Jump to content

Albert Edward Baharagate Akiiki

Bisangiddwa ku Wikipedia

Albert Edward Baharagate Akiiki (25 Ogwokubiri 1930 – 5 Ogwokkuna 2023) yali musaserodooti w'Abakatuliki mu Uganda era nga yaweereza ng'Omusumba wa Eklezia y'abakatoliki w'essaza ly'e Hoima . Yalondebwa okuba omusumba w’e Hoima nga 7 Ogwomusanvu 1969 era n’alekulira nga 9 Ogwokussatu 1991.

Ensibuko n’obusaserdooti

[kyusa | edit source]

Baharagate yazaalibwa nga 25 Ogwokubiri 1930, ku kyalo Nyamigisa, mu Disitulikiti y’e Masindi, mu kitundu ky’e Bunyoro nga wekimanyiddwa kati, mu kitundu ky'obuggwanjuba bwa Uganda. Yatuuzibwa ku busaserodooti nga 7 Ogwekkuminebiri 1958. [1] [2]

Nga omusumba

[kyusa | edit source]

Yalondebwa okuba Omusumab w’e Hoima nga 7 Ogwomusanvu 1969 era n’atukuzibwa ng’omusumba e Hoima nga 1 Ogwomunana 1969 Paapa Paul VI † ng’ayambibwako Ssaabasumba Sergio Pignedoli †, Titular Archbishop of Iconium ne SsaabasumbaEmmanuel Kiwanuka Nsubuga †, Ssaabasumba w’essaza ly’e Kampala .

Nga 9 1991, Ogwokussatu Baharagate yalekulira nga omusumba wa Hoima. Mu bulamu bwe obw’oluvannyuma, yawangaala nga omusumba Emeritus owa Hoima. [1] [2]

Baharagate Akiiki yafiira mu ddwaliro e Nsambya mu Kampala, nga 5 Ogwokkuna 2023, ku myaka 93. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 https://en.wikipedia.org/wiki/Catholic-Hierarchy.org
  2. 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-01. Retrieved 2024-09-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)