Jump to content

Agnes Tibayeita Isharaza

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Agnes Tibayeita Isharaza, Munnayuganda Munnmateeka era nga muwandiisi wa Kampuni era akulira ensonga z'amateeka ku Uganda National Social Security Fund, okuva nga 1 Ogwokuna 2019.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Uganda era yasomera ku masomero ag'abulijjo mu Pulayimale ne Ssekendule. Diguli ye esooka mu Mateeka eya Bachelor of Laws, yagifunira ku Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obukulu n'obgazi mu Uganda. Yagenda okufuna Dipuloma mu kukola amateeka,okuva ku Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Diguli ye ey'okubiri eya Master of Business Administration, yamuweebwa aba Eastern and Southern African Management Institute.[1][2]

Era yatendekebwa mu by'okukulembera okuva mu Ttendekero lyaba Dayilekita erya Institute of Directors mu Southern Africa ne Financial Times Non-Executive Directors Club, mu Bungereza.[3]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Alina obumanyirivu bwa myaka 16 mu nsonga z'obukulembeze okuva mu Gwokusatu 2019. Nga tannaba kutuuka mu kifo ekyo, yali muwandiisi wa Kampuni era ng'omukulu akwasaganya ensonga z'amateeka mu DFCU Bank,[4] Bbanka y'abasuubuzi ey'okubiri mu bunene mu Uganda, n'ebyobugagga ebibalibwamu USh303 billion (US$822 million) nga 31 Ogwekkuminebiri 2017.[5] Ng'ali eyo, yali memba ku kakiiko k'aba Dayilekita.[6] Ng'ali mu NSSF, yadda mu bigere bya Richard Wejuli Wabwire, nga mu Gwokubiri 2018, yalondebwa ng'Omulamuzi wa Kkooti ya Uganda enkulu.[4]

Ebirala ebikulu

[kyusa | edit source]

Ku DFCU, yali Mmemba ku kakiiko akakulembera dfcu. Okutuusa mu 2014, era yali alina ekifo ng'omuwandiisi wa Kkampuni ku dfcu Limited, Kampuni ya DFCU Bank. Okuva mu 2011 okutuusa 2017, yali memba ku kakiiko k'aba Dayilekita ba Capital Markets Authority of Uganda, ng'akiikirira ekitongole kya Uganda Bankers Association. Ng'ali eyo yali Sentebe w'akakiiko k'abannamateeka.[3]

Mu 2017, yali omu ku ba mmemba ba General Counsel Africa Power List by Legal 500. Era mu 2017, yali omu ku bavuganya mu Awaadi za Women in Law Awards, mu ttuluba ly'amunnamateeka omukyala erya Best Female Corporate Lawyer (Corporations) category era yamalira mu kifo kyakusatu.

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
  2. https://nilepost.co.ug/2019/03/15/former-dfcu-legal-boss-scoops-top-post-at-nssf/
  3. 3.0 3.1 https://www.watchdoguganda.com/news/20190314/63709/who-is-agnes-isharaza-the-new-nssf-corporation-secretary.html
  4. 4.0 4.1 http://www.pmldaily.com/business/2019/03/dfcu-banks-head-of-legal-crosses-to-nssf-named-corporation-secretary.html
  5. https://dfculimited.com/wp-content/uploads/2018/05/dfcu-Report_2017.pdf
  6. https://www.monitor.co.ug/Magazines/Jobs-Career/Where-are-the-women-in-Uganda-s-boardrooms-/689848-2781494-q8u1ne/index.html