Jump to content

Agnes Ameede

Bisangiddwa ku Wikipedia
Agnes Ameede

Agnes Ameede yazaalibwa nga 12 Ogwomukaaga 1970 Munnayuganda, munnabyabufuzi, ng'awereza nga Omubaka wa Palamenti omukyala owa Disitulikiti ya Pallisa mu Palamenti ey'ekkumi okuva mu 2016, okutuuka mu 2021.[1][2][3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Agnes Ameede yazaalibwa mu Disituliki y'e Pallisa nga 12 Ogwomukaaga mu 1970,[1] nga bazadde be ye omwami n'omukyala Gabriel Olaki, nga omwana wabwe ow'okutaano, mu baana 12 beebaalina. Kitaabwe yali musaomesa wa pulayimale, nga'te maama we yali mukyala eyali asigala ewaka.[4]

Yasomera ku Kabwangasi Primary School, ng'era taata we yeeyali omukulu w'essomero. Oluvannyuma yeegatta ku St. Paul's College erisangibwa mu kibuga ky'e Mbale ng'eno gyeyatuulira siniya eyookuna. Yeeyongerayo n'emisomo gye ku Tororo Girld School, gyeyatuulira siniya eyoomukaaga, n'atikkirwa ne Dipulooma mu misomo egya waggulu mu siniya mu 1991.[1]

Mu 1994, yatikkirwa okuva ku Yunivasite y'e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda, ng'atikiddwa ne Diguli eya Bachelor of Arts. Oluvannyuma yafuna Dipulooma gyeyayongerezaako mu by'okudukanya emirimu okuva ku Uganda Management Institute (UMI). Yayongerezaako ne Diguli eyookubiri mu by'enzirukanya y'emirimu, era okuva ku Uganda Management Institute. Diguli ye eyookusatu yali mu bya saayansi mu kudukanya n'okulakulanya ebitundu, eyamuweebwa aba The Open University, mu ggwanga lya Bungereza. Alina ne satifikeeti mu mateeka agafuga emirimu, gyeyafuna okuva ku ttendekero lya Law Development Centre mu Kampala.[1]

Nga taneenyigira mu byabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1996, Agnes Ameede yaweebwa omulimu aba Minisitule ya Uganda Ey'ensonga z'omuggwanga munda ng'akola ng'avunaanyizibwa ku bayingira n'okufuluma eggwanga nga bamuteeka ku zimu ku ofiisi zaabwe ezisinganibwa e Malaba mu Uganda. Yawerezaayo okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'akyusibwa okugenda ku kitebe kya Minisitule ekikulu ekisinganibwa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[1]

Mu 2003, yatwalibwa ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe, gyeyawereza okutuuka mu 2005. Mu 2006, yakuzibwa n'afuulibwa omukulembeze mu kitongole ky'okunoonyereza wamu n'eby'amateeka, era n'akyusibwa n'adda ku kitebe ekikulu e Kampala. Mu 2009, yatwalibwa mu ggwanga lya Liberia, nga omuwabuzi ku by'okufuluma n'okuyingira eggwanga, gyeyali akolera n'ekibiina ekigatta amawanga g'ensi yonna okutuusa kunkomerero ya 2010.[1]

Okuva mu e Liberia, yateekebwa ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe nga omukulembeze w'ekitongole ky'okunoonyereza wamu n'eby'amateeka. Mu 2015, yakuzibwa n'afulibwa Omukungu omukulu avunaanyizibwa ku by’okuyingiza abantu mu ggwanga. Oluvannyuma mu mwaka ogwo, yalekulira n'ayingira eby'obufuzi bya Uganda.[1]

Nga munnabyabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kalulu kabonna aka 2016 , Agnes Ameede yeesimbawo bulungi ku ky'omubaka omukyala owa Konsitituweensi ya Disitulikiti y'e Pallisa, mu Palamenti ya Uganda. Yeesimbawo ku tikiti y'ekibiina ekiri mu ntebe ekya National Resisitance Movement. Omu kubaali bawangudwa, Catherine Achola, yawakanya ebyali buvudde mukulonda kuno bweyagenda mu kkooti, wabula neeyo Agnes Ameede yavaayo nga ye muwanguzi.[5]

Mu Palamenti eyekkumi, y'omu kubali ku bukiiko okuli; (a) Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy'ebitongole by'eggwanga n'ebya gavumenti (COSASE) wamu (b) n'akakiiko k'ensonga ezikwata ku kibiina ekigatta amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika (COEACA).[1]

Agnes Ameede mukyala mufumbo nga bbaawe ye Lawrence Omulen ng'era bazadde b'abaana basatu aboobuwala.[4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]