Suzan Kerunen.[5] Acayed yasomera ku Kiswa primary school.[5] Yegatta ku somero lya City High School e Kololo okuva mu mwaka gwa 1994 okutuusa mu gwa 1995, okusoma O-level.[5] Oluvanyuma yegatta ku somero lya Uphill College e Mbuya okw'eyongerayo okusoma emisomo jye ejya Olevel ne Alevel okuva mu mwaka gwa 1997 okutuusa mu mwaka gwa 1999.[5]
Okuva mu ttendekero lya Aptech, yatikibwa ne dipulooma mu by'okudukanaya ensengekera z'empuliziganya (information systems management) mu mwaka gwa 2002.[8][9][5] Acaye yatikibwa okuva mu Islamic University in Uganda (IUIU), e ye Mbale ne diguli ya sayansi mu by'abawulire mu mwaka gwa 2009.[1][8][9][5]
Emirimu
[kyusa | edit source]Acaye yakolera ku Uganda Red Cross Society mu luwumula lwe ng'amaliriza emisomo gye ejya O-level eyo jye yayambira mu kutegeeza famire okweekwata engeri z'okulwanyisa ensaansaanya y'ekilwadde kya Cholera.[5]
Acaye yakola nga omutendesi w'emizaanyo jy'ebikonde okumala emyaka ena nga taneegatta ku IUIU.[5]
Acaye yakola nga omumyuuka wa dilekitta ku Volcano Theatre production of Goodness mu Canada mu mwaka gwa 2012.[9]
Acaye yatandika KEBU forum era aweereza nga dilekitta wayo. [8]KEBU forum nkwatagana eri wakati w'abasiiga ebifaananyi ne ba manager okusobola okutandika n'okufulumya art owenjawulo arts.[8]
omukozzi wa art mungeri y'ebisiige, ebibumbe
[kyusa | edit source]Emirimu jya Acaye ejy'okuwanika art girimu okutungisa engalo, appending, okusiba, embroidery and weaving nga akozesa natural fibre n'ebintu ebifunibwa mu Uganda nga ebyaayi, ebisansa, reeds n'embugo ezikungudwa, ezikaziddwa n'ezilukiddwa mu Uganda . Emirimu gigwa mu n'eyisa ez'enjawulo nga art w'ebisiige, n'ebibumbe, curation, okulwanira eddembe nga akozesa art (activism), okuzannya emizanyo, okutontoma, okuwandiika, and n'okuzanyira emizanyo ku siteegi.[6][4]
Acaye yetabye mu curatorial fellowships ezenjawulo eziyambiddwa Afriart Gallery, Makerere University mu Kampala; 32 Degrees East, Newcastle University ne United Kingdom.[6]
Acaye alina ebikolwa omuli;
- Lwang sawa (which has meanings, that is "In the eye of time" and also "You are burning" in Alur language).
- Myel (It depicts a woman in a moment of dance motion in basketry).[1]
- Wangker ("Eyes of Reign" in Alur language).[1]
- Kot Ubinu ("Rain is coming" in Alur language).[1]
- Passion flower.[1]
Omuwandiisi n'omutontomi
[kyusa | edit source]Acaye awandiise ebitontomi ne theatre musical scripts ezimu nga zafulumizibwa ku Uganda National theatre ne Phoenix.[8] Alina engero ezaafulumizibwa Minisitule y'ebyenjigiriza mu Uganda, FEMRITE Uganda.[8][10]
- Acaye awandiikide Full woman magazine efulumizibwa Daily monitor.[11][10]
- Acaye yawandiika muziki eyali mu musical theatre piece ye eyafulumizibwa wansi w'elinya "Dawn of the Pearl" mu mwaka gwa 2006.[4][12]
Omuzanyi w'emizannyo
[kyusa | edit source]- Acaye yazanya ekitontomi kye mu Kampala art scene naye era azanyila mu festivals, emyoleso ne symposiums. [2]
- Acaye yazanyira mu Silent Voice ogwawandikibwa Judith Adong
- Mu mwaka gwa 2021, Acaye yetabba mu online self-led dance fellowship eyali etegekeddwa Saisan Foundation eya Japan.[1]
Emyoleso
[kyusa | edit source]- mu mwaka gwa 2018, Kendu an interactive womblike structure eyali ekoleddwa mu lubugo yawanikibwa Acaye mu Nyege Nyege Ugandan culture ne music festival.
