Akello Judith Franca

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Akello Judith Franca yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 17 mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 1978, nga munabyabufuzi omunayuganda eyabanguka mukumannya eby'enfuna.[1] Ye mukayala omubaka akiikirira aba Agago mu palamenti ya Uganda ey'omunaana, omwenda n'ekumu .[1][2] Mu palamenti ey'ekuminoomu , yeesimbawo ku ky'omukyala eyali ayagala okukiikirira Agago mu naye nebamuwangula ng'afunye obululu 26,840.[3] Yalina akakwate ku kibiia ky'eby'obufuzi ekya Forum for Democratic Change mu palamenti ey'ekumi.[1][4][5] Yaliko ne mukibiina kya ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement member.[6]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1993, yatuula ebibuuzo bya P.7 ebya P.L.E ku somero lya Lacek-Ocot Primary School.[1] IMu mwaka gwa 1997, yaweebwa satifikeeti y'okubeera nga yali asome eby'okubeera omusomesa okuva kusomero lya Atanga S.S. oluvannyuma yeegata ku Sacred Heart S.S. mu disitulikit y'e Gulu gyeyatuulira S.4, oluvannyuma n'amaliriza mu mwaka gwa 1999.[1] Alina diguli mu kubeera omusomesa ng'eno yagifunira ku sentekero ly'e Makerere nga yagifuna mu mwaka gwa 2004. Oluavnnyuma yaweebwa diguli ey'okubiri mu by'okudukanya eby'enfuna mu mwaka gwa 2009 okuva mu setendekero ly'e Makaerere.[1]

Obulamu bwe nga tanayingira byabufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 1998 okutuusa mu gwa 2001, yali akola mu kitongole kya Uganda Red Cross Society, wabula ng'akola ng'eyali ayamba kubaali babeera mu bantu. Wakati w'omwaka gwa 1999 ne 2001, yakola ng'omusomesa ku somero lya Pajule S.S. Okuva mu mwaka gwa 2017 okutuuka kati, yali akola nga sabawandiisi mu kakiiko ka palamenti akafunaanyizibwa kunsonga z'abaana. Yakolako ng'omusomesa wakati w'omwaka gwa 2003 ne 2005 okuva mu Kisugu Secondary School ery'e Muyenga.[1]

Olugendo lwe mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Nga tanaba kwegata ku palamenti ya Uganda ng'omubaka wa palamenti okuva mu mwaka gwa 2006 okutuuka mu 2021, Judith yakolako ng'omubaka wa palamenti ya Uganda mu bifo eby'enjawulo. Mu mwaka gwa 2006 okutuusa 2011, yaweebwa omulimu gw'okubeera w'okumyuka kalabalaba wa palamenti akakasa ng'ababaka baloonda n'okulabikako munkiiko ezibeera ezibeera zitegekeddwa. Judith oluvannyuma yakolako nga minista ow'ekisikirize ow'eby'enjigiriza n'eby'emizannyo okuviira ddala mu mwaka gwa 2011 okutuusa mu mwaka gwa 2013. Okuva mu mwaka gwa 2013 okutuusa mu 2016, yeeyali saabawandiisi w'ekibiina ekigata abakyala mu palamenti ekya 'Uganda Women Parliamentary Association'.[1] Wakati w'omwaka gwa 2013 ne 2016, yeeyali omukungu wa Uganda eyakiikirira nga mu palamenti y'ensi yonna eya International Parliamentary Association, oluvannyuma n'akiikirira Uganda mu palamenti egata amawanga agaali mulubu olumu ne Bungereza eya 'Commonwealth Parliamentary Association' okuva mu mwaka gwa 2016 n'okutuusa kati.[1] Okuva mu mwaka 2017 n'okutuuka kati, Judith yakola ng'omumyuka wa ssentebe mu kakiiko ka palamenti ku by'ensonga z'eby'enfuna by'abantu mu palamenti ya Uganda .[1]

Ebirala by'akola[kyusa | edit source]

Yakolako mu kakiiko k'eby'ensiimbi, okutegeka wamu n'okulakulanya eby'enfuna ne kukakiiko akakola embalirira y'eby'enfuna by'abantu mu palamenti ya Uganda, ng'ogyeko okubeera omubaka.[1][7][8]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mufumbo.[1] Ayagala nnyo okwenyigira mu by'emizannyo n'eby'okusoma.[1]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20161107101638/http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=128
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/female-mps-on-a-pregnancy-watch-as-golola-visits-parliament-1843882
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/akello-judith-franca-10106/
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://fdc.ug/team/hon-franca-akello/
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221016222645/https://www.observer.ug/component/content/article?id=18794:besigye-in-cris-talks-with-fdc-rebels
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/2cec2ab5-bce3-4e0d-b496-03f1fac9c826/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/tag/judith-franca-akello/
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221018200605/https://www.mpscanug.com/profile/hon-akello-judith-franca/