Agnes Atim Apea

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Agnes Atim Apea neekolera gyange Omunayuganda ate ng'ate munabyabufuzi. Yeeyatandikawo ekitongole kya Hope Development Initiative, ng'era omukutu gwa BBC gwa nemuteeka mu pulogulaamu z'abakyala 100 eza 2017. Mu kulonda bwa bonna okwa 2021, yalondebwa ku ky'omubaka wa Paalamenti ya Uganda okukiikirira abakyala mu Disitulikiti ya Amolatar kulw'ekibiina kya .[1][2]

Okusoma kwe n'emirimu[kyusa | edit source]

Apea alina Diguli eyookusatu mu byenkulaakulana y'ensi yonna okuva mu Yunivasite esinganibwa mu kibuga kya Reading e Bunegreza, ne Diguli eyookubiri okuva ku Uganda Martyrs University mu byenkulakulana.[3]

Apea ye ssenteb w'akakiiko ka gavumenti z'ebitundu akavunaanyizibwa ku by'enfuna ng'era y'akulira ekitongole kya Hope Development Initiative,[4][5] ekikulakulanya okulima omuceere nadala mu bakyala abalimi u bitundu eby'enjawulo mu Uganda. Kino kyamuvirako okumukazaako erya ''Maama muceere''.[6] Ekitongole kye kikungaanyiza ebibiina by'obwegasi eby'abalimi mu Uganda, nekibasindikiriza okufuna ekitundu tundu ku katale. Mu kwongereza ku muceere, ebibiina bino bikola na b'ensigo z'enva endiirwa omugibwa buto n'ebigibwa mu muwogo.

Era ye mubaka wa Paalamenti akiikirira abakyala mu Disitulikiti ya Amolatar mu Bukiika ddyo bwa Uganda.

Mu 2017, ab'omukutu gwa BBC ku pulogulaamu z'abakyala.[7][8] Apea yakimannya bweyali agenze okwetaba olukungaana lwa African Grain Trade Summit olw'omulundi ogw'omusanvu olwali mu Tanzania,nga bagamba yakulakulanya obwenkanya mu bitundu wamu n'okusomesa abakyala abato nga bweyali yakola olukalala.[6]

Mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu, akola ng'omumyuka wa ssentebe ku kakiiko k'eby'obulimi, obulunzi n'obuvubi.[9][10]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuriziddwaamu[kyusa | edit source]