- mu mwaka gwa 2021 okuva nga 18 Ogwomwenda okutuusa nga 28 Ogwekumi 2021, debut five week exhibition ya Acaye yali "Lwang Sawa" (ekivuunulibwa nga "mu maaso ge saawa" mu Alur) ku Afriart gallery mu Kampala wansi wa curatorial fellowship ne New Castle University.[1][6]
- Mu mwaka gwa 2022 okuva nga 23 Ogwokuna okutuusa nga 27 Ogwekumineemu , Acaye yayolesa ebintu bye ebilukiddwa(weavings) mu mwoleso gwa 59th International Art Exhibition of Biennale di Venezia (aka Venice Biennale Arte) mu Uganda national pavilion wansi w'elinnya "Radiance - They Dream in Time" oluvanyuma lw'okufuna enkolagana wakati wa Stjarna ne Uganda National Cultural Centre (UNCC).[1][6][7][3][13][14][15]
- Mu mwaka gwa 2022 mu Gwekumi, Acaye yayolesa ku Frieze London 2022.[6]
- Mu mwaka gwa 2022, Acaye yayolesa ku Blum & Poe ku Art Basel Miami Beach.[6][16]
- Mu mwaka gwa 2023, Acaye yategeka omwoleso gwe yeka mu Los Angeles.[6][17]
Engule, okusimibwa n'ebifulumiziddwa
[kyusa | edit source]- Mu Gwomukaaga 2012, Vogue Italia Magazine yamuwandiikako nga abamu ku ba Firika abatabaganyi era abalwaanyi b'eddembe.[4]
- Mu mwaka gwa 2022, Acaye yasiimibwa n'engule ya special mention award ku mwoleso gwa 59th International Art Exhibition of Biennale di Venezia olw'enkozesa ye ey'ebintu nga raffia, ebyaayi,reeds n'endaga ye eya sustainability nga omuze so si ng'enkola(policy) oba concept.
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/ugandan-art-puts-best-foot-forward-in-venice-3882762
- ↑ 2.0 2.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/acaye-holds-her-own-in-provocative-awinju-1745374
- ↑ 3.0 3.1 https://www.independent.co.ug/radiance-of-ugandan-art-at-the-59th-edition-of-venice-biennale/
- ↑ 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 4.5 https://africanah.org/pamela-elizabeth-acaye-kerunen/
- ↑ 5.00 5.01 5.02 5.03 5.04 5.05 5.06 5.07 5.08 5.09 "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-01. Retrieved 2024-04-04.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 6.5 6.6 6.7 6.8 https://www.pacegallery.com/journal/acaye-kerunen-joins-pace-gallery/
- ↑ 7.0 7.1 https://satisfashionug.com/satisfashion-ugs-wcw-today-is-acaye-kerunen/
- ↑ 8.0 8.1 8.2 8.3 8.4 8.5 https://tashkeel.org/artists/acaye-kerunen
- ↑ 9.0 9.1 9.2 "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-31. Retrieved 2024-04-04.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 10.0 10.1 https://www.acayekerunen.com/about
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/influential-women-who-empower-others-1810330
- ↑ https://cinekenya.com/tag/kebu-theater/
- ↑ https://ca.finance.yahoo.com/news/uganda-host-first-national-pavilion-230000552.html
- ↑ https://www.okayafrica.com/venice-biennale-2022-africa/
- ↑ https://avenuemagazine.com/acaye-kerunen-art-basel-miami-beach-guide-to-art-basel-2022/
- ↑ https://events.kcrw.com/events/acaye-kerunen-at-blum-poe/
- ↑ https://www.blumandpoe.com/artists/acaye_kerunen