Achia Remegio
Achia Remegio yazaalibwa nga 27 Ogwekkumineebiri 1970, munnayuganda munnabyabufuzi, omukugu mu by'enfuna n'eby'embalirira.[1] Abadde Omubaka wa Palamenti ng'ali wansi w'ekibiina kya National Resistance Movement ng'akiikirira essaza lya Pian, mu Disitulikiti y'e Nakapiripirit okuva mu 2006, okutuuka nakati.[2][3][4]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Nakapiripirit esangibwa mu Bukiikaddyo bwa Uganda.[1] Musajja mufumbo eyawasa omulamuzi Jane Frances Abodo akulira abasalawo ekirina okukolebwa eky'enkomeredde eri omuzzi w'emisango singa gubeera gumusse muvvi.[1]
Yasomera ku St. Mary's Seminary Nadiket, erisangibwa e Moroto mu Uganda gyeyamalira emisomo gye egya siniya. Wakati wa 1986 ne 1990, yeegatta ku Yunivasite y'e Makerere n'atikkirwa ne Diguli mu by'embalirira wamu n'eby'enfuna.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yaweerezaako nga eyeebuzibwaako ku by'ekikugu mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku by'emere n'eby'obulimi eky'Amawanga Amagatte wakati w'Ogwekkuminoogumu 1999 n'Ogwokutaano 2005.[1] Okuva mu Gwokutaano 2011 okutuusa kati, abadde aweereza ng'Omumyuka wa ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'embalirira mu Palamenti ya Uganda.[1] Okuva mu Gwokuna 2006 okutuusa kati, abadde mubaka wa Palamenti ya Uganda n'emirimu gamba nga okwekkanya ebikozesebwa n'okubisaasaanya, okwekkanya embalirira, n'okussa mu nkola embalirira egenderera ebiruubirirwa.[1] Yeeyali Omumyuka wa ssentebe ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by'embalirira by'Eggwanga wakati w'Ogwokutaano 2006 okutuuka Ogwomusanvu 2009.[1]
Remigio Achia ensangi zino ye ssentebe w'akakiiko akeegattibwamu ababaka ba Palamenti okuva mu bitundu bye Karamoja.[1][5] Yavumirira nnyo amagye g'eggwanga aga UPDF olw'okuyisa ekitundu kyonna nga ekimenyi ky'amateeka ekyavirako okufiirwa abatuuze 3,000, wamu n'enkumi z'abaana abaawalirizibwa okugenda kunguudo z'ebibuga.[5]
Obukuubagano
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwokutaano 2013, yakwatibwa olw'okuvuga ng'atamidde.[1] Yawalanyizibwa olw'okusalinkiriza gyebaliira emere e Wandegeya, wadde nga ku ggeeti kwali kuliko ekiwandiiko.[6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 https://flashugnews.com/remigio-achia-biography-age-education-family-and-wife/
- ↑ https://www.independent.co.ug/tag/remigio-achia/
- ↑ https://www.independent.co.ug/mps-demand-disbandment-of-karamoja-affairs-ministry/
- ↑ https://nilepost.co.ug/index.php/Karamoja%20Development%20Agency/189530/mps-ask-govt-to-retain-karamoja-devt-agency-in-ongoing-rationalization-process
- 1 2 https://www.independent.co.ug/karamoja-mps-accuse-updf-of-looting-livestock-killing-civilians/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1169879/achia-harassed-trespass