Agnes Nalwanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Agnes Nalwanga, munayuganda eyeekolera bizineensi zze, eyakuguka mu by'okudukanya emirimu egy'enjawulo n'okulaba ng'emirimu gy'akakiiko akadukanya kampuni katambula bulungi nga y'akulira aba vunaanyizibwa ku by'okulaba ng'amasanyalaze gatuuka bulungi mu bantu mu kitontole kya Umeme Limited, kampuni y'amasanyalaze eyasinga obunene Uganda. Ali ku ttiimu y'abakulu abadukanya kampuni eno.

Ebimukwatakon'eokusoma kwe[kyusa | edit source]

Nalwanga yazaalibwa mu Uganda mu mwaka gwa 1975. Yazasomera mu masomero ga wansi mu pulayimale ssaako ne siniya, yatikirwa diguli ye eyasooka ku setendekero ly'e Makerere mu by'okugula n'okutunda eby'amaguzi ng'esira yasinga kuliteeka mu byakituunzi. Eno yagiwerekereza ne diguli ey'okubiri mu by'okudukanya eby'enfuna nga nayo yagitikirwa Makerere. Oluvannyuma yafuna diguli ey'okubiri mu by'okudukanya bizineensi okuva kutendekero lya Assam Don Bosco University, mu Assam, mu ggwanga lya India.[1]

Eby'emirimu gye[kyusa | edit source]

Nalwanga alina ebimukwatako nga bviira ddala mu myaka 20 mu kudukanya emirimu mu kampuni y'amasanyalaze mu Uganda okutandikira mu mwaka gwa 1990, munaku ezo abaali bavunaanyizibwa ku by'amasanyalaze aba Uganda Electricity Board, wabula nga kati tebakyaliwo. Okuva mu mwaka gwa 2006, yali akolera mu kitongole kya Umeme ng'akola emirimu egy'enjawulo n'okubeera eyali akulira oba adikanya ekitundu, okugatunbda mu bantu mu butonton, n'okubeera nga yeeyali akulira ebitundu.[1][2] Mu mirimu gye egy'enjauwlo yavumirira nnyo eby'okukozesa amasanyalaze mu ngeri emenya amateeka nga kino kigaviirako okwookya ebintu wamu n'okutta abantu nadala mu bibuga ne munzigota.[3]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/India
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/India
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/India