Akumu Catherine Mavenjina
Akumu Catherine Mavenjina Munnayuganda munnamateeka, munnabyabufuzi okuva mu Disitulikiti y'e Nebbi, Uganda. Yali mukiise mu Paalamenti ya Uganda eya 8 mu 2006–2011. Ye yali Minisita omubeezi era nga kaakano y'akiikirira abakadde mu Bukiikakkono bwa Uganda mu Paalamenti ya Uganda (11th).[1] Alina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM).[2][3]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nga tannaba kuyingira mu byabufuzi, yaweerezaako ng'omulamuzi. yali Minisita omubeezi ow'abakozi ba Gavumenti.[4]
Mu Paalamenti (8th), Mavenjina yakiikirira Disitulikiti y'e Nebbi ng'omubaka omukyala mu Paalamenti. Okuyita mu kisanja kye , yetaba mu nsonga z'okubaga amateeka, yalwanirira eddembe ly'abakyala era n'akola ne ku byetaago by'abantu. Yawangulwa Agnes Acibu mu kalulu ka bonna ka 2021 ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Nebbi mu Paalamenti. Yakiikirira abakadde b'omu Bukiikakkono bwa Uganda mu Paalamenti ya 11 (2021-2026). Mavenjina yaweerezaako ku kakiiko akaali kategeka ebikujjuko by'olunaku lw'abajulizi mu 2024 e Nebbi.[5][6]
Obukuubagano n'emisango egya mujwetekebwako
[kyusa | edit source]Mu 2003, Mavenjina yaggulawo emisango eri Monitor Publications, ng'agamba nti baali bamujjwetekako emboozi emuttatana. Wabula omusango guno gwagobebwa mu Kkooti enkulu olw'okubulwa obujulizi mu musango gwe.
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Agnes Acibu
- Disitulikiti y'e Neebi
- National Resistance Movement
- Paalamenti ya Uganda.
- Ababaka ba Paalamenti
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.parliament.go.ug/sites/default/files/MEMBERS%20OF%20THE%2011TH%20PARLIAMENT%20%282021-2026%29%20.pdf
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/four-elected-as-mps-for-elderly-3262964
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1255919/-minister-loses-defamation-suit
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/nebbi-cuts-martyrs-day-budget-by-ugx-2b-cites-financial-constraints-among-faithful
- ↑ https://www.independent.co.ug/nebbi-cuts-martyrs-day-budget-by-shs2billion-cites-financial-constraints-among-faithful/