Jump to content

Agnes Taaka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Agnes Taaka
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAgnes Kyusa
Yazaalibwa nga3 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1980 Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, social worker Kyusa
Ekifo ky'alimumubaka wa palamenti Kyusa
Disitulikiti mwalonderaBugiri Distulikiti Kyusa
GyeyasomeraSsettendekero wa Makerere, Law Development Centre Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa

Agnes Taaka amanyiddwa nga Taaka Agnes Wejuli eyazaalibwa nga 3 Ogwokuna mu 1980, Munnayuganda munnabyabufuzi, akola ku nsonga z'abantu ezitali zimu era omubaka wa palamenti. Yali mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Bugiri. Yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda, ey'ekkumu n'ey'ekkumineemu nga Omubaka wa Palamenti. Ali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement.[1][2] Yali Mubaka wa Paalamenti Omukyala owa Disitulikiti y'e Bugiri okuva 2021 okutuuka mu 2026 oluvannyuma lw'okulangirirwa ng'omuwanguzi mu kulonda kwa bonna okwa pulezidenti n'ababaka ba Paalamenti mu Uganda.[3][4] Yawangulwa munne Namatende Eunice mu kamyufu ka NRM mu 2025.[5]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Agnes Taaka yazaalibwa nga 3 Ogwokuna 1980. Yamaliriza ebigezo by'Ekyomusanvu ku Kigulu Girls Primary school mu 1992 oluvannyuma nadda ku Bukoyo Senior Secondary School gyeyamaliririza Siniya Eyookuna naafuna satifikeeti ya Uganda Certificate of Education mu 1996. Mu 1999, Agnes yayingira esomero lya Iganga Senior Secondary School gye yamaliririza Siniya Eyoomukaaga era naafua satifikeeti yaUganda Advanced Certificate of Education (UACE). Yafuna diguli esooka mu ssomo lya Arts in Social Science okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 2004. Okugatta ku eyo, mu 2007 yagenda okweyongerayo n'emisomo era naafuna satifikeeti mu Mateeka (Administrative Officers Law Course) okuva mu ttendekero ly'amateeka erya Law Development Center, Kampala. [6] Mufumbo.

Emirimu gye nga tannayingira byabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakati wa 2006 ne 2014, Agnes yali akola ng'akulaakulanya ebitundu eby'enjawulo mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ye Bugiri, nga oluvannyuma baamukuza nebamufuula akulira okukulaakulanya ebitundu mu Bugiri Town Council gyeyakolera okuva mu 2014 okutuuka mu 2015. Okuva mu 2010 okutuuka mu 2012, yaweebwa eky'okukulira munisipaali za gavumenti z'ebitundu bya Disitulikiti ye Bugiri.[7] Y'akulembera ekitongole kya Taaka Agnes Wejuli Development Foundation.[8]

Emirimu gy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva mu 2016 okutuuka kati, awereza nga omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Konsitituweensi ya Bugiri.[7][9]Ng'omubaka wa Paalamenti, mu Paalamenti ya Uganda, Agnes aweereza ne ku kakiiko k'ebyobulimi. Asinga kwagala kuzannya muzannyo gwa kubaka n'okuzina amazina, nga kuno kw'ateeka n'okwagala okulondoola amaka agali mu mbeera embi, ebibiina mu bitundu wamu n'abavubuka.[7] Yeegatta ku kibiina ekigatta abakyala abali mu palamenti (UWOPA), mu Palamenti ey'ekkumi.[10]Ku kakiiko ka Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) aweereza ku kakiiko k'etteeka ly'ebyemirimu n'ebyenfuna akali awamu n'akadukanya embeera z'ebitundu mu ngeri y'okulaba nga bisala amagezi okulaba nga batuuka ku ntegeka ennya ezitereddwawo.[11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-03-26.
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-15. Retrieved 2021-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Busoga teachers win MP seats after four attempts". Monitor (in Lungereza). 2026-01-24. Retrieved 2026-04-22.
  4. "Agnes Taaka Wejuli Archives". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2021-03-26.
  5. "Busoga teachers win MP seats after four attempts". Monitor (in Lungereza). 2026-01-24. Retrieved 2026-04-22.
  6. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-03-26.
  7. 1 2 3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=170
  8. "Taaka Agnes - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2021-03-26.
  9. "Members of UWOPA of 10th Parliament | Uganda Women Parliamentary Association". uwopa.or.ug. Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2021-03-26.
  10. "Uwopa Round Table Committees | Uganda Women Parliamentary Association". uwopa.or.ug. Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2021-03-26.
  11. https://web.archive.org/web/20210418020754/http://uwopa.or.ug/page/uwopa-round-table-committees

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]