Jump to content

Akayanja ka Kabaka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ennyanja eyakolebwa omusajja wansi w'ebiragiro bya Kabaka Mwanga II mu 1885 ng'ekubo ly'okutoloka mu lubiri lwe.
Akayanja ka Kabaka mu Uganda
Esira nga litereddwa ku kazinga ak'enjawulo akakolebwa omusajja, nga kasinganibwa mu nnyanja eyasimibwa omusajja esinganibwa mu bwakabaka bwa Buganda mu Ndeeba.

Akayanja ka Kabaka, nnyanja eyasimibwa omusajja era nga esinganiba mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Byebimu ku bintu ebisinga okumannyikibwa mu kibuga ng'era kirina ebyafaayo eby'amaanyi, n'okubeera eky'omugaso eri eby'obuwangwa.[1][2] Ye nnyanja eyasimibwa omusajja esinga okubeera enene mu Uganda yonna.[3]

Ebigikwatako[kyusa | edit source]

Akayanja ka Kabaka kaakoolebwa mu biseera by'ekyasa ekyo 19 ku biragiro bya Kabaka Mwanga II eyali owa Buganda, obwakabaka obusinganibwa mu esaawa eno emannyikiddwa nga Uganda. Okusimba kw'ennyanja eno kwava ku kubeera nga waliwo okulwanira obuyinza wakati wa Mwanga n'abagoberezi bbe abaalina munzikiriza y'Obukatuliki. Ennyanja eno yasimibwa okuwa amazzi n'okutekawo obukuumi eri olubiri lwa Kabaka.[3][4][5]

Enkula yaayo n'ebigisinganibwaako[kyusa | edit source]

Akayanja ka Kabaka galiko obugazi bwa yiika 200 nga zino ze siwkeeya kiromita 0.8, nga erina obwanvu bwa mita 4.5 okuka wansi. Enzizi ez'obutinde n'amazzi g'enkuba byebigitekamu amazzi. Ennyanja eno esinganibwa mu bitundu bya Kampala mu Lubaga.[1]

Ebikolebwako n'omugaso[kyusa | edit source]

Akayanja ka Kabaka kalina emigaso egy'enjawulo eri abantu abaketoloode. Kabawa amazzi gebakozesa mu kufukirira ebimera byabwe wamu n'ebyetaago ebyabulijjo. Ennyanja eno kifo kyabulambuzi, nga kisikiriza abantu b'omukitundu wamu n'abalambuzi abakolerako ebintu nga okuvugirako amaato, okuwumulirawo, wamu n'okutambulirawo nadala kumbalama.[6][1]

Omugaso eri eby'obuwangwa[kyusa | edit source]

Akayanja ka Kabaka kalina omugaso munene nnyo eri eby'obuwangwa wamu n'ebyafaayo eri abantu mu Uganda, nadala mu bwakabaka bwa Buganda. Kitwalibwa okubeera akabonero k'ensibuko y'obwakabaka, ng'era kakozesebwa ku mikolo egy'enjawulo nadala ku bikujuko by'obuwanhwa eby'omugaso. Akakwate k'ennyanja eno n'obwakabaka bwa Buganda wamu n'abakulembezze ab'obuwangwa ky'ongera okulaga omugaso gyekalina eri obuwangwa.[1]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijjuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/kabaka-s-lake-his-highness-mwanga-s-positive-legacy-1549042
  2. https://www.youtube.com/watch?v=uhlinBM3mQ4
  3. 3.0 3.1 https://www.ganyanasafaris.com/blog/kabaka-lake-the-largest-man-made-lake-in-uganda/
  4. https://ngaaliinflightmag.com/kabaka%c2%92s-lake-a-heritage-wonder/
  5. https://nbs.ug/2018/08/up-and-about-the-beauty-of-kabakas-lake-in-rubaga/
  6. https://www.bwindiugandagorillatrekking.com/kabakas-lake/