Agnes Namyalo

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Agnes Namyalo, ng'abasinga bamumannyi nga Agnes Mayanja Namyalo, ng'ebiseera ebisinga batera kumuyita Agnes Mayanja, yazaalibwa mu mwaka gwa 1975, nga munayuganda akola mu baanka, era nga y'omu ku bakungu abali ku kakiiko akakulu ng'era y'akulira baanka ya KCB Bank Uganda Limited, okuviira ddala mu mwezi ogw'okusati mu mwaka gwa 2021.[1]

Ebumukwatako n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Tazaalibwa mu kibuga mu masekati ga Uganda mu myaka gya 1970, nga yasomera ku masomero ga pulayimale ne siniya agabulijjo, nga tanagenda ku setendekero ly'e Makerere ye yunivasite ya gavumenti esinga obunene n'obukadde mu Uganda. Yatikirwa ne diguli mu by'okusomesa eby'amawulire okuva eyo. Diguli ye ey'okubiri yali yakudukanya bya bizineensi nga yagifunira ku Heriot-Watt University Business School, mu kibuga kya Edinburgh, eky'eggwanga lya Scotland mu United Kingdom. Mukyala Namyalo era amaliriza koosi z'eby'ekikugu ez'enjawulo mu kunoonyereza n'okugonjoola ebibeera bireese kiremya mu kampuni wamu n'amabanja.. Yasoma koosi z'obukulembezze ez'ekikungu ez'enjawulo kutendekero lya Strathmore Business School.[1][2]

Eby'emirimu gye[kyusa | edit source]

Yatandika okukolera mu baanka okuviira ddala mu mwaka gwa 1999, nga yeeyali akulira abaali bakwasa abantu ebintu nebamala nabyo akabanja nga bayita mundagaano mu baanka ya DFCU Bank. Yeeyongerayo mu kifo kyawagulu okwali okubeera nga yeeyali akulira abavunaanyizibwa ku by'ababanja, okukulira eby'enkulakulana wamu n'okubeera kalalaba w'ebitongole ebitereka ssente, n'okukulira abavunaanyizibwa ku kulwanyisa ebireeta kiremya n'okuyisa amateeka. Mu kaseera ako yali awereddwa aba KCB Uganda, omulimu nga yeeyali akola ng'akulira abalwanyisa kiremya mu DFCU Bank. Abadde memba oba omu ku ttiimu ya baanka ya DFCU ey'akakiiko akagidukanya okuviira ddala mu mwaka gwa 2006.[1][2][3]

Mu mulimu gwe omuoya ng'akulira KCB Uganda, nga yemumyuka w'akulira kampuni mu by'okutuukiriza ebirubirirwa ng'ebibeera bitegekeddwa okutukibwaako.[3] Akola ng'omu kubali ku kakiiko akakulu akaliko abantu omwenda abali ku boodi y'abadukanya baanka eno.[4] Kigambibwa okubeera ng'alina obukugu mu by'okukwasaganya n'okugonjoola kiremya mu kampuni, okulaba ng'amirimu gitambula bulungi n'okukulakulanya bizineensi ".[5]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/namyalo-mayanja-appointed-executive-director-kcb-bank-uganda/
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://nilepost.co.ug/2021/03/19/agnes-mayanja-named-executive-director-at-kcb-bank-in-uganda/
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/business/finance/kcb-bank-uganda-gets-new-executive-director-3328688
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/business/finance/kcb-bank-uganda-gets-new-executive-director-3328688
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://africaincmag.com/2021/03/20/namyalo-mayanja-appointed-executive-director-kcb-bank-uganda/