Jump to content

Acen Rhoda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Acen Rhoda munabyabufuzi omunayuganda eyali akiikirira ekibiina ky'eby'obufuzi ekya Forum for Democratic Change mu palamenti ya Uganda ey'omunaama wansi wa disitulikiti ya Amuria.[1] Rhoda yatumibwa erinya lino nga basinziira kusomero lya pulayimale erisinganibwa mu Amusus, mu saza ly'e Kuju, mu disitulikiti ya Amuria eriyitibwa Rhoda Acen Primary School.[2]

Omulamu bwe mu by'obufuzi

[kyusa | edit source]

Bweyali mu ofiisi y'oby'obufuzi, Acen yagamba abakazi mu Katakwi mu bugwanjuba bwa Uganda baali batunda abaana baabwe nga buli omu wa 3,000 eza ssente za Uganda okusobola okulabirira famire zaabwe oluvannyuma lw'abaami baabwe okubeera nga baali baabadekako olw'entalo ezaali mu kitundu kino.[1] Kino kyayogerwa Rhoda bweyali ayogerako eri abakyala ba palamenti mu lukungaana olwali lutegekeddwa ekibiina kya Uganda Women's Network ng'aba Westminster Foundation for Democracy beebaalutekamu ensiimbi.[1] Olukungaana luno lwali ku bya ddembe ly'abakyala wansi w'enkola ey'ebibiina ebinji eyali etegekeddwa ku woteeri ya Entebbe Imperial Resort Beach Hotel.[1] Mu 2020, Rhoda yadda engulu oluvannyuma lw'okuwangula Susan Amero, eyali mu kifo kino ng'omubaka wa palamenti.[3] Mu mwaka gwa 2007, yali omu kubaali beegatira mu kibiina ekya palamenti eky'abali bava mu Teso abaayogera mulukungaana lw'abanamawulire ku palamenti gyebabaalagira ebimu ku bijanjaalo ebyaali ebivundu ebyali byagabibwa gavumeenti okusobola okuyamba ku by'emere y'abantu.[4]

Laba nebino

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1145605
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221015150450/https://unser.co.ug/school/8671/
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://observer.ug/news/headlines/66448-all-kumi-district-incumbents-lose-in-nrm-primaries
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://allafrica.com/stories/200709060329.html